Amawulire
Aba PFT bakufuga emyaka 4 mu Gavt eyékiseera
Bya Prossy Kisakye, Ekisinde kye byóbufuzi ekya people Front for Transition leero kitongoza bye bagenda okugoberera singa batwala obuyinza okuva eri gavumenti ya NRM eri mu buyinza kati. Bwabadde ayanja ensonga 12 zebagenda okutandikira nga battue obuyinza ku mukolo ogubadde ku office ze kibiina kye […]
Minisitule ewagidde eky’okugaana abayizi abatali bageme
Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo nenyonyola nga bawagira ekyakoleddwa zzi univasite namatendekero aga waggulu abagaanye abayizi abatali bageme, okusoma. Olunnaku lweggulo, amatendekero gano lwegaguddeewo, wabula e Kyambogo, Kampala University, Uganda College of Commerce e Tororo, National Teachers College Kabale nabalala, tebaganyizza bayizi […]
Omuliro gusanyizaawo emmaali yababazzi Kubbiri
Bya Ritah Kemigisa Ababazzi nabasubuzi ku Kubbiri e Mulago, gebakaaba gebakomba, oluvanyuma lwokufiirwa ebyabwe ebitokomokedde mu muliro ogukutte ekifo webakolera. Abatunda sanduuke zabafu, bebasinze okukosebwa mu njega eno. Omuliro guno, poliisi yabazinya mwoto yasobodde okugulwanyisa nebaguzikiriza obutalanda okugenda mu bintu ebirala. Bino bibaddewo ku ssaawa […]
Abayizi ba Yunivaasite abatali bageme bagaaniddwa okutandika emisomo
Bya Abubaker Kirunda ne Damali Mukhaye, Amatendekero gakyagenda mu maaso nokulemesa abayizi abatali bageme okuva eri ekirwadde kya Covid okuyingira ku masomero wakati mu kuggulawo olunaku olwaleero. E Jinja, ettabi lya Kampala university eriri eyo nalyo ligaanye abayizi abatali bageme kuyingira Okusinzira kwákulira university eno, […]
Aba FDC bagala wateekebwewo okunonyereza okwómuggundo ku bulumbaganyi bwa boomu
Bya prossy Kisakye, Ekibiina kye byóbufuzi ekya Forum for Democratic Change kisabye gavumenti okufunayo kampuni egwira enonyereze era eveeyo ne alipoota ekwata ku boomu ezigambibwa okuba nti zitegebwa batujju mu ggwanga lino. Gye buvudeko abantu bana bafiira mu bulumbaganyi bwa boomu ezategebwa mu kitundu kye […]
Poliisi ekutte 48 kubyekuusa ku butujju
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi eriko abantu 48 abalowozebwa okuba abatujju oluvanyuma lwobulumbaganyi ebwemirundi 2 obwakolebwako ne mufiiramu abantu 2. Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ekikwekweto bano mwebabakwatidde kyatunulidde ebifo omusinga okuba abamenyi ba […]
Ababaka bavudeyo kubyókwetika Kaada zóbugeme bwékirwadde kya Covid
Bya Prossy Kisakye, Abamu ku babaka ba palamenti basabye olukiiko lweggwanga olukulu okuvaayo nolukalala lwa babaka abageme okuva eri ekirwadde kya Covid-19 mu kifo kyokubasaba kaada zobugeme Kino kidiridde amyuka sipiiaka Anita Among okusaba ababaka okugendanga ne kaada zabwe eziraga nti bagemebwa ekirwadde era abatazirina […]
Bannakyewa baanirizza eky’okusala ku mbalirira z’ebitongole
Bya Ritah Kemigisa Ebitongole byobwnakayewa byanirirzza entekateeka ya gavumenti, okusala ku mbaliririra yebitongole byayo nezi minisitule. Kino gavumenti egemba nti kigendereddwamu okukendeeza ku nsasanya etetagisa mu mwaka gwebyensimbi 2021/22. Omuwandiisi wenkalakkalira mu minisitule yebyensimbi eranga ye muwandiisi wegwanika lyegwanga Ramathan Ggoobi, yagambye nti baasobodde okusala […]
NMG yezizza obugya ku mutimbagano
Bya Musasi Wffe Omukutu gwamawulire Nation Media Group-Uganda, okutandika nenkya bagenda kwanjula ekibanja ekibanja kyabwe oba website eyaziddwa obugya Daily Monitor wansi wa NMG mu ntekateeka y’okufuula omukutu gwamuwlire guno ogwa digito. Website eno egenda kujja butereevu live, ku ssaawa 6 ezekiro era ejja kuberako […]
Univasite ziggulawo olwaleero
Bya Damalie Mukhaye University namatendekero amalala aga waggulu, bigenda kuggulawo olwaleero nga 1 Novemba. Kibadde kitutte emyezi 4 nga bino biri ku muggalo, ogwalangirirrwa gavumenti mu muyaga ogwokubiri ogwekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Akakiiko akatwala ebyenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) baafulumya […]