Amawulire
Kabuleta waakutwala ebitongole mu kooti abakaka abakozi okwegema
Bya Ndhaye Mosese Eyavuganya ku bukulembeze bwegwanga mu kalulu akawedde Joseph Kabuleta, alagidde ebitongole okwefukulula, ku biragiro byebabadde baafulumizza nga bagaana abakozi abatali bageme ssenyiga omukambwe okukola. Ono alabudde nti kino bwekitakolebwe, agenda mu kooti okwekubira enduulu Gyebuvuddeko minisitule yebyobulamu nekitongole kya National medical baayimirizza […]
Amasomero gaalinyisizza obubonero eri aba S1 ne S5
Bya Damalie Mukhaye Okusunsula abayizi abanayingira S1 ne S5, olwaleero kuyingidde olunnaku olwokubiri. Wabula wabaddewo okulinyisa obubonero eri amasomero agasinga kwebayingiriza abayizi. Kino abmasomero abasinga bakitadde kungeri abayizi gyebakolamu obulungi ebigezo byekyomusanvu nebya S4 ebyomwaka oguwedde, 2020. Juliet Atuhirwe, omukulu wessomero lya Bweranyangi Girls SS […]
Kooti egobye omubaka Ndooli Museveni
Bya Barbra Nalweyiso Kooti enkulu e Mubende eragidde akakiiko kebyokulonda okutegeka okulonda okulalaa, okwomubaka wa Buwekula South. Kooti yeemu kidiridde okusazaamu okulondebwa kwa Williams Ndooli Museveni, Fred Tumwesigye bwawangudde omusango gweyawaaba ngawakanya okulondebwa kwe. Mu nnamula esomeddwa kkalaani wa kkooti enkulu e Mubende Godfrey Kaweesi, […]
Abénganda zómugenzi Kasiwukira bayimbuddwa
Bya Ruth Anderah, Abenganda z’omugenzi Kasiwukira 5 eyali omusubuzi omukukutivu mu Kampala bawereddwa okweyimirirwa. Bano okuli John Gayi baaletebwa mu kkooti ya Buganda road nga October 21st 2021 nebasindikibwa mu kkomera ekitalya lwakugezaako kukyuusa byabuggaga byo mugenzi Kasiwukira mu maanya gabwe nga bagamba nti bizinesi ezimu bazikola […]
Bannakyewa batiisatiisiza okugalawo yafeesi zaabwe
Bya Prossy Kisakye, Ebibiina byobwannakyewa ebiwerako bitisizatiisiza okuggalawo emirimu gyabyo mu ggwanga lino singa gavt tekomya ku bitulugunya. Kino kidiridde mu ssabiiti ewedde poliisi okukwata CEO wa Africa Institute for Energy Governance (AFIEGO) Dickens Kamugisha nábakozi abalala 6 kunsonga ezitategerekeka. Mu mwezi ogwomunana omwaka guno […]
Bbomu eyakubiddwa ku baasi yabwatuddwa lumiramwoyo
Bya Ritah Kemigisa Poliiisi ekakasizza nti obulumbaganyi bwa bbomu obwakoleddwa ku bus, bwakoleddwa lumira mwoyo ku bus e Mpigi. Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe e Naguru, omwogezi w poliisi Fred Enanga agambye nti Isaac Matovu owemyaka 23 yeyabwatudde bbomu nekigendererwa okutta abantu bonna ababadde […]
Rev Fr Mugisha bamujeeko emisango gyobutemu
Bya Gertrude Mutyaba Akulira abawaabi ba gavumenti e Masaka agye emisango gyobutemu ku Rev Fr Richard Mugisha ow’eBisanje. Fr Mugisha ne Joseph Mutayomba akulira abakuumi ku kyalo Bisanje baali baggulwako omusango gw’okutta Ronald Kyeyune ate eyafiira mu kaddukulu ka poliisi. Ono baali baamukwata ku misango […]
Ebigambo bya Museveni ku masomero byetaaga okuvumirirwa
Bya Ivan Ssenabulya Abalwanirizi beddembe lyobuntu bakowoodde bannYuganda, okwegatta awamu okuvumirira ebigambo byomukulembeze wegwanga ku muggalo ogukyali ku masomero. Amasomero gabadde ku muggalo kyenkana okumala emyaka 2, okuviira ddala mu March wa 2020, okuva ssenyiga omukambwe lweyakakasibwa mu gwanga. Pulezidenti Museveni mu kwanukula abamuteeka ku […]
Abebyokwerinda banenyezebwa olw’obulagajjavu
Bya Ritah Kemigisa Abakugu mu byokwerinda, obulumbaganyi bwabatujju abakubye bbomu e Komamboga omwafirirdde omuntu omu, nabalal nebalumizibwa bakitadde ku kulagajala kwabakuuma ddembe. Kati wabaddewo okubwatuka okulala ku Bus e Lungala, mu disitulikiti ye Mpigi ngeno omuntu omu yeyafudde. Bwabadde ayogerako naffe Dr Solomon Asiimwe, omusomesa […]
Kooti ejjulirwamu ekendeeezza ekibonerezo kya Ssebuufu
Bya Ruth Anderah Kooti ejjulirwamu ekendezezza ekibonerezo ekyemyaka 40 ekyali kyaweebwa omusubuzi Muhammad Ssebuufu okuda ku myaka 18 nomwezi gumu, saako ennaku 9. Kooti enkulu onoyamusingisa omusango gwokutemula omusubuzi Dona Betty Katushabe mu mwaka gwa 2018. Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3, okubadde omulamuzi Fredrik Egonda-Ntende, […]