Bya Damali Mukhaye,
Minisita avunanyizibwa kunsonga zábakozi ba gavt Muruli Mukasa, ategezeza nti nga gavt bwegenda okwongeza abakozi baayo okutandika nómwaka ogujja era nga bannasayansi bebagenda okutandikirako.
Kino kidiridde omwaka oguwedde olukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso abakozi ba gavt bongezebwe emisaala.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Muruli agambye nti ekya gavt okutandikira ku bannasayansi kigenderedde kwongeza kusikiriza…
Bya Prossy Kisakye,
Ssabalabirizi wékanisa ya Uganda, Dr Steven Kazimba Mugalu, asiimye gavumenti olwokutuliriza obweyamo ku ttaka lye kanisa Entebbe.
Kino kidiridde gavt gyebuvudeko okwongera okusasula ku bbanja ku ttaka lino lyekozesa mu budde buno lya buwumbi bwensimbi 5
Ssabalabirizi okwongera bino abadde akyaziza sipiika wa palamenti Jacob Oulanya mu makage e Namirembe abadde aleese obweyamo bweyakola mu…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakugu mu byokwerinda bavuddeyo okubaako byebanayonyola ku kubwatuka kwa bbomu okweyongedde mu gwanga, mu nnaku entono eziyise.
Mu njega eno mufiriddemu okusinga baana, nabalala abwerako neblumizibwa.
Kati emisanga ga leero, waliwo bbomu endala ebwatuse netta omuntu omu e Kapeeka mu disitulikiti ye Nakaseke, ngerumizza nabantu abalala 4.
Olunnaku lweggulo abaana, okwabadde owemyaka 5 nomulala owemyaka 6,…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono ebakanye n'omuyiggo ku mukyala agambibwa okujjamu olubuto, omwana yebadde awezezza emyezi nga 8 namusuula mu mwala.
Omwana ono, yabadde wabulenzi nga yamujeeyo nga mulamu, kigambobwa namutuga namutta.
Omusaayi gwasangiddwa nga gukulukuta okuva mu muzigo mwabadde asula, okugenda mu mwala wasangiddwa omulambo gwomwana.
Omunonyereza wa poliisi okuva ku poliisi ye Wantoni, Lillian Nakya atubuulidde…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Namisindwa enonyereza ku nfa yomwana owemyaka 3, eyagudde mu mugga.
Bino byabadde ku kyalo Buuta mu tawuni kanso ye Lwakhakha era mu disitulikiti ye Namisndwa.
Kigambibwa nti omwana ono, yasirittuse okuva mu mikono gya maama we, nagwa mu mugga Lwakhakha bwebabadde basalinkiriza mu kitundu kye Bukhonjo.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers…
Bya Juliet Nalwooga
Abaana babiri, omu wamyaka 5 atenga omulala wamyaka 6 bakubiddwa ekintu ekiteberzebwa okubeera bbomu mu disitulikiti ye Kibuku.
Bano baalonze ekintu kyebatategedde, nebatandika okukizanyisa oluvanyuma ekyabwatuse.
Kinajjukirwa nti wiiki ewedde, abaana 2 bebafiridde mu kubwatuka kwa bbomu e Nakaseke.
Bino webijidde ngegwanga liri ku bunenke, oluvanyuma lwobulumbaganyi bwa bbomuy ezemirundi ebiri ezakubwa gyebuvuddeko.
Omwogezi wa poliisi mu…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu disitulikiti ye Rukungiri ebakanye nokunonyereza, kungeri omukazi owemyaka 40 gyeyavudde mu mbeera nasalako bbaawe, ebitundu byekyama.
Benon Tugumisiriza owemyaka 45, kigambibwa nti mukyala we okumukola kino, basoose kufuna luyombo ngamuneya obwenzi nokuwasa omukazi owokubiri.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi nga ye Elly Maate agambye nti bino byabadde ku kyalo Bikurungu era…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munisipaali ye Ntungamo Yona Musinguzi asabye omukulembeze wegwanga, nabo oubawuliriza obutawuliriza omuwabuzi we yekka ku birwadde ebikambwe, Dr Monica Musenero.
Omubaka ono ku lunnaku Lwokubiri, aliko ebiwandiiko byeyayanjulidde palamenti nga byoleka engeri Musenero eranga ye minisita owa sayansi ne tekinologiya, gyeyabulankanyamu obuwumbi obuli mu 30, ssente ezaali ezokuvumbula eddagala eryaffe erigema ssenyiga…
Bya Damali Mukhaye,
Abakulu kuttendekero lya Makerere University beralikiridde ku kyabayizi abasoma obusomesa ku course eyemyaka 3 kye bagenda okukola oluvanyuma lwa gavt okuvaayo nenkola eya National Teachers’ Policy.
Okusinzira kunkola eno abayizi bonna abasaba okuyiga obusomesa mu mateendekero bakutwalanga emyaka 4 nga basoma okutandika nomwaka guno.
Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa basomesa abava mu mawanga gali mu…
Bya Ruth Anderah,
Ssabawaabi wa gavt awakanyiza omusango ogwatwalibwa mu kkooti abamu ku bannaddiini nábakkiriza nga bawakanya obukwakulizo gavt bweyateeka ku masinzizo olwekirwadde kya covid.
Mu kirayiro ekikubiddwa dayirekita owébyóbulamu mu minisitule eye byobulamu Dr. Henry Mwebesa, gavt ekakasa nti obukwakulizo buno bwaleetebwa kukuuma bannansi era nga buvunayizibwa bwa gavt okukikola.
Dr. Mwebesa agambye nti singa gavt teyasitukiramu…