Amawulire
Abayizi b’eKyambogo bagaanye ekyokuwera ensawo
Bya Damalie Mukhaye Abayizi ku ttendekero lye Kyambogo bawakanyizza ekiragiro ekyayisiddwa abatwala ettendekero, nga bagaana ensawo munda mu bibiina omusometrwa. Abayizi bagamba nti tebakakasa bukuumi ku nsawo zaabwe yonna gyezinasigala. Abatwala ettedekero lye Kyambogo balagidde abayizi okuyingira mu bibiina na bitabo na bile byokka, mungeri […]
E Kyambogo abayizi bagaaniddwa okuyingira ebibiina n’ensawo mu kwewala obutujju
Bya Dmali Mukhaye, Abakulu ku ttendekero e kyambogo baweze abayizi okuyingira mu bibiina ne nsawo wakati mu kwerinda ebikolwa byobutujju. Kinajjulirwa nti olunaku lweggulo abayizi ba university namattendekero agawaggulu lwe bazze ku masomero oluvanyuma lwómukulembeze weggwanga okubakkiriza okuva mu muggalo ogwajja ne kirwadde kya covid-19. […]
Buganda esabye Gavt okuteereza obusenze bwabwe ku ttaka lya buganda
Bya Prossy Kisakye, Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti eyawakati okutongoza obuseenze bwabwe ku ttaka lya Buganda. Bino byogeddwa katikiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga bino abyogedde asisinkanyemu minisita owa gavt ezebitundu Raphael Magyezi agenyiwaddeko embuga olunaku lwaleero. Mayiga agambye nti ebitongole bya gavt bingi bikakalabiza […]
Abakulembeze ba basiraamu basabye palamenti ku bbago lyóbusika
Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze ba bayisiraamu okuva mu kakiiko aka Uganda Muslim supreme council basabye akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byamateeka akali mu kwetegereza ebbago lye tteeka erikwata ku ngabana yebyobusika erya succession amendment bill 2021, okuvaayo ne tteeka eritakontana nanzikkiriza yabwe. Bano nga bakulembedwamu […]
Agambibwa okutta bbaawe bamwejerezza
Bya Ruth Anderah Kooti ejjulirwamu yegyerezza Diana Nabbengo Luttu eyali manager ku kitongole kya Public Procurement and Disposal of Assets, emisangoi gyobutemu. Nabbengo nga 17 April 2020 kooti wansi womulamuzi Jane Frances Abodo, yamusingisa omusango gwobutemu nasibwa emyaka 23 emyezi 9 nennaku 3. Ono oludda […]
Magyezi alabudde abakulembeze be’Masaka obutegabira midaala mu katale
Bya Gertrude Mutyaba Minista wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi alabudde abakozi mu Masaka city council ababadde batandise okwegabira emidaala mu katale akapya akazimbibwa, nti bakikomye kubanga akatale kabafuna mpola. Ono okukola okulabula kuno abadde alambula omulimo gw’okuzimba akatale wa wegutuuse. Akatale kano kakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi […]
Minisitule yebyenguudo yeddizza okuwandiika ebidduka
Bya Benjamin Jumbe Ministule yebyenguudo nentambula, okutandika nolwaleero beddizza omulimu gwokuwandisanga ebidduka, omulimu ogubaddenga gukolebwa ekitongole kya Uganda Revenue Authority. Ekitongole kya URA kyekibadde kikola omulim gwokuwandiika emmotoka okumala emyaka 30 nokugaba namba puleti. Enkyukakyuka zino zajjira mu tteeka erya traffic and Road safety act, […]
Alupo yagenda okutabaganya Nabbanja ne Onek
Bya Musasi Waffe Ssabaminista wegwanga Robinah Nabbanja ne minisita webibamba, ababundabunda nebigwa tebiraze Eng Hillary Onek bagenda kusisinkana olwaleero, okugonjoola obutakaanya bwebalina. Amuwulire ag’omunda galaga nti bano bagenda kutuula olwaleero ku ssaawa 5, ngamyuka omukulembeze wegwanga Jessica Alupo yagenda okubatabaganya. Alupo yayingidde mu nsonga zino […]
Mpuuga mwenyamivu olwémbeera ya Ssegirinya okwongera okwononeka
Bya Benjamin Jumbe, Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathius Mpuuga alaze obwenyamivu ku mbeera omubaka wa Kawempe North Mohammed Ssegirinya gyayitamu mu kiseera kino. Bino abyogedde ayogerako eri palamenti akawungeezi ka leero, Mpuuga agambye nti ssegirinya yadde yagibwa mu kkomera natwalibwa okufuna obujanjabi embeera […]
Aba DP bagala Gavt eyongere okusomesa bannansi ku kwewala ebikolwa by’obutujju
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekyébyóbufuzi ekya Democratic Party kyagala gavumenti okwongera okusomesa bannauganda okuba kubwerinde mu kulwanyisa ebikolwa byóbutujju. Aba DP bagamba nti abatujju tebasosola mu kukola ennumba zabwe nga abamu balirowooza nti abatujju bakuba mu kampala ekitali kituufu. Era bano Bagala wabeewo enkolagana ennungi […]