Amawulire
Gavt eddukiridde abéMasaka abakosebwa Omuyaga
Bya Ivan Ssenabulya, Gavt okuyita mu yafeesi ya ssabaminisita ewereza obuyambi bwe mmere eri abatuuze mu kibuga kye Masaka abakosebwa omuyaga. Mu buyambi obuwereddwayo kubadeko kilo za kawunga 20,000 kilo za Sukaali 1,000 ne bijanjalo kilo 10,000. Omubaka wa Kimaanya Kabonera mu lukiiko lwe ggwanga […]
Abakozi ba Gavt bakwongezebwa omusaala mwaka gujja
Bya Damali Mukhaye, Minisita avunanyizibwa kunsonga zábakozi ba gavt Muruli Mukasa, ategezeza nti nga gavt bwegenda okwongeza abakozi baayo okutandika nómwaka ogujja era nga bannasayansi bebagenda okutandikirako. Kino kidiridde omwaka oguwedde olukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso abakozi ba gavt bongezebwe emisaala. Mu kwogerako ne bannamawulire […]
Ssabalabirizi asiimye Gavt okutukiriza obweyamo
Bya Prossy Kisakye, Ssabalabirizi wékanisa ya Uganda, Dr Steven Kazimba Mugalu, asiimye gavumenti olwokutuliriza obweyamo ku ttaka lye kanisa Entebbe. Kino kidiridde gavt gyebuvudeko okwongera okusasula ku bbanja ku ttaka lino lyekozesa mu budde buno lya buwumbi bwensimbi 5 Ssabalabirizi okwongera bino abadde akyaziza sipiika […]
Bbomu esse omuntu e Nakaseke
Bya Ivan Ssenabulya Abakugu mu byokwerinda bavuddeyo okubaako byebanayonyola ku kubwatuka kwa bbomu okweyongedde mu gwanga, mu nnaku entono eziyise. Mu njega eno mufiriddemu okusinga baana, nabalala abwerako neblumizibwa. Kati emisanga ga leero, waliwo bbomu endala ebwatuse netta omuntu omu e Kapeeka mu disitulikiti ye […]
Omukazi ajeemu olubuto, omwana namusuula mu mwala
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Mukono ebakanye n’omuyiggo ku mukyala agambibwa okujjamu olubuto, omwana yebadde awezezza emyezi nga 8 namusuula mu mwala. Omwana ono, yabadde wabulenzi nga yamujeeyo nga mulamu, kigambobwa namutuga namutta. Omusaayi gwasangiddwa nga gukulukuta okuva mu muzigo mwabadde asula, okugenda mu mwala […]
Omwana agudde mu mugga nafiramu
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Namisindwa enonyereza ku nfa yomwana owemyaka 3, eyagudde mu mugga. Bino byabadde ku kyalo Buuta mu tawuni kanso ye Lwakhakha era mu disitulikiti ye Namisndwa. Kigambibwa nti omwana ono, yasirittuse okuva mu mikono gya maama we, nagwa mu mugga Lwakhakha […]
Bbomu ekubye abaana abalala e Nakaseke
Bya Juliet Nalwooga Abaana babiri, omu wamyaka 5 atenga omulala wamyaka 6 bakubiddwa ekintu ekiteberzebwa okubeera bbomu mu disitulikiti ye Kibuku. Bano baalonze ekintu kyebatategedde, nebatandika okukizanyisa oluvanyuma ekyabwatuse. Kinajjukirwa nti wiiki ewedde, abaana 2 bebafiridde mu kubwatuka kwa bbomu e Nakaseke. Bino webijidde ngegwanga […]
Omukazi asazeeko bbaawe obusajja ngamunenya bwenzi
Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Rukungiri ebakanye nokunonyereza, kungeri omukazi owemyaka 40 gyeyavudde mu mbeera nasalako bbaawe, ebitundu byekyama. Benon Tugumisiriza owemyaka 45, kigambibwa nti mukyala we okumukola kino, basoose kufuna luyombo ngamuneya obwenzi nokuwasa omukazi owokubiri. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye […]
Omubaka Musinguzi anenyezza Museveni okuwuliriza Musenero yekka
Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa munisipaali ye Ntungamo Yona Musinguzi asabye omukulembeze wegwanga, nabo oubawuliriza obutawuliriza omuwabuzi we yekka ku birwadde ebikambwe, Dr Monica Musenero. Omubaka ono ku lunnaku Lwokubiri, aliko ebiwandiiko byeyayanjulidde palamenti nga byoleka engeri Musenero eranga ye minisita owa sayansi ne tekinologiya, […]
Enkola ya Gavt empya ku basomesa yeralikiriza abé Makerere
Bya Damali Mukhaye, Abakulu kuttendekero lya Makerere University beralikiridde ku kyabayizi abasoma obusomesa ku course eyemyaka 3 kye bagenda okukola oluvanyuma lwa gavt okuvaayo nenkola eya National Teachers’ Policy. Okusinzira kunkola eno abayizi bonna abasaba okuyiga obusomesa mu mateendekero bakutwalanga emyaka 4 nga basoma okutandika […]