Amawulire
Obubaka obukulembeddemu olunnaku lwamaaso
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe Uganda eri mu ntekateeka, okwegatta kunsi yonna okukuza olunnaku lwa World Sight Day olukwatibwa buli nga 14 Okitobba. Palamentti esabiddwaokuyisa ebbago erya Organ Transplant Bill, liyambeko mu byobujanjabi nemirimu gyokujjulula ebitundu byoubiri. Dr. Patrick Luwaga amyuka akulira eddwaliro lye […]
Banasayansi bazeemu okubanja ebbago lya Genetic Engineering regulatory bill
Bya Ndhaye Moses Ekibinja kyabanansayansi abato, okuva ku ttendekero lye Makerere basbye palamenti eyomulundi ogwe 11, okuyisa ebbago erya genetic engineering regulatory bill lifuuke etteeka. Bano okuyita mu kibiina ekibagatta, Synbio-Africa baakulembeddwamu Geoffrey Otim nebalaga obukulu bwetteeka lino eri emirimu gyokunonyereza nokuvumbula mu gwanga. Otim, […]
Makerere betongodde okuva mu NSSF
Bya Damalie Mukhaye Olukiiko olwa waggulu oluddukanya ettendekero ekkulu mu gwanga, olwa Makerere University Council basazeew okwewandukulula nabakozi baabwe mu kitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund (NSSF). Kino kyadirirdde gavumenti okubawa olukusa, okutandika entekateeka eyaabwe, mwebagenda okuyita nabakozi okuterekeranga ibukadde bwabwe. Kino baakituumye MURBS, […]
Gavumenti esse omukago ne UNFPA
Bya Benjamin Jumbe Gavumenti esse eomukago nabekitongole kya United Nations Population Fund (UNFPA), okukola ku nsonga nebizbu ebivaako abaana abatanetuuka okufuna embuto. Wabaddewo ensisinkano wakati wa minisita omubeezi owekikula kyabantu, avunayizbwa ku byobuwangwa Peace Mutuuzo nakulira UNFPA mu Uganda Suzanne Mandong. Bakanyizza okwetaba mu nteseganya […]
Museveni alabudde aba UNATU
Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze weggwanga Museveni asabye ekibiina omwegatira abasomesa obuteekiika mu ntekateeka ya gavt eyókuwa abasomesa basayansi omusaala oguwera. Bino abyogeredde ku mukolo ogwokukuza olunaku lwa basomesa olwensi yonna ogubadde ku kisaawe e Kololo. Pulezidenti okuvaayo bwati kidiridde ssabawandiisi we kibiina omwegatira abasomesa ekya […]
NUP yegaanye okulumba Besigye, DP siyakwegatta ku Kisinde kya PFT
Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye, Ekibiina kye byóbufuzi ekya NUP kisambaze ebigambibwa nti kikubagana ne kisinde kye byobufuzi ekyatongozebwa bannabyabufuzi nga bakulembedwamu eyavuganya kuntebe eyomukulembeze weggwanga enfunda nya, Dr Kiiza Besigye. Dr Besigye ne banne mu ssabiiti ewedde batongoza ekisinde kya People’s Front for […]
Dr Besigye yegaanye okulwanyisa NUP
Bya Prosy Kisakye Ssentebbe wekisinde ekyatondebwawo, People’s Front for Transition (PFT) Dr. Kiiza Besigye alabudde abavuganya gavumenti ku muze gwokwesalamu nenjawukana. Besigye agambye nti okutondawo ekisnde kino, tekutekeddwa kwabuluza mu bavuganya gavumenti kubanga ekigendererwa kwekujjako gavumenti ya NRM, ngokulonda kwa 2026 tekunatuuka. Ayogedde ku lutalo […]
Omwana omuwala yetaaga okukumibwa
Bya Ivan Ssenabulya Ebitongole byobwanakyewa biraze obwetaavu, okufuula amsomero ebifo ebyeyagaza nobukuumi obumala eri omwana omuwala. Alipoota ezenjawulo zizze ziraga engeri abaana abawala gyebatulugunyizibwamu ku masomero, okuli okubasobako, okubattikka embuto nabamu nebawanduka mu kusoma. Omulanga guno gwazze, Uganda bweyabadde yegasse kunsi yonna okukuza olunnaku lomwana […]
Uganda olwaleero lwekuza olunnaku lwabasomesa
Bya Damalie Mukhaye Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni olwaleero agenda kwetaba ku mukolo gwolunnaku lwabasomesa, ogugenda okubeera ku kisaawe e Kololo. Olunnaku lwabasomesa munsi yonna, lukwatibwa, buli nga 5 Okitobba, wabula mu Uganda emikolo bagyongezaayo kubanga omukulembeze wegwanga teyali mu gwanga. Ssabawandiisi wekibiina ekigatta absomesa […]
Omwana owemyezi 3 afiiridde mu muliro
Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti ye Namisindwa etandise okunonyereza ku maama eyasibidde omwana owemyezi 3 munju nafiira mu nnambabula wómuliro ogwakutte enyumba. Omugenzi ye Robina Misheru ngóno yafiiridde mu mu muliro ogwakutte enju nnyina mweyalese amusibidde Kigambibwa nti omukyala ono yalese sigiri munju nga […]