Amawulire
Aba UBA bagala gavt ekwatireko amasomero góbwannanyini
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kya Uganda Bankers Association kyagala gavumenti etekewo ensawo ya bukadde bwa America 300 eyambeko amasomero góbwannanyini wakati nga gategeka okuggulawo omwaka ogujja. Bino byogeddwa senkulu wékibiina kino, Wilbrod Owor bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byenjigiriza okusobola okuwa endowoozaye ku […]
Ebbeyi yamafuta erinnye
Bya Ndhaye Moses Ebbeyi yamafuta erinnye, ku masundiro agenjawulo wano mu Kampala. Liita yamafura yalinnye kankano okutuuka ku 4,450 eya petuliilo atenga diesel awasinga ya 3,999. Wabaddewo okweyongera kwa nnusu 300 ebya silingi ya Uganda mu wiiki bbiri eziyise. Absinga kino bakitadde kungeri ssenyiga omukambwe […]
Abasibe 10,000 ku 6,000 bebakagemebwa COVID-19
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole kyamakomera kyakagema abasibe omutwalo gumu, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ku basibe emitwalo 6 abali mu makomera. Omwogezi wekitongole Frank Baine agambye nti omuwendo gwabakagemebwa guli wansi, nga kivudde ku ddagala etono eryakabaweebwa okuva mu minisitule yebyobulamu. Baine era agambye nti tewali […]
Byabashaija yegaanye okutulugunya abasibe
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole kyamakomera mu gwanga, basambazze byebabalumiriza okutulugunya abasibe. Bino webijidde ngomubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya gyebuvuddeko yalaga ebiwundu ku mubiri gwe ku luimbe ngasinziira mu kkomera lye Kigo gyali ebyamutusibwako oluvanyuma lwokumutulugunya. Bwabadde ayogera ne bannamwulire, mu nsisinkano eyennaku 3 etudde […]
Abalwadde ba COVID-19 abappya 22 bebafunise
Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyobulamu efunye abalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya, abakyasinze okubeera abatono okuva omuggalo gwa ssenyiga omukambwe gutagululwa. Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority, baalagula nti abalwadde aba buli lunnaku baakukendeera mu wiiki 2 ezijja. Minisitule yafunye abalwadde 22 atenga […]
Omubaka Nambooze Ayogedde ku bulumbaganyi obwamukoleddwako
Bya Ivan Ssenabulya, Omubaka wa Mukono municipality mu lukiiko lweggwanga olukulu, Betty Nambooze yekokodde poliisi okumugyako abakuumi ekitadde obulamubwe mu bulabe. Omubaka akakasiza nti yalumbiddwa mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero mu makage abatemu ababadde Bagala okumumiza omusu . Ono anyonyodde nti abatemu bamenye ne bamuyingirira […]
Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Mbale
Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi e Mbale etandise okunonyereza ku kabenje akafiriddemu omuntu omu. Akabenje kano kagudde ku luguudo oluva e Mbale okudda e Sironko, mmotoka ya buyonjo kika kya Harrier nnamba UBH 651T bwetomedde owebigere nemutta. Omugoba wemmmotoka eno Mugoga Wison atomedde omutambuze namutta, ngono […]
DP ekunze bannauganda okuwakanya ekyókugyawo beyilo
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party,kyenyamivu olwólukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso ky’omukulembeze weggwanga okwagala abateberezebwa okuzza emisango egyannagomola okugibwako olukusa olwokufuna beyilo. Olukiiko lwa baminisita lwayisiza ekiteeso kino nga kati Bagala ssemateeka ataganyulwa akawayiro akókweyimirira abali ku misango eminene kagibwemu era Bagala […]
Kkooti eraze ennaku okuwulira okusaba kwa babaka ba NUP
Bya Gertrude Mutyaba, Kooti enkulu e Masaka etaddewo nga 21 omwezi guno okuwulira okusaba okwokweyimirira ababaka Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West. Omulamuzi omugya Lawrence Tweyanze yaagenda okuwulira okusaba kw’ababaka bano abali ku misango musanvu okuli egy’obutemu, okuvujjirira obutujju saako […]
Okusunsula abasiniya esooka ne yókutaano kutandika ku bbalaza
Bya Damali Mukhaye, Minisitule eye byenjigiriza eraze ennaku ezokusunsuliramu abayizi abagenda mu siniya esooka ne yókutaano. Mu kwogferako ne bannamawulire mu kampala, akulira akakiiko akasunsula, Benson Kule, agambye nti okusunsula kutandika ku bbalaza ejja ngennaku zomwezi 25 okutuuka nga 29th oct ku kisaawe e kololo. […]