Amawulire
Minisitule erangiridde abalwadde abappya abasoba mu 1,200
Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyobulamu eriko abalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya abasoba mu 1,200 berangiridde nabantu 2 abaafudde. Ebibalo bino bivudde mu kukebera okwakoleddwa nga 27 Decemba 2021, wabula minisitule era egamba nti wabaddewo okudirira mu miwendo gyabalwadde abali mu malwaliro okudda ku balwadde 69 […]
Museveni akakasizza okuggulawo Amasomero
Bya Musasi Waffe Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akakasizza banna- Uganda nti amasomero gonna gagenda kugulwawo nga 10 January 2022, ngokugema abantu bwekugenda mu maaso mu gwanga. Bino abyogeredde ku mukolo ogwokutongoza essomero lya Keihangaara Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Keihangaara mu disitulikiti ye […]
Omw’emyaka 3 attiddwa mu bukambwe
Bya Juliet Nalwooga Poliisi ye Nagalama etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku muwala owemyaka 3 Mary Nakyanzi. Bino byabadde ku kyalo Nakifuma mu disitulikiti ye Mukono nga kigambibwa, omusajja Richard Musisi yamukakanyeko namutema ebiso ebyamusse. Bino byabaddewo mu kiro ekyakesezza olunnaku lweggulo. Amyuka omwogezi wa […]
Omutuuze asanze omulambo mu kinabiro
Bya Abubaker Kirunda Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Musongola mu munisipaali ye Bugiri, omusajja bwasanze omulambo mu kinabiro kye, ngagenze okunaaba. Bino bibadde mu maka a Subuha Walujo nga mukyala we amutwaliddeyo amazzi okunaaba ekizeeko nduulu zezigoberedde. Ssentebbe wekyalo kino Peter Muyobo agambye nti omugenzi babadde […]
Omuliro gusanyizaawo bya bukadde e Luweero
Bya Juliet Nalwooga Ebintu ebibalirwamu obukadde nobukadde bwensimbi bitokomokedde mu muliro nabbambula, ogukutte ekizimbe mu tawuni kanso ye Wobulenzi mu disitulikiti ye Luweero. Abakoseddwa kuliko amadduuka aba mobile money nabalala, nga byebibadde bikolerwa ku kizimbe kino. Isah Ssemwogerere, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savannah […]
Abateberzebwa okubeera ababbi babatidde e Makindye
Bya Juliet Nalwooga Poliisi e Kabalagala etandise okunonyereza ku butemu obwetabiuddwamu okutwaliira amateeka mungalo, mu Mubiru Zone e Nsambya mu divizoni ye Makindye e Kampala. Abantu 2 bebafudde nga tebanaba kutegerekeka biakwatako, wbaulanga bali mu myaka mivubuka 20. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano […]
Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 gyakwongera okulinnya
Bya Ivan Ssenabulya Emiwendo gyabalwadde abappya aba ssenyiga omukambwe mu Uganda gyongedde okulinnya, mu wiiki eyokusattu eyobulwadde. Okusinziira ku kitongole ekitegekera egwanga, National Planning Authority, wiiki ewedde emiwendo gyabalwadde gyekubisizaamu emirundi egisoba mu 5. Mu wiiki gyetulimu, eyanga 26 Decemba okutuuka nga 1 January 2022, […]
Abaategese ebivvulu e Mutukula bakangavvulwe
Bya Ivan Ssenabulya Abategesi bebivvulu wansi wa Uganda Music Promoters and Venue Owners Network (UMPONET) basabye gavumenti nti waberewo, obwenkanya mu kutekanga mu nkola ebiragiro byayo ku bivvulu. Bano bagamba nti waliwo kyekubiira ngabamu batandise nokugenda okutegeka ebivvulu e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne […]
Omusajja alumyeko omukazi okutu lwa nnusu 500/-
Bya Ababuker Kirunda Mu disitulikiti ye Luuka, omusajja alumyeko omukazi okutu mu nkyana ze nnusu 500. Bino byabadde ku kyalo Butondora mu tawuni kanso ye Busalamu e Luuka. Ssentebbe wekyalo Issa Ssenoga ngagambye nti omukazi Sophie Babirye kati ali mu ddwaliro ajanjabibwa. Obutakanya bwabano bwabadde mu […]
Ab’emikutu gyamawulire bagyemedde gavumenti
Bya Juliet Nalwooga Ekibiina ekigatta abemikutu gyamawulire National Association of Broadcasters (NAB) bagaanye okuwa gavumenti obudde obwobwerere nga bweyaagira. Gavumenti okuyita mu kakiiko akatwala ebyempulizganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission (UCC) mu bbaluwa gyebawandiika gyebuvuddeko eri ab’emikutu gyamwulire, balagira nti ababaka ba gavumenti nabakozi […]