Amawulire
Omusajja ayocezza ennyumba ya mwanyina
Bya Gertude Mutyaba Abatuuze ku kyalo Katolerwa mu gombolola ya Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi bawuniikiridde omusajja bwakakkanye ku nnyumba ya mwannyina najiteekera omuliro, byonna ebibaddemu neisirika. Vianny Magezi yaagambibwa okukuma omuliro ku nnyumba ya mwannyina Gertrude Namukwaya, ng’oluvanyuma yamazeemu omusubi. Okusinziira ku batuuze, bano […]
Ab’omumambuka bebasinze okuganyulwa mu kusoma okwebbanja
Bya Damalie Mukhaye Ekitundu kyamambuka namasekati ga Uganda, bebakulembedde mu bungi, abagenda okuwererwa gavumenti ku bbanja, mu matendekero aga waggulu mu lusoma lwa 2021/22. Mu kwekenneenya ebibalo ebyafulumye okuva mu kitongole kya Higher Education Students Financing Board, amambuka bebakulembedde ku 52.3%. Amasekati ga Uganda bebaddako […]
Omujulizi yegaanye sitetimeenti gyeyakola
Bya Ivan Ssenabulya Kooti enkulu e Mukono ewunikiridde, omujulizi, mu musango gweyali omuyizi mwavunanibwa okutta eyali muganzi we, bweyegaanye statement kennyini gyeyakola. Mathew Kirabo nga yali asoma busawo mu Makerere University yagambibwa okutta eyali muganzi we Desire Mirembe bwebaali basoma. Kigambibwa nti Kirabo yatta Mirembe […]
Banakyewa babanja nti etteeka lya taaba litekebwe mu nkola
Bya Juliet Nalwooga Banakyewa abatakabanira ensonga zebyobulamu abegattira u kibiina ekya Uganda National Health Consumers’ Organisation bagala gavumenti esse mu nkola obuwayiro obuli mu tteeka lya taaba erya Tobacco Control Act, 2015. Ekimu ku biri mu tteeka lino, kwe kukugira abanywi ba sigala okumunyweera mu […]
Abavuganya bagala kujjamu minisita bwesige
Bya Ritah Kemigisa Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti bagamba nti batandise ku ntekateeka, bagala kujjamu minisita webyokwerinda byegwanga Gen Jim Muhwezi obwesige. Bagamba nti alemereddwa okumalawo okwemulugunya kwabantu ku bikolwa ebyokuwambibwa nokutulugunyizbwa. Bwabadde ayogera ne bannamawulire, akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga agambye nti bazze […]
Owa NUP eyatulugunyizibwa addukidde mu kooti
Bya Ruth Anderah Omuwandiisi wekibiina kya NUP ku bukulembeze bwa disitulikiti ye Kasese, Samuel Busindi Masereka aadukidde mu kooti enkulu nawawabira, eyali ssenkulu wa CMI Maj Gen Abel Kandiho nabasirikale be abamutulugunya. Masereka mutuuze we Nyamwamba East mu divizoni ye Nyamwamba e Kasese, nga muyizi […]
Kisoro: Omulambo gw’omwana gukyabuze
Bya Musasi Waffe Abobuyinza mu disitulikiti ye Kisoro batandise kawefube, okusonda ssente ezokugula ekyuma ekigenda okuyamba mu kunoonya omulambo gwomwana owemyaka 11, eyabutikirwa ettaka mu njega eyabaddewo ku nkomerero yomwezi oguwedde. Joshua Irakunda yoomu ku bafiira mu njega eyatwala obulamu bwabantu 9, mu gombolola ye […]
Bukomansimbi: Abatuuze bazudde omulambo
Bya Gertrude Mutyaba Abatuuze ku kyalo Misanvu mu gombolola ya Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi, bagudde ku mulambo gw’omusajja gwebatamanyi bimukwatako. Omulambo guno gubadde gwaazingiddwa mu kiveera nga gwasuliiddwa mu kibira kya kalitunsi okumpi n’oluguudo. Kigambibwa nti waliwo emmotoka eyavuze omulambo ogwo, nebagusulawo nga wasangiddwawo […]
Gavumenti essubirwa okwanukula ab’oludda oluvuganya
Bya Musasi Waffe Palamenti egenda kuddamu okutuula olwaleero, nge’subirwa okuteesa ku zimu ku nsonga ezavirako aboludda oluvuganya gavumenti okwediima. Aboludda oluvuganya gavumenti, nga bakulembeddwamu abakulira, omubaka Mathius Mpuuga balangirira akediimo ka wiiki 2, nga bakukulumira gavumenti olwekitulugunya bantu ekiri mu gwanga, okubuzibwawo kwabantu nababaka Muhamad […]
Abasomesa b’eKyambogo balaliise okwediima
Bya Damalie Mukhaye Abasomesa ku ttendekero lye Kyambogo balabudde nga bwebagenda okuteeka wansi ebikolwa, okusomesa akawungeezi nemu gandaalo erya sabiiti ssinga tebabongeze ensako, eyokukola ebyensusso. Kino ssinga kinakolebwa, kigenda kukosa abayizi omutwalo mulamba naddala abesasulira. Abasomesa balangiridde nti kigenda kutekebwa mu nkola wiiki ejja, ngolo […]