Bya Rita Kemigisa,
Ssabaminisita Robinah Nabbanja akawungeezi ka leero ayogeddeko eri ababaka ba palamenti ku mbeera ye byokwerinda eri mu ggwanga.
Kino kidiridde boomu ezakubiddwa abantu mu kibuga wakati abantu 7 ne bafa abasoba mu 30 ne balumizibwa.
Nabbanja akakasiza nti gavt yakumala amaanyi abatujju bano era bannauganda tebalina kuba na kutya.
Ono asabye bannauganda okufaayo eri obulamu bwabwe…
Bya Damali Mukhaye,
Gavumenti eragidde poliisi okukwata omuntu yenna atambuza ebifananyi ebitali bya butujju obwakolebwa ku lwokubiri lwa ssabiiti eno ne kigendererwa ekyokutiisa bannansi.
Abatujju bakuba Boomu bbiri ku lwokubiri emu yabwatukira ku CPS ate endala ku luguudo lwa Parliament Avenue, abantu 7 bebafudde ate abalala abasoba mu 30 ne balumizibwa
Mu kwogerako ne bannamawulire ku Uganda Media…
Bya Prossy Kisakye,
Omukama we Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru akubiriza abasajja bonna muggwanga okujumbiranga okwekebeza obulwade bwa mukenenya kiyambeko mukawefube eggwanga gweriliko ow’okulwanyisa ekirwade kino wetunatukira mu mwaka 2030 nga kifuuse lufumo.
Oyo bino abyogedde aggalawo olukungana olwategekedde akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa mukenenya muggwanga aka Uganda aids commission oluyindidde mu kampla okumala enakku 3 mukwefumitiriza kukirwade kino.
Omukama Oyo…
Bya Ruth Anderah,
Emirimu gizeemu okutambula kinawadda ku kkooti eyó kuluguudo Buganda
Kino kidiridde kkooti eno okuggalibwa olunaku lweggulo oluvanyuma lwa abatujju obakuba boomu ku Buganda road okuliraanaa CPS.
Olunaku lweggulo tewali muntu yenna eyabadde akkirizibwa okuyingira mu kkooti eno nga poliisi ekifo yakisazeko esobole okukunganya obujjulizi ku butujju.
Wabula leero emirimu gizeemu wakati mu bukuumi okwetoloola kkooti
Bya Ritah Kemigisa
Omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr Diana Atwine asamabazze ebibadde byogerwa nti oktandika nomwaka ogujja okugema COVID-19 tekugenda kuddamu kubeera kwa bwerere.
Omubaka wa gavumenti mu Kampala Hudu Hussein yeyabadde akoze okulabula, nti abatemebwe mu budde buno, baakusasaula ensimbi akakadde 1 omwaka ogujja.
Wabula kino Dr Atwine agambye nti ssi kituufu.
Bya Prosy Kisakye
Omubaka wa gavumenti mu Kampala Hudu Hussein alagidde abatembeeyi bonna bave ku mbalza zebizimbe, bagende mu butale obwatekebwawo gyebaba bakolera.
Ekiragiro kya RCC, kizze ngabebyokwerinda bagezaako okutereeza obutebnekevu mu kibuga, oluvanyuma lwobulumbaganyi bwa bbomu ez’omudiringanwa.
Agambye nti bagal okumalwo omujjuzo mu kibuga, era abatembeeyi balagiddwa okugenda mu butale okuli aka Usafi ne Wandegeya, bafune ebifo…
Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti nebitongole byobwanakyewa ebiralala, saako abantu ssekinoomu kati bali mu kufirwa okwamaanyi, ebintu byabwe bwebyatokomokedde mu kubwtauka kwa bbomu mu kibuga.
Awamu emmotoka 14 okuli eza gavumenti nabantu ssekinoomu zezayononekedde mu kubwatuka kwa bbomu 2 mu kibuga Kampala.
Emmotoka za gavumenti 5 zezayonese, nga kwabaddeko eza kalisoliiso wa gavumenti 2, eza poliisi 3, nendala.
Amyuka omwogezi…
Bya Prosy Kisakye ne Damalie Mukhaye
Palamenti egenda kuddamu okutuula olwaleero, ngebadde yayimiriza emirimu gyayo oluvnyuma lwa bbomu eyakubwa ku Lwokubiri okulinaana wofiisi ya kalisoliiso wa gavumenti, kinnya nampindi ne palamenti.
Kino kikakasiddwa, kalaani wa palamenti Adolf Mwesige.
Palamenti egenda kutuula, ngababaka bagenda kutandikira ku kuteesa ku mbeera yebyokwerinda mu gwanga.
Abamu ku babaka ba palamenti, bataubuliidde nti embeera…
Bya Juliet Nalwooga
Olwaleero, omwaka guweze mulamba, olukuva abantu abasoba mu makumi 50 bafiira mu bwegugungo obwabuna egwanga lyonna, obwaliwo nga 18 nenkeera waalwo nga 19 Novemba mu mwaka gwa 2020.
Abantu batanula okwegugunga, oluvanyuma lwokukwatibwa kwakulembera ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi bweyali anoonya akalulu mu disitulikiti ye Luuka.
Kati bannamateeka wansi…
Bya Ivan Ssenabulya,
Poliisi e Mbale etandise okunonyereza ku nnambabula wómuliro ogukutte amadduka ga sipeeya 16 mu Industrial city division.
Amadduka agakutte omuliro kuliko agokya ebyuma, agasipeeya zirestaurant nagebibajje.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Titika, omuliro guno gukutte obudde bukya era nga kirowozebwa okuba nti gwavudde ku restaurant
Taitika atubuulidde nti emotoka zabwe ezizikiriza omuliro zaasobodde…