Amawulire
Poliisi enyonyodde ku kuttibwa kwa Sheikh Abbas Kirevu
Bya Juliet Nalwooga Poliisi enyonyodde ku nfa ya Sheikh Muhammad Abbas Kirevu, gwebakubidde amasasai mu kitundu kye Nsangi, mu disitulikiti ye Wakiso. Kino bagambye nti kyabaddewo wakati mu kulwanagana, okwabaddewo ngagaana abebyokwerinda okumukwata. Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti Sheikh Kirevu basubira […]
Abakosebwa mu bulumbaganyi bwa Boomu Gavt egenda kubaliyirira
Bya Rita Kemigisa, Ssabaminisita Robinah Nabbanja akawungeezi ka leero ayogeddeko eri ababaka ba palamenti ku mbeera ye byokwerinda eri mu ggwanga. Kino kidiridde boomu ezakubiddwa abantu mu kibuga wakati abantu 7 ne bafa abasoba mu 30 ne balumizibwa. Nabbanja akakasiza nti gavt yakumala amaanyi abatujju […]
Abatambuza ebifananyi bya Boomu ebyóbulimba bakukwatibwa
Bya Damali Mukhaye, Gavumenti eragidde poliisi okukwata omuntu yenna atambuza ebifananyi ebitali bya butujju obwakolebwa ku lwokubiri lwa ssabiiti eno ne kigendererwa ekyokutiisa bannansi. Abatujju bakuba Boomu bbiri ku lwokubiri emu yabwatukira ku CPS ate endala ku luguudo lwa Parliament Avenue, abantu 7 bebafudde ate […]
Omukama wéTooro akubiriza abasajja okukulembera olutalo olwókulwanyisa Mukenenya
Bya Prossy Kisakye, Omukama we Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru akubiriza abasajja bonna muggwanga okujumbiranga okwekebeza obulwade bwa mukenenya kiyambeko mukawefube eggwanga gweriliko ow’okulwanyisa ekirwade kino wetunatukira mu mwaka 2030 nga kifuuse lufumo. Oyo bino abyogedde aggalawo olukungana olwategekedde akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa mukenenya muggwanga aka Uganda […]
Emirimu gizeemu ku kkooti eyókuluguudo Buganda
Bya Ruth Anderah, Emirimu gizeemu okutambula kinawadda ku kkooti eyó kuluguudo Buganda Kino kidiridde kkooti eno okuggalibwa olunaku lweggulo oluvanyuma lwa abatujju obakuba boomu ku Buganda road okuliraanaa CPS. Olunaku lweggulo tewali muntu yenna eyabadde akkirizibwa okuyingira mu kkooti eno nga poliisi ekifo yakisazeko esobole […]
Atwine awakanyizza RCC ku byokusasuza okugema
Bya Ritah Kemigisa Omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr Diana Atwine asamabazze ebibadde byogerwa nti oktandika nomwaka ogujja okugema COVID-19 tekugenda kuddamu kubeera kwa bwerere. Omubaka wa gavumenti mu Kampala Hudu Hussein yeyabadde akoze okulabula, nti abatemebwe mu budde buno, baakusasaula ensimbi akakadde 1 omwaka […]
Abatembeeyi babagobye ku nguudo
Bya Prosy Kisakye Omubaka wa gavumenti mu Kampala Hudu Hussein alagidde abatembeeyi bonna bave ku mbalza zebizimbe, bagende mu butale obwatekebwawo gyebaba bakolera. Ekiragiro kya RCC, kizze ngabebyokwerinda bagezaako okutereeza obutebnekevu mu kibuga, oluvanyuma lwobulumbaganyi bwa bbomu ez’omudiringanwa. Agambye nti bagal okumalwo omujjuzo mu kibuga, […]
Emmotoka 14 zezatokomokedde mu kubwatuka kwa bbomu
Bya Damalie Mukhaye Gavumenti nebitongole byobwanakyewa ebiralala, saako abantu ssekinoomu kati bali mu kufirwa okwamaanyi, ebintu byabwe bwebyatokomokedde mu kubwtauka kwa bbomu mu kibuga. Awamu emmotoka 14 okuli eza gavumenti nabantu ssekinoomu zezayononekedde mu kubwatuka kwa bbomu 2 mu kibuga Kampala. Emmotoka za gavumenti 5 […]
Palamenti egenda kuddamu okutuula ne City Hall egenda kuggulwawo
Bya Prosy Kisakye ne Damalie Mukhaye Palamenti egenda kuddamu okutuula olwaleero, ngebadde yayimiriza emirimu gyayo oluvnyuma lwa bbomu eyakubwa ku Lwokubiri okulinaana wofiisi ya kalisoliiso wa gavumenti, kinnya nampindi ne palamenti. Kino kikakasiddwa, kalaani wa palamenti Adolf Mwesige. Palamenti egenda kutuula, ngababaka bagenda kutandikira ku […]
Omwaka guweze oluvanyuma lw’obwegugungo bwa Novemba 2020
Bya Juliet Nalwooga Olwaleero, omwaka guweze mulamba, olukuva abantu abasoba mu makumi 50 bafiira mu bwegugungo obwabuna egwanga lyonna, obwaliwo nga 18 nenkeera waalwo nga 19 Novemba mu mwaka gwa 2020. Abantu batanula okwegugunga, oluvanyuma lwokukwatibwa kwakulembera ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu […]