Amawulire
E ssembabule abalunzi balajaana kwa Nkwa
Bya prossy kisakye, Abalunzi mu district ye Sembabule balaajanide gavumenti okubaduukirira mu bwangu ebataase ku kizibu kyenkwa Bano nga bakulembeddwamu Niwatawa Ronald asangibwa kukyalo Kaliza mu mawogola North mu district ye Sembabule baloopede amyuka sentebe wa NRM mu Buganda Kiwanda Suubi mu kawefube gwaliko okulambula abalimi […]
Okwetwala mu malwaliro amanene kyongedde ku mujjuzo e Kawempe
Bya Prossy Kisakye, Okwetwala mu malwaliro amanene awatali kulungamizibwa okuva eri abavunanyizibwa kinokodwayo okuba ekimu kukiviriddeko eddwaliro lya gavt erya Kawempe National Referral Hospital okuba nomujjuzo ogusukiridde. Eddwaliro lino likyasumbuyibwa ne kizibu kyomuwendo omunene ogwa bannakazadde abeyuna okuzaalirayo nokunywerayo eddagala okuva mu malwaliro amatono aga […]
Museveni avumiridde abavuganya okwekandaga ne bafuluma palamenti
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga YK Museveni avumiridde ekya babaka abali ku ludda oluvuganya okwekandaga ne bafuluma palamenti ku byokukwatibwa kwa banabwe. Ku lwokusatu lwa ssabiiti eno ababaka aboludda oluvuganya nga bakulembedwamu omukulembeze wabwe Mathius Mpuuga, batambula ne bava mu sseteserezo nga bawakanya engeri babaka […]
Bannanyini woteeli e Mukono begasse ku kawefube wokulwanyisa Covid
Bya Ivan Ssenabulya, Bannanyini mawoteeri mu disitulikiti ye Mukono bakwataganye ne gavumenti mu ntekateeka ezokugema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Basazeewo okuggulawo woteeri zaabwe nebifo ebisanyukirwamu, bikozesebwe okugemeramu abantu. Joseph Mugisha owa Pearl Resort Hotel-Mbalala Mukono agambye nti woteeri zirina enkizo okuyambako gavumenti obutasasaanya nnyo okupangisa […]
Gavt esuubira kufuna kilalu mu Dubai Expo
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti okuyita mu minisitule evunanyizibwa ku byobusuubuzi na makolero nkakafu nti egenda kufuna bamusiga nsimbi ntoko okuva mu mawanga ga bawarabu nokwetoloola ensi eyonna okuyita mu mwoleso gwa Dubai Omwoleso guno gutandise leero nga gwakutwala ebbanag alya myezi 6 mu kibuga kye […]
Akakiiko katandika okwetegereza ebbago lya NSSF ssabiiti ejja
Bya prossy kisakye Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa kunsonga zé kikula kya bantu na bakozi, kakutandika ssabiiti ejja omulimu ogwokudamu okwekenenya ebbago lye tteeka erikwata ku nsimbi za bakozi erya NSSF Bill. Omukulembeze weggwanga Museveni yakomyawo ebbago lye tteeka lino mu palamenti nga ayagala ennongosereza zikolebwe […]
Abasirikale 4 bapooca oluvanyuma lwakabenje akagudde kulw’eMasaka
Bya Malikh Fahad Abasirikale ba poliisi 4 babadusizza kipayoppayo okubatwala mu ddwaliro ekkulu e Masaka bwebafunye akabenje amakya ga leero. Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti akabenje kano kaagudde ku kyalo Kidda ku luguudo lw’eMasaka. Omugoba wa mmotoka ya poliisi […]
MUBs etikidde abayizi abasoba mu 1,400
Bya Juliet Nalwooga Ssenkulu wettendekero lye Makerere Prof Ezra Suruma asabye abayivu bulijjo okulaganga entekateeka enagobererwa eri abakulembeze okutereza ebyenfuna. Prof Suruma, nga yaliko minisita webyensimbi, abadde ku mattikira gettendekero lya Makerere University Bussiness School (MUBS), agomulundi ogwe 15. Wabula atenderezza abakulu ku ttendeero, akaze […]
Nadduli ayambalidde Mubajje olw’okwagala okukyusa Ssemateeka
Bya Musasi Waffe Ssentebbe ow’olukiiko olwa waggulu oluddukanya obusiraamu, olwa Uganda Muslim Supreme Council, Hajj Abdul Nadduli ayambalidde Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje amulumiriza okwekobaana n’olukiiko olwa General Assembly okutigatiga ssemateeka. Hajj Nadduli agambye nti wewaawo wabaddewo obwetaavu okukyusa mu Ssemateeka, babadde batekeddwa ensonga okusooka […]
NEMA erangiridde ebikwekweto ku basima omusenyu
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekivunayizibwa ku kukuuma obutonde bwensi mu gwanga, National Environment Management Authority (NEMA) balangiridde nti batandise ebikwekweto ku banatu abayikuula entobazi nga basima omudenyu, mu masekati ga Uganda. Bagambye nti ebikwekweto bino bigenda kubeera mu disitulikiti okuli Mpigi, Gomba, Butambala ne Kasanje […]