Bya Ritah Kemigisa
Uganda eremereddwa okuzimba ebitongole ngetandikira ku misngi egyazimbibwa, abafuzi bamatwale ababawa obwettwaze emyaka 59 emabega.
Bino byogeddwa, omusomesa we Makerere Mwambustya Ndebesa nga Uganda egenda okukuza emyaka 59 egyobwetwaze.
Okusinziira Mwambustya, abazungu baali bazimba emisingi ensi kwetambulira, era bangi bajitambuliddeko nebagenda mu maaso, wabula mu Uganda emisngi bagisanyizaawo.
Ono avumiridde ekikolebwa, okutondawo disitulikiti nebifo byobukulembeze okusinziira…
Bya Ritah Kemigisa
Abaana bonna ku lukalu lwa Africa bagenda kugemebwa ekirwadde kyomusujja gwensiri, mu kawefube owebyafaayo okulwanyisa ekirwadde kino.
Obulwaddde bwa Malaria kikyali kizbu kyamaanyi, era butta abaana bangi abawera.
Kati abakugu baasobodde okuvumbula eddagala erigema, lyebatuumye RTS, S Vaccines, nga lyakakaksibwa emyaka 6 emabega.
Eddagala lino lyakolebwako okugezesa mu Ghana, Kenya ne Malawi, era ekitongole kyaebyobulamuz musni…
Bya Prosy Kisakye
Minisita wa sayansi ne tekinologiya Dr Monica Musenero obutayolesa mmotoka ya Kira ekolebwa mu Uganda, mu mwoleso gwa Dubai Expo akitadde ku bbula lyansimbi.
Musenero yabadde mu kakiiko ka palamenti aka tekinologiya, eno omubaka wa Terego West Joel Leku namuteeka ku nninga okunyonyola lwaki obuyiiya nga buno tebwatereddwa ku mudaala gwa Uganda.
Kati yayanykudde nti…
Bya Ritah Kemigisa
Uganda Nurses and Midwives Union, ekibiina ekigatta abasawo balagidde ba memba baabwe okusigala ku mirimu nga bakola, okutuusa lwebanafuna okuddibwamu okutongole okuva mu gavumenti ku nsako yaabwe gyebabanja eyokugema ssenyiga omukambwe.
Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop agambye nti wiiki eno, baabadde batekeddwa okusisinkana abakulu mu gavumenti wabula ensisinkano baajijuludde yakuberawo ku Bbalaza wiiki ejja.
Cherop…
Bya Gertrude Mutyaba
Ensonga z'ababaka ba Palamenti okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammed Ssegirinya owa Kawempe North ez'okusaba okweyimirirwa zikyalimu kigoye wezinge.
Puliida wabavunaanwa ategezeddwa ngensonga bwezolekedde ewomulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija yajja okuzisalawo.
Bano nga bayita mu ba puliida baabwe aba Lukwago and co advocates baasaba okweyimirirwa nga baalambika ensonga 11 kooti kweba esinsziira okuyimbula abantu…
Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byokulonda kafulumiza ebinagobererwa mu kudamu okulonda ba sentebe be bitundu nabantu abekinzo.
Mu kiwandiiko kyafulumiza akawungeezi ka leero ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama agambye nti entekateeka yakusooka nakwetegereza nkalala za balonzi nga 22-26th October ate okusunsula abesimbyewo kutandika nga 29th- 30th November 2021.
Kampeyini zakukubwa okuva nga 2nd -14th December ate…
Bya Ndhaye Moses
Ebbugumu litandise, nga liigi yegwanga eya Star times Uganda Premier League 2021/22 egenda okutandika nga 15 Okitobba 2021.
Kinajjukirwa nti sizoni ewedde tayaggwa, nga nemipiira egyasembayo gysambibw atemuli bawagizi, wabula ku mulundi guno mu bisaawe, mwakuberamu abawagizi abagere.
Bwabade ayogera ne bannamawulire CEO wa FUFA, Decolas Kizza agambye nti abawagizi 200 bebajja okukirza okuyingira munda…
Bya Ivan Ssenabulya
Abasomesa mu disitulikiti ye Kiboga babakubyeko enkata ya mmotooka kapyata ekika kya Drone ebayambeko okugonza ebyentambula.
Emmotoka eno, ebawereddwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kiboga Kaaya Christine Nakimwero ngagambye nti yazudde okusomozebwa okungi abasomesa kwebayitamu.
Agambye nti era yaakubayambako okujjamu ssente, okweterekera nokwekulakulanya
Omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunya asabye babaka banne, bonna baddeyo mu…
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu disitulikiti ye Wakiso bakwataganye nabakulembeze be Bujuuko, ku kyalo Ntinda mu gombolola ye Mende nebanunula omuwala owemyaka 15 ne mwanyina, taata waabwe babadde yagglira mu nnyumba ngabasibe.
Bano kigambibwa nti kitaabwe Abdul Shakur Twebaze, owemaka 67 yabadde yabagalira nga tabakiriza wadde okufuluma.
Abaulembeze ku kyalo bagamba nti baafunye amawulire ku musajja ono nengeri…
Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda butuuse kuntegeragana n’ekibiina ekirwanisa mukenya mu Uganda ekya Uganda Aids Commission, okukolera awamu okulwanisa mukenya mu Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu omwaka 2030 gugende okutuuka nga obulwadde buno bufuuse lufumo.
Bwabadde atongoza enkolagana eno wano e Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti obwakabaka bugenda kulwana…