Bya Ndhaye Moses
Ebbeyi yamafuta erinnye, ku masundiro agenjawulo wano mu Kampala.
Liita yamafura yalinnye kankano okutuuka ku 4,450 eya petuliilo atenga diesel awasinga ya 3,999.
Wabaddewo okweyongera kwa nnusu 300 ebya silingi ya Uganda mu wiiki bbiri eziyise.
Absinga kino bakitadde kungeri ssenyiga omukambwe gyeyakodsaamu entambula yamafuta munsi wonna, nekikosa namawanga ga East Africa nga Uganda mwojitwaliidde.
Kinajjukirwa nti…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kyamakomera kyakagema abasibe omutwalo gumu, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ku basibe emitwalo 6 abali mu makomera.
Omwogezi wekitongole Frank Baine agambye nti omuwendo gwabakagemebwa guli wansi, nga kivudde ku ddagala etono eryakabaweebwa okuva mu minisitule yebyobulamu.
Baine era agambye nti tewali musibe yamazeeyo doozi eyokubiri, bonna bakafunako doozi esooka.
Baine agambye nti abasibe akadde bebali…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kyamakomera mu gwanga, basambazze byebabalumiriza okutulugunya abasibe.
Bino webijidde ngomubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya gyebuvuddeko yalaga ebiwundu ku mubiri gwe ku luimbe ngasinziira mu kkomera lye Kigo gyali ebyamutusibwako oluvanyuma lwokumutulugunya.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire, mu nsisinkano eyennaku 3 etudde Entebbe, ngekwata ku mbeera yabasibe, ssenkulu wekitongole kyamakomera Dr Johnson Byabasaija abiwakanyizza.
Agambye nti…
Bya Ivan Ssenabulya
Minisitule yebyobulamu efunye abalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya, abakyasinze okubeera abatono okuva omuggalo gwa ssenyiga omukambwe gutagululwa.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority, baalagula nti abalwadde aba buli lunnaku baakukendeera mu wiiki 2 ezijja.
Minisitule yafunye abalwadde 22 atenga abantu 2 bebafudde.
Abalwadde abappya baavudde mu kukebera okwakolebwa nga 17 Okitobba 2021 nga…
Bya Ivan Ssenabulya,
Omubaka wa Mukono municipality mu lukiiko lweggwanga olukulu, Betty Nambooze yekokodde poliisi okumugyako abakuumi ekitadde obulamubwe mu bulabe.
Omubaka akakasiza nti yalumbiddwa mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero mu makage abatemu ababadde Bagala okumumiza omusu .
Ono anyonyodde nti abatemu bamenye ne bamuyingirira okutuuka mu kisenge mwasula era bba yeyalwanaganye nabatemu okutuusa lwe badduse
Nambooze agamba nti…
Bya Ivan Ssenabulya,
Poliisi e Mbale etandise okunonyereza ku kabenje akafiriddemu omuntu omu.
Akabenje kano kagudde ku luguudo oluva e Mbale okudda e Sironko, mmotoka ya buyonjo kika kya Harrier nnamba UBH 651T bwetomedde owebigere nemutta.
Omugoba wemmmotoka eno Mugoga Wison atomedde omutambuze namutta, ngono tanategerekeka bimukwatako.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika agambye nti okunonyereza…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party,kyenyamivu olwólukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso ky’omukulembeze weggwanga okwagala abateberezebwa okuzza emisango egyannagomola okugibwako olukusa olwokufuna beyilo.
Olukiiko lwa baminisita lwayisiza ekiteeso kino nga kati Bagala ssemateeka ataganyulwa akawayiro akókweyimirira abali ku misango eminene kagibwemu era Bagala omuntu bwati amale ebbanga lya myezi 6 mu kkomera ngókunonyereza bwekugenda mu…
Bya Gertrude Mutyaba,
Kooti enkulu e Masaka etaddewo nga 21 omwezi guno okuwulira okusaba okwokweyimirira ababaka Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West.
Omulamuzi omugya Lawrence Tweyanze yaagenda okuwulira okusaba kw'ababaka bano abali ku misango musanvu okuli egy'obutemu, okuvujjirira obutujju saako n'obutujju.
Gyebuvuddeko Omulamuzi Tweyanze yali yagaana okuwulira okusaba kw'abantu bano nga agamba nti…
Bya Damali Mukhaye,
Minisitule eye byenjigiriza eraze ennaku ezokusunsuliramu abayizi abagenda mu siniya esooka ne yókutaano.
Mu kwogferako ne bannamawulire mu kampala, akulira akakiiko akasunsula, Benson Kule, agambye nti okusunsula kutandika ku bbalaza ejja ngennaku zomwezi 25 okutuuka nga 29th oct ku kisaawe e kololo.
Ono agambye nti abakulu ba masomero bakulondoba abayizi mu mitendera nga abantu 400…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Forum for Democratic Change kisabye gavumenti okutondawo akakiiko akavunayizibwa ku kugereka emisaala gyábakozi.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaijja, agambye nti waliwo obutali bwenkanya bungi ku ngereka yémisala mu bakozi ba gavt naba makampuni agómuntu ssekinoomu.
Awadde ekyokulabirako ekya bakansala mu lukiiko…