Amawulire
Abakozesa emikutu gya Yintanenti basabiddwa
Bya Prossy Kisakye, Abakozesa emikutu egyomutimbagano basabiddwa okugyeyambisa okutumbula ebyobulamuzi bya wano mu kifo kyokusasanyizako amawulire agobulimba agagoba abalambuzi. Bwabadde asimbula Miss Uganda Bagaya Elizabeth agenda okukikirira Uganda mu mpaka za bannalulungi munsi yonna ezigenda okubeera mu Puerto Rico (USA), Nampala wa Gavumenti mu palamenti, […]
Abateberezebwa nti baali bategeka obutujju mu kuziika omugenzi Lokech bavunaniddwa
Bya Ruth Anderah Abantu 3 abateberezebwa nti beeali bategeka okukola obutujju nobwanalukalala mu kuziika, eyali amyuka Ssabapoliisi wegwanga Gen Paul Loketch e Pader basimbiddwa mu kooti ya Buganda Road nebavunanibwa, oluvanyuma nebabasindika ku alimanda mu kkomera lye Kitalya. Abavunaanwa kuliko Rashid Katumba owemyaka 21 nga […]
Ateberezebwa obutujju bamusse atoloka
Bya Ritaha Kemigisa Poliisi wansi wekitongole ekirwanyisa obutujju ekya Joint Counter Terror task team baliko omusaja gwebasindiridde amasasai agamusse, ateberezebwa okubera omutujju abadde atoloka. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga, ono abuse ku kabangali ya poliisi nagezaako okudduka bwebabadde babatwala ku SID […]
Aba National Council bali ku Mbarara University
Bya Ivan Ssenabulya Akakiiko akatwala ebyenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education, olwaleero babitaddemu engatto nebolekera ku ttendekero lya Mbarara University of Science and Technology, okwekennenya ember eriyo obanga bagoberera amateeka agabalambikirwa. Akakiiko kano kaayisa ebiragiro eri amatendekero gabasawo, bwegaali gaggulawo, nokulabulwa era […]
Omusajja asse munne lwakumwagalira mukazi
Poliisi mu disitulikiti ye Namisindwa eriko abasajja 4 bekutte ku misango gyobutemu. Okusinziira ku poliisi omu ku bakwate Fred Omasete ne banne abalala 3 balumbye Isac Ekiringi nebamukuba nebamutta nga bamulanga kubabbako mukazi. Omulambo gwa Ekiringi gwasangiddwa ku kyalo Bunandele mu gombolola ye Namboko e […]
Simon Mulongo bamugobye e Somalia
Bya Musasi Waffe Gavumenti ya Somalia egobye omumyuka wakulira AMISSOM, munna-Uganda Simon Mulongo era baamuwadde wiiki emu okuva mu gwanga eryo. Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa minisita wa Somalia owensonga ze bweru wegwanga Mulongo baazudde nti ssi muntu mulungi gyebali era atekedwa okwamuka egwanga lyabwe. Agambye […]
Ababaka balaze okutya kw’abantu n’ebibagaana okugemebwa COVID-19
Bya Benjamin Jumbe ne Ritah Kemigisa Ababaka ba palamenti bogedde okutya okuli mu bantu, ekikyagaanye abangi okugenda okugemebwa ssenyiga omukambwe. Olunnaku lweggulo minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng asomedde palamenti ekiwandiiko ngalaga entekateeka zokugema bwezikyatambudde mu gwanga. Minisita agambye nti abantu 14% mu gwanga lyonna […]
Abaliko obulemu e Mukono balonze obukulembeze
Bya Ivan Ssenabulya, Abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe e Mukono balonze olukiiko olugenda okubakulembera olwa disability council, era abakulembeze abalondeddwa balayiziddwa mbagirawo. Omulamuzi wa kooti ento e Mukono Juliet Nakiboneka, yalaziza abakulembeze abappya abalondeddwa. Kisuule Umar yaalondedwa nga ssentebe w’abaliko obulemu, agenda kumyukibwa Nakigozi […]
Amateeka gakolebwemu ennongosereza kulwókutaasa abaana
Bya Benjamin Jumbe, Abalwanirizi b’eddembe lya bakozi basabye wabeewo enkolagana mu mateeka kiyambeko okulwanyisa ekizibu kyokutika abaana emirimu emikakali Bano okuvaayo bwebati ngekizibu kino kyongedwamu amaanyi embeera eyomuggalo ku masomero eyavirako abaana okutandika okwenyigira mu byemirimu basobole okubaawo. Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa babaka ba […]
Poliisi ekutte aberigombedde ku kkubo e Kisoro
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Kisoro bakutte omusajja owemyaka 29 nomukazi abalanikidde mu katambi, nga berigomba ku mabbali gekkubo. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate agambye nti omukwate mutuuze ku kyalo Migeshi mu muluka gwe Rwaramba e Kisoro. Ono muvuzi […]