Amawulire
Kooti ya Buganda Road eyimbudde Kakwenza
Bya Ruth Anderah Omuwandiisi Kakwenza Rukira Bashaija ayimbuddwa kooti ya Buganda Road, omulamuzi Dr. Darglas Singiza. Amuyimbudde ku kakalu ka mitwalo 50 ez’obuliwo nabamweyimiridde, buli omu obukadde 10 ezitali za buliwo. Bamulagidde aweeyo passporta ye ngegenda kukwatibwa okumala emyezi 6, era enjuuyi zombie ziragiddwa obutaddemu […]
Uganda tekyusizza kifo mu kulya enguzi
Bya Benjamin Jumbe Alipoota ekwata ku nguzi eyomwaka 2021, eya Corruption perceptions index eraze nti wabaddewo okuzingama mu kulwanyisa enguzi, mu mawanga 180. Bwabadde afulumya alipoota eno ssenkulu wa Transparency International Uganda nga ye Peter Wandera agambye nti Uganda yafunye obubonero 27 era eri mu […]
Amataba gakubye ab’eKisoro
Bya Benjamin Jumbe Abantu 5 bateberezebwa okuba nga bebafudde atenga omuwendo ogutanaba kukakasibwa tebamanyikiddwako mayitire, oluvanyuma lwamataba agakubye disitulikiti ye Kisoro akawungeezi keggulo. Mu lukiiko olutudde mu Kabuga ke Gasiza mu gombolola ye Nyarusiza abatuuze balaze okutya ku mbeera ya banaabwe abatanalabika, okuva olunnaku lweggulo. […]
Bishop Ssemogerere atuziddwa nga Ssabasumba we Kampala
Bya Ivan Ssenabulya Abadde omusmba we saza lya Kasana-Luweero, Bishop Paul Ssemogerere, atuziddwa nga Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala. Omukolo guno gukyagenda mu maaso, nga gukulembeddwamu Omubaka wa Paapa mu Uganda Rev. Luigi Bianco. Amusabidde namukwasa nebikozesebwa, okubadde omuggo ogwobusumba. Ekifo ino kibadde kikalu oluvanyuma […]
Omulambo gw’omugenzi Mutebile gusubirwa okutuuka olwaleero
Bya Ritah Kemigisa Omubiri gwomugenzi, Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile, abadde gavana wa Banka yegwana enkulu gusubirwa okukomezebwawo mu gwanga olwaleero. Prof Mutebile yafudde ku Sunday mu gandaalo erya Sabiiti, mu ddwaliro lya Nairobi Hospital gyabadde ajanjabirwa. Oksinziira ku ntekateeka yokuziika eyafulumiziddwa ssente wakakiiko akatekateeka okuziika, […]
Ssabasumba we Kampala agenda kutuzibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala omulonde, Bishop Paul Ssemogerere agenda kutuzibwa olunnaku lwaleero. Zaali ennaku zomwezi 9 Decemba ku nkomerereo yomwaka oguwedde 2021, Paapa Francis yalonda Omusmba we Kasana Luwero okudda mu kifo kino ekyalimu omugenzi Dr Cyprian K Lwanga. Fr Pius […]
Abantu 2 bafiridde mu kabenje e Njeru
Bya Abubaker Kirunda Abantu 2 bakakasiddwa nti bebafiridde mu kabenje akagudde mu munisipaali ye Njeru mu disitulikiti ye Buikwe. Akabenje kano kagudde Lugalambo mu divizoni ye Najjembe ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala. Mmotoka kika kya lukululana nnamba UBJ 0301/UAY 699B ebadde ekubyeko […]
Ssentebbe wabakyala yesse
Bya Abubaker Kirunda Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nzirango mu gomolola ye Namaremba mu disitulikiti ye Namutumba bwebasanze akulembera abakyala ku kyalo nga mufu. Omugenzi ye Getrude Babirye ngabadde mutuuze ku kyalo kyekimu atenga abadde mukulembeze. Ssentebbe wekyalo kino Patrick Muyinda agambye nti omugenzi yasoose kuwaayo […]
Omusirikale yetidde mu nkambi e Nsambya
Bya Juliet Nalwooga Poliisi ye Kabalagala etandise okunonyereza ku musirikale waabwe eyesse, bweyekubye amasasi agamujje mu budde. Omugenzi ye Cpl George Drandi ngabadde akolera wansi w’ekitongole kya VIPPU. Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigire omusirikale ono yekubidde amasasai mu nnyumba […]
Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza
Bya Ritah Kemigisa Abadde gavana wa Banka ya Uganda enkulu Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza wiiki ejja. Kino kibikuddwa minisita wamawulire Dr Chris Baryomunsi ngagambye nti zezimu ku ntekateeka zokuziika. Okusinziira ku Dr Baryomunsi, omubiri gwomugenzi gusubirwa okukomezebwawo mu gwanga ku lunnaku Lwokubiri […]