Bya Ndhaye Moses
Ekibinja kyabanansayansi abato, okuva ku ttendekero lye Makerere basbye palamenti eyomulundi ogwe 11, okuyisa ebbago erya genetic engineering regulatory bill lifuuke etteeka.
Bano okuyita mu kibiina ekibagatta, Synbio-Africa baakulembeddwamu Geoffrey Otim nebalaga obukulu bwetteeka lino eri emirimu gyokunonyereza nokuvumbula mu gwanga.
Otim, agambye nti obutaberawo bwateeka lino, kigenda kwongera okugotaanya emirimu gyokunonyereza.
Wabula, ebbago lino lyali…
Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko olwa waggulu oluddukanya ettendekero ekkulu mu gwanga, olwa Makerere University Council basazeew okwewandukulula nabakozi baabwe mu kitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund (NSSF).
Kino kyadirirdde gavumenti okubawa olukusa, okutandika entekateeka eyaabwe, mwebagenda okuyita nabakozi okuterekeranga ibukadde bwabwe.
Kino baakituumye MURBS, ngolukiiko olwa Council lwasalawo kino mu lutuula lwabwe olwaomulundi ogwe 153 olwaliwo nga…
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti esse eomukago nabekitongole kya United Nations Population Fund (UNFPA), okukola ku nsonga nebizbu ebivaako abaana abatanetuuka okufuna embuto.
Wabaddewo ensisinkano wakati wa minisita omubeezi owekikula kyabantu, avunayizbwa ku byobuwangwa Peace Mutuuzo nakulira UNFPA mu Uganda Suzanne Mandong.
Bakanyizza okwetaba mu nteseganya nabakulembeze aba wggulu abakwtaibwako ensonga, okuvaayo nenkola ezinayitwamu okulwanyisa obutabanguko mu maka, abaana…
Bya Damali Mukhaye,
Omukulembeze weggwanga Museveni asabye ekibiina omwegatira abasomesa obuteekiika mu ntekateeka ya gavt eyókuwa abasomesa basayansi omusaala oguwera.
Bino abyogeredde ku mukolo ogwokukuza olunaku lwa basomesa olwensi yonna ogubadde ku kisaawe e Kololo.
Pulezidenti okuvaayo bwati kidiridde ssabawandiisi we kibiina omwegatira abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma, okusaba pulezidenti agyewo okusosola mu basomesa nga…
Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byóbufuzi ekya NUP kisambaze ebigambibwa nti kikubagana ne kisinde kye byobufuzi ekyatongozebwa bannabyabufuzi nga bakulembedwamu eyavuganya kuntebe eyomukulembeze weggwanga enfunda nya, Dr Kiiza Besigye.
Dr Besigye ne banne mu ssabiiti ewedde batongoza ekisinde kya People’s Front for Transition (PFT) naye wabadewo ebigambo ebiyitingana ku mikutu gya social media wakati…
Bya Prosy Kisakye
Ssentebbe wekisinde ekyatondebwawo, People’s Front for Transition (PFT) Dr. Kiiza Besigye alabudde abavuganya gavumenti ku muze gwokwesalamu nenjawukana.
Besigye agambye nti okutondawo ekisnde kino, tekutekeddwa kwabuluza mu bavuganya gavumenti kubanga ekigendererwa kwekujjako gavumenti ya NRM, ngokulonda kwa 2026 tekunatuuka.
Ayogedde ku lutalo lwebigambo, olwatanfdise ku mitimbagano nagamba nti terwetagisa, eranga tebalina kigendererwa kyonna okunafuya ekibiina…
Bya Ivan Ssenabulya
Ebitongole byobwanakyewa biraze obwetaavu, okufuula amsomero ebifo ebyeyagaza nobukuumi obumala eri omwana omuwala.
Alipoota ezenjawulo zizze ziraga engeri abaana abawala gyebatulugunyizibwamu ku masomero, okuli okubasobako, okubattikka embuto nabamu nebawanduka mu kusoma.
Omulanga guno gwazze, Uganda bweyabadde yegasse kunsi yonna okukuza olunnaku lomwana omuwala, International Day of the Girl Child.
Akulira emirimu ku kitongole kya Rising Voices,…
Bya Damalie Mukhaye
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni olwaleero agenda kwetaba ku mukolo gwolunnaku lwabasomesa, ogugenda okubeera ku kisaawe e Kololo.
Olunnaku lwabasomesa munsi yonna, lukwatibwa, buli nga 5 Okitobba, wabula mu Uganda emikolo bagyongezaayo kubanga omukulembeze wegwanga teyali mu gwanga.
Ssabawandiisi wekibiina ekigatta absomesa mu gwanga, Uganda National Teacher’s Union (UNATU) nga ye Filbert Baguma agambye nti…
Bya Ivan Ssenabulya,
Poliisi mu disitulikiti ye Namisindwa etandise okunonyereza ku maama eyasibidde omwana owemyezi 3 munju nafiira mu nnambabula wómuliro ogwakutte enyumba.
Omugenzi ye Robina Misheru ngóno yafiiridde mu mu muliro ogwakutte enju nnyina mweyalese amusibidde
Kigambibwa nti omukyala ono yalese sigiri munju nga afumba ebijanjalo nagenda okugula empeke zomwana omulala eyabadde omulwadde yagenze okudda ngomwana afudde…
Bya Benjamin Jumbe,
Amaka gábantu agasoba mu 200 gakosebwa nnamutikwa wénkuba afudembye nga alimu ne kibuyaga mu disitulikiti yé Kisoro, Kibaale , Kagadi ne Kakumiro.
Amaka ga bantu 17 go gasaaniddewo ddala munkuba ekedde okufudemba enkya ya leero e Kibaale ne birime byononedwa ku kyalo Musezero mu disitulikiti yé Kisoro
Omwogezi wa Uganda redcross society, Irene Nakasiita agambye…