Amawulire
Teri magye malala gagenda kwegatta ku UPDF mu DR-Congo
Bya Ritah Kemigisa Minisita omubeezi avunayizibwa ku nkolagana ye gwanga namawanga amalala, Henry Okello Oryem agambye nti tebasubira gwanga ddala lyonn okuva ku mulirwano, okwegatta ku magye gegwanga aga UPDF okulwanyisa abayekera era abatujju mu Buvanjuba bwa Democratic Republica ya Congo. Bweyabadde agenyiwaddeko wano mu […]
Yintaviyu ku bagala okusoma obwa nurse kutandika olwaleero
Bya Damalie Mukhaye Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo olwaleero egenda kutandika okukola yintaviyu ku bayizi omutwalo 1 mu 5,000 abagala okusoma obwa nurse mu matendekero agawera 11 okwetoloola egwanga. Dr Hajat Safina Musene kamisona owa Business Technical Vocation Education and Training, agambye nti bebagenda okugezesa bebayizi abamalko […]
Eddwaliro lye Kawempe litubidde nabaana bebasudde
Bya Musasi Waffe Eddwaliro lyabakyala erye Kawempe litubidde nabaana 2, bebabasuliidde. Abaana bano baazaliddwa abaana abatanetuuka, atenga babazadde babulako wabula bwebabatutte nursery ba maama nebemulula. Bwabadde ayogerako naffe, akulira eddwaliro lino Dr Nekemiah Katusiime agambye nti kino kya buli lunnaku nga buli wiiki waberawo abaana […]
Adama Barrow awangudde akalulu ke Gambia
Bya Musasi Waffe Omukulembeze wegwanga lya Gambia Adama Barrow awangudde akalulu, akasokedde ddala akatabaddemu Yahya Jammeh, eyogerwako nga nakyemaliira eyali akulembedde egwanga lino ku mudumu gwe mmundu n’okulidibaga. Kubadde kusereza ligenda mugga, Barrow bwawangudde a akaklulu kano ku 53% atenga munnamateeka abadde awadawadako Ousainou Darboe […]
UWONET bagala enambika yebinasomesebwa ku kwegadanga ekyusibwemu
Bya Juliet Nalwooga Abalwanirizi b’eddembe lyabakyala wansi womukago ogubagatta ogwa Uganda Women Network (UWONET), bavuddeyo nebakubira gavumenti omulanga ekyuseemu mu nambika y’obubaka obugenderedwamu okuyigiriza abaana abato ebikwatagana ku byokwegatta, kyebatuua sex education, olwo enteekateeka eno esobole okwetannirwa mu masomero gonna. Bino webijidde ngegwanga lyetekateeka okuggulawo […]
Ssentebbe wa UMA omugya awabudde bannamakolero
Bya Juliet Nalwooga Ssentebbe omugya owabanamakolero omugya wansi waUganda Manufacturers Association (UMA) nga ye Deo Kayemba asomoza amakampuni okutunuliira ennyo ebyobulimi, agamba nti lyekkubo erijja okuyamba ebyenfuna okudda engulu okuva mu kabi ka ssenyiga omukambwe. Kayemba yagenda okudda mu bigere bya Barbara Mulwana agambye nti […]
UPDF yaakusigala mu DR-Congo ebbanga eritali ggere
Bya Musasi Waffe Amagye gegwanga aga UPDF gaakusigala munda mu gwanga ya DRCongo, okugenda mu maso nebikwekweto byebatandise ku bajamabula aba Allied Democratic Forces, byebatandise ku lunnaku Lwokubiri. Amawulire galaze nti aamagye ge gwanga aga UPDF nga bali wamu namagye ga DRC, balumbye enfo omugambibwa […]
Ebisale bya Bus babyongezza
Bya Musasi Waffe Aba kampuni za Bus bongezza ebisale okuva e Kampal, okwolekera ebitundu byegwanga ebyenjawulo. Akolanga ssentebbe wekibiina ekibagatta ekya United Bus Owners Association (UBOA) nga ye Solomon Nsimire agambye nti enkyukakyuka zino zigenda kutandika okukola olwaleero, ngagambye nti basoose kukola okwebuuza okumala ku […]
Abasawo bakontanye ku byakediimo
Bya Musasi Waffe Abasawo balangiridde nti baakugenda mu maaso nakediimo kaabwe, okwawukana ku byayogeddwa pulezidenti waabwe Dr Samuel Oledo eyabadde ategeezza nga bwebagenda okuyimiriza akediimo kano. Ssabawandiisi wa Uganda Medical Association Dr Herbert Luswata agambye nti ebikolwa byabwe bikyali wansi okutuusa nga gavumenti etukirizza ebisubizo […]
Olunnaku lwa Ssiriimu: Obwenkanya bwetagisa
Bya Ritah Kemigisa ne Gertrude Mutyaba Ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte, ku mutendera gwensi yonna ekirwanyisa ssiriimu United Nations Program on HIV/AIDS oba UNAIDS bakubye omulanga nti kyekubiira nobutali bwenkanya mu lutalo lwokulwanyisa ssiriimu, busaanye bukome. Kino bagamba nti gugenda kubeera muziziko gwamaanyi, eri ekirubirirrwa kyebalambika […]