Amawulire
Gavt esabbiddwa kunsonga zábakadde mu kibuga
Bya Prossy Kisakye Gavumenti esabiddwa okuwa abakadde bómu Kampala obujanjabi obwóbwerere naddala kundwadde enkakali ezibatawanya. Bino byogeddwa Loodi meeya wa Kampala, Erias Lukwago bwabadde ayogerera ku mikolo egyókujaguza olunaku lwa bakadde egibadde wali ku city hall. Lukwago agambye abakadde abali mu kampala batono nyo nga […]
Kabafunzaki bamusibye emyaka 3
Bya Ruth Anderah Eyali minisita wabakozi Herbert Kabafunzaki emisango gyokulya ekyoja mumiro ekyobukade 5 gimusinze. Ekibonerezo, kooti emusalidde ekibonerezo kyakusasula engasi ya bukadde 10 oa okusibwa emyaka 3 mu nkomyo. Kooti enkulu ewozesa emisango gyenguzi era ekalize Kabafunzaki, obutaddamu kuwereza mu gavumenti wonna okumala emyaka […]
Abaana abaafuna embuto mu muggalo batotodde ennaku
Bya Ivan Ssenabulya Abaana abobuwala, abamu ku baafuna embuto n’okuzalira mu mu muggalo, batottode embeera gyebalimu. Bangi bagamba nti bagwa mu butego bwabasajja nebabafunyisa embuto, naye abasajja ababzalamu babasulawo tebabawa buyambi. Bano bakunganidde ku gombolola ye Nagojje, gyebazze okufuna obuyambi okuva mu kitongole ky’eby’enjigiriiza ku […]
Olwaleero mafuga ga Buganda
Bya Ivan Ssenabulya Omwami wa Ssabasajja Ow’egomboloola ye Nagojje-Musaale nga ye Amran Kasozi akunze abantu ba Kabaka bulijjo okujjumbiranga okukola Bulungibwansi. Agambye nti mu Bulungibwansi, obwakabaka bwa Buganda kwebwesigamye era musingi okutambuzibwa emirimu. Bino abyogeredde ku kitebbe ky’eggomboloola bwabadde akulembeddemu omukolo gwa Bulungibwansi. Olunnaku olwaleero, […]
DPP ayagala kutwala musango gwa Mabirizi ne Bobi
Bya Ruth Anderah Ssabawaabi wa gavumenti asabye kooti ya LDC okubakiriza, batwae omusango gwa Hassan Male Mabirizi, gweyawawabira akuliraekibiina kya National Unity Platform. Mu musango guno Mabirizi, yawawabira Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, ngawakanya engeri gyeyayingiramu e Makerere, atuuke okusoma nokutukirwa Diploma mu […]
Ababaka ku kakiiko ka COSASE bagenda kulambuka ekisaawe ky’Entebbe
Bya Prosy Kisakye Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ka COSASE, akalondola emirimu mu bitongole bya gavumenti basubirwa olwaleero, okutuuka ku kisawe kyennyonyi Entebbe okulaba emirimu gykudabiriza nokugaziya ekisaawe bwegitambula. Kino kyadiridde abakungu okuva mu kitongole kya Uganda Civil Aviation Authority (UCAA) okulabikako mu kakiiko, […]
Uganda tetambudde bulungi mu myaka 59 egyobwetwaze
Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe Abatunuliira ensonga bategezezza ngemyaka gya Uganda 59, egyobwetwaze bwejibadde gimalamu amaanyi. Ambassador Harold Acemah agambye nti Uganda bweyafuna obwetwaze baali basubidde bingi naye bitono ebitukiddwako. Acemah agambye nti egwanga lyawaba, okuva ku mulamwa era litambula litagala eno neeri. Ono […]
Uganda bajijje ku lukala lwabatalina kugenda Bungereza
Bya Ritah Kemigisa Uganda yeemu ku mawanga 47 Bungerez, gejje ku lukalala lwabatalina kuyingira gwanga eryo. Bungereza eriko amawanga geyatekako ekkoligo, nga baakikola okwetagira ssenyiga omukambwe, COVID-19. Akulira ebyentambula mu Bungereza oba Transport Secretary Grant Shapps agambye nti amawanga gebataguludde kigenda kutandika okukola ku Bbalaza […]
Dr. Besigye aleese ekisinde ekirala okununula egwanga
Bya Prosy Kisakye Ab’oludda oluvuganya gavumenti basse omukago, nebatondawo ekisinde, bagambye nti mwebagenda okuyita okununula egwanga ng’omwaka gwa 2025 tegunatuuka. Ekisnde kino kituumiddwa People’s Front for Transition nga kigenda kukulemberwa, akulira People’s Government era eyali akulembera FDC Dr Kizza Besigye, waakumyukibwa Lord Mayor wa Kampala […]
Ababbi basse omukuumi ku ssundiro lyamafuta e Jinja
Bya Abubaker Kirunda Abazigu abatanaba kuterekeka, bakubye omukuumi ku ssundiro lyamafuta erya Stabex Petrol e Jinja nebamutta. Obutemu buno bubaddewo, mu bubbi obukoleddwa ku ssundiro lyamafuta lino, ngabazigu bakuliise nensimbi ezitanaba kutegerekeka. Omugenzi ye James Okabway, ngafudde atusibwa ku ddwaliro ekkulu e Jinja atenga Isaac […]