Bya Damalie Mukhaye
Banna-Uganda kati basigazza emyezi 2 okukyusa passporta zaabwe, enkadde bafune empya ezomukago gwa East Africa Community eziyungiddwa ku mutimbagano oba E-passport.
Gavumenti okuyita mu minisitule yensonga zomunda mu gwanga nekitongole ekivunanyizbwa ku bantu abayingira nokufuluma yatekawo ssalessale wanga 4 April eri abakyalina passporta enkadde.
Bwabadde awayaamu nomusasai waffe, omwogezi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga…
Bya Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye
Omukulembeze wegwanga lya Kenya, Uhuru Kenyatta akungubagidde wamu ne Bank ya Uganda Enkulu, olwokufa kwa gavana Prof Emmanuel Mutebile asizza ogwenkomerero amakya ga leero.
Okusinziira ku bubaka bwa Kenyatta bwayisizza ku Twitter, abadde wankizo nnyo mu mirimu gyokutebenkeza ebyenfuna mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa awamu.
Mungeri yeemu gavana wa Banka Enkulu e…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu kitundu kya Busoga North etandise okunonyereza kungeri abantu 3 gyebakubiddwamu masasi, omu naafa mu disitulikiti ye Buyende.
Bino byabadde ku kyalo Iyingo mu gombolola ye Kagulu e Buyende.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Michael Kasadha agambye nti abasirikale ba poliisi babadde bagenze mu kitundu kino, okukwata abantu abagambibwa okwetaba mu kujjamu embuto.
Wabula…
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kikunu mu tawuni kanso ye Idudi bwebagudde ku mulambo gwomwana owemyaka 17, nga gulengejja.
Omugenzi ye Ashraf Nanfula ngabadde mutabani wa Yahaya Nanfula ku kyalo Kikunu mu tawuni kanso ye Idudi, disitulikiti ye Bugweri.
Ssentebbe wekyalo kino Twah Kisambira agambye nti omwana ono yetugidde munda mu muzigo mwebapangisa.
Poliisi eyitiddwa okutandika okunonyereza,…
Bya Ruth Anderah
Munnamateeka Hassan Male Mabirizi addukidde mu kooti enkulu, okuwakanya ekya Ssabawaabi wa gavumenti okwediza omusango gwe gweyawawabira omusmba Aloysius Bujingo, mwamunenyeza okumenya etteeka lyobufumbo.
Mabirizi agamba nti nga 9 January 2022, wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti yategeeza kooti ento Entebbe nti tebalina bwetaavu bwonna mu musango gwa Bujingo, wabua ate kyamwewunyisizza okufuna ebbaluwa nga…
Bya Sam Ssebuliba
Obwakabaka bwa Buganda butegezezza nga bwebugenda okufulumya alipoota ejudde, ku ttaka lya Mailo mu Uganda.
Kino kyadiridde ekiteeso gavumenti kyetembeeta, okujjawo ettaka lya milo, kyebagamba nti kyekizibu eivuddeko endoliito zettaka naddala mu masekati ga Uganda.
Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda oluguddewo omwaka, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti minisita owa guno na guli Owek.…
Bya Damali Mukhaye
Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo eweze ebigezo bya mock nebirala ebye bweru mu masomero.
Kino kitegeeza nti abayizi mu secondary ne primary, batekeddwa kukola bigezo bya UNEB byokka ebyokwegezesa.
Minisitule era eweze nebigezo ebitandika olusoma oba eginning of term, amasomero galagiddwa gakozese obudde obwo okusomesa, okuziba omuwatwa olwebbanga amasomero lyegamala nga maggale.
Abayizi bajja kukola bigezo byokka ebisembayo.
Omwogezi…
Bya Ritah Kemigisa
Waliwo essuubi eri abagoba bebidduka, ku nsonga yebbeyi yamafuta erinnya buli kadde.
Waliwo emmotoka zamafuta kika kya lukululana 400 ezakoleddwako, ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority neziyingira egwanga, ku nsalo e Malaba.
Omujuzo gwemmotoka zebyamaguzi ku nsalo, gweguneyezebwa ku bbula lyamafuta ekivuddeko ebbeyi ya petulooli okulinnya, okugeza mu disitulikiti ye Hoima liita yamafuta yatuuse ku…
Bya Benjamin Jumbe
Minisitule yebyokwerinda byegwanga nabazirwanako, olwaleero egenda kutandika okutereeza enkalala zabazirwanako nebibakwatako.
Entekateeka eno egenda kutandika nga 17 January, lwerwaleero okutukira ddala ngennaku z’omwezi 4 February, 2022.
Muno bagenda kutunuliira ebikwata ku nsako yaabwe etekeddwa okubaweebwa, nabenganda zaabwe eri abo abaafa.
Wabaddewo omujuzo gwa file omutwalo 1 mu 1,000 awamu ku file emitwalo 6 mu 8,000 ezikwata…
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nabikomo mu gombolola ye Kigandalo mu disitulikiti ye Mayuge omutabani bawatemyekitaawe namutta, ngamulanga okutema omuti gwe
Omugenzi ye Harid Kasule, ngeyerabiddeko Jaliru Manni agambye nti omwana yakutte ejambiya, natema kitaawe namutta olwokutema omuti gwe, ogubadde gubalirirwamu emitwalo 5.
Omutabani wetwogerera ngaliira ku nsiko.