Amawulire
Abayizi abasoba mu mitwalo 37 tebaweereddwa bifo mu siniya
Bya Damali Mukhaye, Abayizi abawera emitwalo 37 mu 1,143 abayita ebigezo byabwe okwegatta ku siniya esooka ne yókutaano omwaka ogujja tebafunye bifo mu masomero ga gavt nagobwannanyini. Kino kidiridde mu kusunsula abayizi okubadde kugenda mu maaso ku kisaawe ekololo okwetabidwamu amasomero agasuka mu 2,000 okuggwa […]
Abalunzi bebyenyanja bawakanyizza omusolo
Bya Prosy Kisakye Abalunzi bebyenyanja, wansi wekibiina Uganda commercial Fish Farmers Association basabye akakiiko ka palamenti akebyobulimi nobuvubi, obutakiriza akawayiro akawa obuyinza zzi gavumenti ezebitundu okuwooza abalunzi bebyenyanja, abakozesa ebidiba. Akakiiko kano kagenda mu maaso nokwetegereza ebbago erya Aquaculture Bill 2021 nokufuna endowooza, zabantu abakwatibwako […]
Etteeka lijja ku masomero ag’obwanannyini
Bya Damalie Mukhaye Gavumenti eri mu ntekateeka, okutandika okussa mu nkola ennambika eyakolebwa ekwata ku basomesa nabakozi mu masomero gobwannanyini. Bagala ennambika eno, etandike okukola mu January ngamasomero gaaguddewo. Bweyabadde ayogerera mu kusunsula abayizi aba S1 ne S5 e Kololo, kamisona owamasomero gobwannayini mu minisitule […]
Museveni akakasizza Okuggulawo egwanga mu January
Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, azeemu okusubiza nti ebikolwa byekitujju bajja kubiwangula. Ayogedde ku bulumbaganyi bwa bbomu, obwemirundi ebiri obukoleddwa ku gwanga mu nnamu entono eziyise, nagamba nti abali emabega webikolwa bino mpaawo webajja kutuuka. Wabula asabye abantu babulijjo okubeera bulindaala, ku […]
Baabano abafulumidde ku lukalala lwabatasasula musolo
Bya Prosy Kisakye Minisitule yebyensimbi, eriko olukalala lwabantu nebitongole 700, lwefulumizza abatayagala kusasaula musolo, okuli nababaka ba palamenti. Olukalala luno lwafulumiziddwa minisita omubeezi, avunayizibwa ku kutegekera egwanga Amos Lugoloobi bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akembalirira. Agambye nti abantu bano, gavumenti ebabanja omusolo gwabuwumbi 137 […]
Ssematimba agugulana nab’eMukono lwattaka
Bya Ivan Ssenabulya Eyaliko omubaka wa Busiro South Peter Ssematimba atanudde okugugulana nabatuuze ku kyalo Katega mu gombolola ye Kyampinsi e Mukono, lwattaka. Ono azze mu kitundu nategeeza abatuuze nga bwebalina okwamuka ettaka lyagamba nti lirye, abatuuze kwekumuviira mu mbeera. Abatuuze bagamba Sseatimba yasooka kujja nasenda emmera […]
Difiri Kirangwa bamukalize wiiki 2
Bya Lukeman Mutesasira Akakiiko ka FUFA dakakwasisa empisa kakalize difiri Ronald Kirangwa ebbanga lya wiiki 2, olwensobi zakoleddwa ku mupiira wakati wa Vipers ne Wakiso Giants, ogwali ku St Mary’s e Kitende. Mu mupiira guno, omukwasi wa goolo ya Wakiso Giants Samson kirya yasamba bubi […]
Emisango gya Ssegirinya ne Ssewanyana bagyongezaayo
Bya Gertrude Mutyaba Olwaleero kooti ezeemu okulaba wa oludda oluwaabi werutuuse mu munoonyereza ku misango egivunaanibwa ababaka, Allan Sseanyana ne Muhammad Ssegirinya n’abalala abavunaanibwa okwenyigira mu kutta abantu e Masaka. Shamim Malende ne Erias Lukwago bannamayteeka babaka bano, nabo balabiseeko Masaka. Ssewanyana yeyanjudde eri kooti, […]
Ba ssentebbe bebyalo bekandazze nebazaayo sitampu
Bya Barbra Nalweyiso Ba ssentebe bebyalo 10 ebikola omuluka ogwa Kireku mu Busimbi Division mu municipaali ye Mityana bakaaye nebakwata stamp zaabwe nebazizaayo ku gombolola eri akulira abakozi Joanita Nabankema, agira azikuuma. Bagamba nti tebakyalina buyinza, abakulembeze banaabwe babafutyanaka. Kino kyadiridde police ye Mityana okuyimbula […]
Omusajja akubye nazaala lw’abaana
Bya Abubaker Kirunda Omusajja akakanye ku nazaala we, namukuba ebikonde ngamulanga okuganira abaana be, obutabamuddiza. Bino bibadde mu disitulikiti ye Bugiri, Erina Nsaba omutuuze we Nakivamba mu gombolola ye Nabukalu, ngaubye maama amuzaliira abaana, ebikonde 3. Kitegezeddwa nti ono yayawukana ne mukyala we, omwezi oguwedde, […]