Amawulire
Mutabani wa Gaddafi yesimbyewo kubwa pulezidenti
Bya Musasi Waffe Mutabani weyali omukulembeze wegwanga lya Libya omugenzi Col Muammar al-Gaddafi yewandisizza okuvuganya ku bukulembeze bwegwanga, mu kulonda okugenda okuberawo omwezi ogujja. Egwanga lino ligenda kubeera nokulonda nga 24 Decemba, 2021. Saif al-Islam Gaddafi yaliko omusika wa kitaawe era omuganzi mu gwanga lino, […]
Okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kufundikirwa
Bya Benjamin Jumbe Akakiiko kebyokulonda, kagenda kufundikira entekateeka yokutimba enkalala zabalonzi, mu bifo awagenda okubeera okulonda okwokuddibwamu muzi gavumenti ezebitundu. Entekateeka eno, egenda kufundikirwa ku lunnaku Lwokusattu nga 17 Novemba mu disitulikiti 110. Entekateeka eno yatandika nga 8 Novemba oluvanyuma lwokutereeza enkalala, okwaliwo. Akolanga omwogezi […]
Abatalina mirimu betaaga obuyambi bwa gavumenti
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority kisabiddwa okuvaayo, okutema empenda ezobuliwo okuyamba abantu abatalina mirimu, abagifiirwa mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe. Okusinziira ku kitongole kino, mu kulagula kwabwe obwa buli wiiki ku mbeer yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, ebibalo byabalwadde […]
Poliisi ekutte abadde atigomya abé Jinja
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu disitulikiti yé Jinja eriko omusajja ateberezebwa okwenyigira mu kuzza emisango gyannagomola mu tawuni ye Bugembe gwetadeko obunyonyo Okusinzira ku OC wa Bugembe police station, Steven Twinamasiko, omukwata abadde yenyigira mu mizze gyokusobya ku bakyala, nokufumita abantu singa aliko kyaba ayagala […]
Abawala batono abaganyulwa muntekateeka ya student loan scheme
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku bwenkanya aka kenyamivu olwómuwendo gwábayizi abawala abaganyulwa munteekateeka yókuwola abayizi ensimbi eya student’s loan scheme okuba omutono. Okusinzira ku ssentebe wa kakiiko kano, era nga ye mubaka omukyala owa Alebtong disitulikiti Dorcus Acen, ku bayizi omutwalo gumu […]
Kooti ensukulumu enywezezza ekibonerezo kyamayisa ku Kato Kajubi
Bya Ruth Anderah Abalamuzi ba kooti ensukulumu 5, balamudde nti omusubuzi we Masaka Godfrey Kato Kajubi asibwe mayisa obulamu bwe bwonna mu kkomera, olwokutta omwana omulenzi owemyaka 12. Mu nnamula esomeddwa omuwandiisi wa kooti eno Harriet Ssali Lukwago, abalamuzi abalamuzi abaklembeddwamu Ssabalamuzi wegwanga Alfonse Owiny-Dollo […]
Oulanya awolerezza Museveni
Bya Ritah Kemigisa Omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah, avuddeyo aliko byayogedde ku byebalumiriza minisita wa sayansi ne tekinologiya, eranga ye muwabuzi wa pulezidenti ku birwadde ebikambwe Dr Monica Musenero. Musnero bamulumiziza enguzi, ngomubaka wa munisipalai ye Ntungamo Yona Musinguzi yaleese obujulizi obulaga nti yabulankanya obuwubi […]
Obungi bwabannaYuganda bugenda kweyongera okutuuka ku bukadde 103
Bya Tom Angurin Waliwo alipoota eraze nti omuwendo gwabantu mu Uganda gugenda kweyongera mungeri eyomujirano okutuuka ku bantu obukadde 103 omwaka gwa 2050 wegunatukira. Alipoota efulumye, gyebatuumye National Population Policy 2020, eraga nti kigenda kuva kungeri abantu gyebongedde okuzaala, naddala abakazi ku myaka emito naddala […]
Ettaka lya gavumenti yiika 57 lyatundibwa obuwumbi 69.5 ku bbanja
Bya Prosy Kisakye Akakiiko ka palamenti aka COSASE kazudde nti wlaiwo ettaka yiika 57, eryali eryekitongole kyentambula yegaali zomukka ekya Uganda Railways Corporation e Nsambya lyebawa musiga nsimbi wabula ku bbanja. Bweyabadde alabiseeko mu kakiiko kano, akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, akulira ekitongole […]
Entiisa e Jinja -abafumbo bazikuddwa muntaana
Bya Abubaker Kirunda, Abatuuze ku kyalo Bumwena mu disitulikiti yé Jinja bakeredde mu ntiisa bwebagudde kuntaana za bafumbo ababiri ngémirambo gyabwe gyagibwamu. Ssentebe wa LC1 Muhammed Egesa, agambye nti abantu abatanaba kutegerekeka basimye entaana ya Mpoya Isabirye ne yamukyalawe ne bakuliita ne mirambo abafa emyaka […]