Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okuvumirira ekikolwa kyobutujju, bbomu bweyabwatuddwa ku bbaala eya Digida Pork Joint.
Mu kiwandiiko ekyokubiri, Museveni kyafulumizza agambye nti abaakikoze mbizzi mu lunyanyimbe kyayise “parasite pigs”.
Kati agambye nti newankubadde ababadde mu baala babadde bamenya mateeka ku budde obwa kafyu, naye obutemu obwabakoleddwako bwetaaga okuvumirirwa.
Kati agambye nti abatemu bano tebalina…
Bya Reuters
Abajambula aba Islamic state bakakasizza nti bebakoze obulumbaganyi bwa bbomu ku baala e Komamboga, mu kiro kyolwomukaaga.
Muno mwafiriddemu omuntu omu nabalala 3 nebalumizibwa.
Eyafudde yabadde muvubuka owemyaka 20, waita mu kifo kino.
Kati okusinziira kubomukutu gwa Reuters, aba IS baliko ekiwandiiko kyebatadde ku Telegram channel zaabwe akwungeezi keggulo nga bakakasa nti bebakoze obutujju buno.
Bagambye nti babadde…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni asabye bannaYugnda, okusigala nga bakakamu, oluvanyuma lwa bbomu eyakubiddwa ku kiso ekisanyukirwamu ekya Digida Pork Joint e Komamboga, mu Kwata zone e Kampala.
Pulezidenti Museveni obubaka bwe, abuyisizza ku tweeter, nagamba nti baamunyonyodde nga bwebyabadde, ngomuntu omu yeyafudde abalala 5 nebalumizibwa.
Buno agambye nti bubadde bulumbaganyi bwabanalukalala, naye akakasizza nti…
Bya Ivan Ssenabulya,
Maama mu disitulikiti eye Gomba atubidde nómwana owemyaka 2 alina ekizibu ku mutima.
Okusinzira ku Jackeline Nabakooza, abasawo ku ddwaliro lya balwadde be mitima e Mulago bamuwa amawulire nti omwanawe Alexandra Nsereko alina ekituli ku mutima era nga beetaaga obukadde 85 atwalibwe e Buyindi okulongosebwa.
Ono agamba nti agezezako okwetundako buli kalina akunganye ensimbi ezetagibwa…
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni, atongoza labalatole ezigenda okukozesebwa mu kwekebejja ekirwadde kya covid-19 okwobuwaze eri abasabaze bonna abayingira eggwanga ku kisawe Entebbe.
Gye buvudeko gavt ebadde ekebera abo bokka abava mu mawanga agasinga ekirwadde
Bwabadde ayogerera mu kutongoza labalatole zino ezirina obusobozi okwekebejja abasabaz 3,600 mu ssaawa 12 nábalala 7,200 mu ssaawa 24, Museveni yebaziza bonna…
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi mu disitulikiti eyé Rukungiri etandise okunonyereza kunfa yómuvubuka owemyaka 19 eyakubwa oluvanyuma lwokuyita mu faamu yómulamuzi.
Kigambibwa nti Elia Natumanya nga mutuuze we a Rugarama mu gombolola ye Buyanja yakubibwa bweyasalinkiriza mu faamu yómulamuzi Christopher Gashira Bakye mu kudda eka.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu byé Kigezi Elly Maate agambye nti poliisi eriko abantu…
Bya Ivan Ssenabulya,
Abamasomero g’abaana ba kiggala bakukulumidde abatwala eby’enjigiriza mu gwanga olwokubasulirirra.
Bano bagamba nti basanze okusomoozebwa okwamaanyi mu kiseera kyomuggalo, naye tewali buyambi bwonna gavumenti bweyabatusiza.
Akulira Hand in Hand abalabirira abaana ba kiggala mu kibuga Mukono, nga ye Loyce Takwodwori agambye nti abaana abalala baatekebwa ku mwanjo era babagerako mu ntekateeka yokuggulawo amasomero naye bbo…
Bya Benjamin Jumbe,
Okunonyereza okukolebwa kulaze nti emmere esinga ekolebwa wano mu ggwanga terina biriisa birungi okusinzira ku nnambika ye kitongole ekirondoola omutindo gwe bintu.
Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya Uganda consumers’ protection Association nga kiri wamu nába spina bifida.
Bano okunonyereza kwabwe bakukola wakati womwezi ogwo 5-6 2019 okwetoloola eggwanga lyonna ne bakizuula nti amakampuni agakola akawuunga…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira abasuubuzi bebyenyanja ki Uganda Fish Processors and Exporters Association (UFPEA) kyagala mu bbago lye tteeka erikwata ku byenyanja erya Fisheries and Aquaculture bill 2021, eriri mu kwetegerezebwa palamenti mu tekebwemu akawayiro akawera bannauganda okulya emputa basigalire ngege yonna.
Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti ake byobulimi, obuvubi nóbulunzi, akakulemberwa omubaka omukyala owa Abim District Janet Okori-moe,…
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni asomozeza baminisitabe okwewala okweyambisa bakayungirizi mu kugula ebintu bya gavt.
Okwogera bino abadde ku kisaawe e Kololo, ng’awaayo emotoka ezekika kya pikaapu 280 ezagulibwa gavt kunsimbi za bagabi bobuyambi mu kulwanyisa ekirwadde kya covid-19
Museveni agambye nti yalemerako okulaba nti emotoka zino zigulibwa mu batunzi baaazo mu kifo kyokukozesa bakayungirizi abaddumuula emiwendo.
Yebaziza…