Amawulire
Omukazi yeewadde obutwa nómwanawe ne bafa
Bya Malik Fahad, Entiisa ebutikidde abatuuze bé Kabundi ekisangibwa mu disitulikiti eye Sembabule maama bweyewadde obutwa nomwanawe ne bafa lwa mwamiwe kumusuulawo. Angel Nanyonjo, nga mutuuze ku Kabundi trading center e Matete afudde atuusibwa mu ddwaliro oluvanyuma lwokunywa obutwa nomwanawe omyezi 18 Abatuuze banyonyodde nti […]
Ssabaminisita aggumiza bamusiga nsimbi ku butujju
Bya Prossy Kisakye, Ssabaminisita Robinah Nabbanja akakasiza bamusiga nsimbi okufuna obuwagizi okuva eri gavt omuli némbeera ennungi mwebakolera emirimu gyabwe yadde nga wabadewo obulumbaganyi bwa boomu ezakubiddwa abatujju mu kampla. Bino abyogedde kawungeezi ka leero bwabadde aggulawo omwleso gwe byamayumba ogwa Uganda Homes Expo 2021 […]
Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze wéggwanga Museveni wakwogerako eri eggwanga olunaku lwaleero akawungeezi. Museveni wakwogera ku ssaawa bbiri ezekiro nga asuubirwa okutangaza ku mbeera ye kirwadde kya covid-19 nga bweyimiridde mu ggwanga nokwongera ku mbeera eyebyokwerinda. Kino kidiridde abatujju okukuba boomu mu kampala ne mufiiramu abantu […]
Bobiwine avumiridde ekyabakuuma ddembe okutta abagambibwa okuba abatujju
Bya Prossy Kisakye, Senkagale wékibiina kyé byóbufuzi ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu aka Bobiwine, avumiridde ekya bakuuma ddembe okuttirawo abateberezebwa okuba abatujju mu ggwanga. Kino kidiridde omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okuvaayo nakakasa nti abakuuma ddembe basse ateberezebwa okuba omutujju Sheikh […]
Omusango gwa Wakayima gugobeddwa
Bya Ruth Anderah, Eyavuganya naggwa mu kalulu kómubaka wa palamenti owa Nansana Municipalit Hamis Musoke Walusimbi, ajjulidde mu musango gwe yatwala mu kkooti enkulu ngawakanya obuwanguzi bwa Hannington Musoke Wakayima Nsereko negugobwa. Ngennaku zomwezi September 21st 2021 omulamuzi wa kkooti enkulu Henrietta Wolayo yagoba omusango gwa Walusimbi […]
Gavt terina kyakukolera bbeeyi yámafuta ey’ekanamye
Bya Rita Kemigisa, Minisita omubeezi owa masanyalaze nobuggaga obwensibo, Okaasai Opolot avudeyo nategeeza nga gavumenti bwetalina kyesobola kukolawo ku bbeeyi ya mafuta eyekanamye mu ggwanga lino. Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Opolot agambye nti okulinya kwa beeyi ya mafuta kwa nsi yonna so si […]
Omusango gw’abatega boomu mu kuziika Lokech teguwuliddwa
Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa kkooti eyokuluguudo buganda, ayongezaayo Omusango abantu basatu mwe bavunanibwa okutegeka okukola obulumbaganyi mu kuziika eyali amyuka ssabapoliisi Paul Loketch okutuusa nga December 13th 2021 Bano bali ku misango esatu ogwobutujju, okusangibwa ne bissi ebyomutawaana nokubeera mu bubiina bwa batujju. Abavunanwa […]
Amaka 6.2% tegalina Kabuyonjo mu bibuga
Bya Prossy Kisakye, Abóbuyinza mu bibuga bakubiriziddwa okusalira amagezi ekizibu kyobutaba na kabuyonjo zimala nga kino kitadde obulamu bwa bantu mu matiga g’okufuna ebirwadde. Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokwetaba mu bulungi bwannansi e Mutungowakati mu kukuza olunaku lwa World Toilet Day,senkulu wekibiina ki Community […]
Omutindo gw’obuwereza mu bakulembeze guserebye
Bya Benjamin Jumbe Alipoota eyafulumiziddwa abanonyereza aba Afrobarometer eraze nti omutindo gwobuwereza bwababka ba palamenti neba kansala mu nkiiko za disitulikiti zikendedde. Bino webijidde nga wakayita omwaka mulamba, ngabakulembeze bano balondeddwa, mu kisanja kino ekippya. Bweyabadde ayanjula alipoota eno, omunonyereza okuva ku kitongole kya Hatchile […]
Omubaka Basalirwa ayagala gavumenti eteese naba ADF
Bya Benjamin Jumbe Gavumenti esabiddwa okwetaba mu nteseganya nabajambula aba Allied Democratic Forces. Okusaba kuno kukoleddwa omubaka wa munisipaali ye Bugiri, Asuma Basalirwa nga yakulembera ekibiina kya Justice Forum. Basalirwa ategezezza palamenti nti poliisi yakaksizza obulumbganayi buno bwakoleddwa ba ADF, ngeseteganya zezetagisa, nga bwebakikola nabayekera […]