Amawulire
Maama akubye omwana we namutta
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Bulambuli eriko abafumbo begalidde, kigambibwa abakakanye ku muwala waabwe nebamukuba emiggo egikira egye nnyana, egyamuviriddeko okufa. Bino byabadde ku kyalo Kikolo mu gombolola ye Namisuni, bwebakubye omwana owemyaka 12 naafa. Omugenzi ye Neumbe Lofisa nga maama we, aliko weyamutumye okukima […]
Abakulembeze e Mukono beyawuddemu kuby’ekibira kye’Namyoya
Bya Ivan Ssenabulya Ssentebe wa disitulikiti ye Mukono n’omukubiriiza w’olukiiko lwa disitulikiti bayingidde mu nsonga zekibira kye Namyoya, ekiriko enkalu nendoliito wakati wabakulembeze abenjawulo. Ekibiira kino kisangibwa mu ggomboloola 3 okuli Nama, Kyampisi ne divizoni ye Goma, ngabakulembeze abamu bagala ekitundu ku kibira kikyusibwe okutekako […]
Congo ekiriza Uganda okutwalayo amagye okulwanyisa ADF
Bya Musasai Waffe Democratic Republic ya Congo kitegezeddwa nti bagenda kukiriza amagye ga Uganda, okuyingira ku ttak lyabwe okulwanyisa abayekera, abazze betaba mu bikolwa byobutujju. Obubinja bwabalwnayisa nabayekera, obusinga bwekukumye mu bitundu omuli ebyobugagga ebyomuttaka wabula eno naba Allied Democratic Forces (ADF) gyebasinziira okutta abantu. […]
Kattikiro avumiridde eby’okunenya eyatunze ensenene ku nnyonyi
Bya Ritah Kemigisa Kamalabyonna wa Buganda avuddeyo okwogera ku muvubuka eyakwatiddwa ku katambi ngatunda ensenene ku nnyonyi ya Uganda Airlines eyabadde edda e Dubai. Paul Mubiru yavuddeyo neyetonda, nga yagambye nti yabadde akwata katambi ke, okukateeka ku TikTok nayenga tekyabadde kigenderere nti akola busbuzi ku […]
Gavumenti yeyamye okuwagira eddwaliro lya Kokolo
Bya Ndhaye Moses Gavumenti essubizza okwongera okuteeka ebikozesebwa mu ddwaliro lya kokolo erya Uganda Cancer Institute (UCI). Ebimu ku bitunuliddwa bagala okwongera ku muwendo gwebyuma ebikalirira abalwadde, okuva ku kimu ekiriwo. Obweyamu buno bukoleddwa, minisita omubeezi owobujanjabi obusokerwako Margate Muhanga ngagambye nti obwetaavu webuli, kubanga […]
Ebinasomesebwa ng’amasomero gaguddewo biri mu lusuubo
Bya Damalie Mukhaye Emyezi ebula 2, amasomero okuggulawo, wabula ekitongole ekivunanyizbwa ku bisomesebwa mu gwanga ekya National Curriculum Development Center (NCDC) batubidde ne nnambika yebsisomesebwa oba curriculum empya eyakolebwamu ennongosereza. Bano bagamba nti minisitule yebyenjigiriza nemizannyo yalemereddwa okubawa obuwumbi 13 okumalirirza emirimu gyebabadde batandikako. Egwanga […]
Okuwandiisa abanavuganya mu kulonda kutandise olwaleero
Bya Benjamin Jumbe Akakiiko kebyokulonda, olwaleero kagenda kutandika okuwandiika abanavuganya ku bifo byobukulembeze, agenda okubeera okulonda okwenvunulabibya muzi gavumenti ezebitundu. Enekateeka eno egenda kukulungula ennaku 2, muzi disitulikiti 110 okwetoloola Uganda. Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama mu bubaka bwe, obukulembeddemu entekateeka eno asabye abagenda […]
Akakiiko kebyenjigiriza ebya waggulu Kagadde ettendekero lya Great Lakes Regional University
Bya Damalie Mukhaye Akakiiko akatwala ebyenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) bagadde ettendekero lya Great Lakes Regional University, mu disitulikiti ye Kanungu okumala omwezi mulamba. Ensonga zebawadde, bagambye nti waliwo endoliito mubwannayini ku ttendekero lino nobukulembeze obubi, era kino baazudde nga […]
Uganda yekulembedde mu Kulwanyisa Ttaaba mu Africa
Bya Juliet Nalwooga Uganda yekulembedde olukalala lwamawanga mu Africa agalumye nogwengulu, okulwanyisa taaba, ngedirirwa Kenya, Ethiopia namawanga amalala. Okusinziira ku alipoota ya Global Tobacco Industry Interference Index 2020, eyafulumye oluvanyuma lwokunonyedeza okwakolebwa aba Global Center for Good Governance in Tobacco Control (GGTC), Uganda ekwata ekifo […]
Ekisaawe Ky’Entebbe kyolekedde okutwalibwa China
Bya Musasi Waffe Uganda eyolekedde okufiirwa ekisaawe kyayo ekyennyonyi, ekye Entebbe waliwo okutya nti kyanditwalibwa nebyobugagga byegwanga ebirala. Kino kyadirirdde egwanga lya China okugaana okusaba kwa Uganda, okuddamu ookuteseganya ku buwayiro obubanyingiriza mu ndagaano eyataukibwako bwebaali babawola obukadde bwa $ 200 nga bwebuwumbi bwa skilingi […]