Bya Musasi Waffe
Wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga, balaze okutya ku muwendo gwabansi ba South Sudan abyongedde okuyingira egwanga nga bayita mu buwunjuwunju, ku nsalo mungeri emenya amateeka.
Mu mwaka gwa 2020, omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira ensalo ziggalwe, entekateeka eyalubirirra okutagfira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.
Kino kyali kitegeeza nti wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga yayimiriza okwaniriza abnoonyi bobubudamu.
Wabula…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje, akafirirddemua abantu 3 mu disitulikiti ye Nakasongola.
Akabenje kano, kaagudde mu kitundu kye Kyankonwa ku luguudo olva e Kampala okudda mu disitulikiti ye Gulu nga waliwo nabantu abalal abalumiziddwa.
Okusinziira ku Isah Semwogerere, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanah akabenje kano ketabiddwamu emmotoka okubadde kika kya Harrier namba UAZ…
Bya Musasi Waffe
Waliwo abatuuze mu disitulikiti ye Bukwo mu kitundu kye Sebei abasabye minisitule ya gavumenti ezebitundu okukyusa kulira emirimu gya gavumenti oba Chief Administrative Officer owe Bukwo, Balabas Swaib.
Abatuuze okuva ku kyalo Amanang nga bakulembeddwamu Joshua Chelimo balumiriza CAO enguzi, bagamba nti ebbanga eddene lyamaze ku disitulikti abaletedde bulabe bwerere.
Bagamba nti abantu babulijjo, tebaganyuddwa…
Bya Juliet Nalwooga
Ente 1000 zezinunuddwa okuva mu mikono gyababbi, okuviira ddala mu August womwaka guno 2021 mu disitulikiti ye Napak mu gombolola ye Lotome.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Mt Moroto nga ye Mike Longole agambye nti ente zino zibadde zisangibwa mu muluka gwe Kodonyo, Natapar ne Akwangan ngoluvanyuma lwokuzibba eno gyebababaddenga bazikweka.
Kati abanatu babulijjo…
Bya Tom Angurin
Gavumenti okuyita mu kitongole kya National Agricultural Research Organization-NARO etegezezza nga bwegenda okutandika okugema okwenkwa okwawamu, nga bakozesa eddagala eryavumbuddwa banasayansi ba wano.
Eddagala lino ligenda kutandika okukozesebwa mu Decemba ku nkomerero yomwaka guno, wabulanga lyakutekebwa ku katale mu June womwaka ogujja.
Kuno kuliko ekika kya Brown ear tick, blue tick, bont tick ne cocktail…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu kitundu kya Wamala eriko emmundu 2 zenunudde, oluvanyuma lwobubbi obwabadde ku kkolero lya Zian Duomi mu disitulikiti ye Kassanda.
Mu bubbi buno mufiriddemu omusirikale wa poliisi ku daala lya constable atenga abalala balumiziddwa.
Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti abazigu 15 balumbye ekkolero lino nga bakakatanye namajambiya nebissi, nebasala olukomera…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ejjulirwamu ekendezeza ekibonerezo ku muvubuka eyasingisibwa omusango gwokujula ebitanajja bweyakwata omwana owemyaka 2.
Eric Kwagala omulamuzi wa kkooti e masaka yasooka kumusalira myaka 43 agimale mu kkomera wabula ekibonerezo kino kikendezedwa okudda ku myaka 26 oluvanyuma lwokujjulira ensala yomulamuzi nti yamulamuza busungu bungi.
Omusango Kwagala yaguza nga April 8th 2013 e Masaka bweyasoberera omnwana…
Bya Abubaker Kirunda,
Omubaka wa Bunya south mu palamenti, Iddi Isabirye agibbwa mu palamenti okusinzira ku nsala yomulamuzi Suzan Abenyo atuula e Jinja.
Isabirye yatwalibwa mu kkooti munne bwebeeli kumbiranye mu kalulu Robert Ntende nga amulumiriza okubba akalulu nokutiisatiisa abalonzibe.
Omulamuzi Abenyo agambye nti obujjulizi obuleetedwa bulaga nti akalulu tekaali kamazima era alagidde Isabirye okuliyirira Ntende ensimbi zonna…
Bya Abubaker Kirunda,
Omubaka wa Bugweri county mu palamenti Abdu Katuntu awangudde omusango gwe byekulonda ogubadde guwakanya obuwanguzibwe mu kulonda okuwedde.
Julius Galinsonga,munnamateeka wómu kampala, yeyatwala Katuntu mu kkooti.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja, Suzan Aenyo munsalaye agambye nti Galinsonga aremereddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti waliwo okutiisatiisa abalonzi
Ono era ategezeza nti obujjulizi obuleeteddwa mu kkooti tebumala kuwakanya…
Bya Ivan Ssenabulya
Olwaleero nga 15 Okitobba 2021 lunnaku lwakunaaba mungalo munsi yoba oba International Handwashing Day.
Olunnaku luno lwabangibwawo okwongera okumanyisa abantu ku bukulu bwokunaaba mungalo, okusobola okwewala endwadde.
Ku mulundi guno luvugidde ku mubala “Our Future is at Hand – Let's Move Forward Together”
Kati obubaka obujidde ku lunnaku luno, gavumenti esomozeddwa okutwala kawefube mu bantu okubazaamu…