Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Palamenti eragidde gavumenti enyonyole ku ddwaliro ly’eLubowa

Bya Ritah Kemigisa Gavumenti bajitadde ku nninga okuwa alipoota ku polojekiti yokuzimba eddwaliro eryoulembe erye Lubowa. Gavumenti era etekeddwa okunyonyola obusobozi bw akampuni ya Power China International Group abaweebwa mulimu guno. Amyuka sipiika wa palamenti Anita Among yayisizza ekiragiro, oluvanyuma lwomubaka wa Bukooli Central Solomon Silwany okwemulugunya kungeri polojekiti eno gyekwatiddwamu akasoobo. Okusinziira ku mubaka Silwany, kampuni gyebalagira okukola…

Read More

Gavt yeyamye okuyisa enkola erungamya ku byémmere ne Ndya ennungi

Bya Benjamin Jumbe,  Minisita owa guno na guli mu yaffeesi ya ssabaminisita Justine Kasule Lumumba yeyamye okulaba nti enkola erungamya ku byemmere ne ndya ennungi eya national food and nutrition policy eyisibwa. enkola eno elwisiddwa obukubagano obuliwo wakati wa ministry eye byenjigiriza ne ye byobulamu kwani alina okugiddukanya. Bwabadde atongoza pulojekiti etumiddwa eddembe lyokukula ‘’Right to Grow’’mu Kampala,…

Read More

Kkooti ekakasiza Uhuru kubwa Meeya

Bya Ruth Anderah,  Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa kwa Salim Saad Uhuru nga meeya omulonde owegombolola ya masekati ga Kampala. Kino kidiridde kkooti okugoba okusaba kwa munne bwebavuganya ku kifo kino Hamdan Semugooma Kigozi bwetegezeza nti obujjulizi bwalina mu musango guno tebumatiza. Omulamuzi Isaac Muwaata bwatyo alagidde Semugooma okusasula Uhuru nákakiikoke byokulonda ensimbi zonna zebasasanyiriza mu musango guno. Uhuru…

Read More

Aba Boda Boda e Masaka bagenda kuwandisibwa

Bya Gertrude Mutyaba Abakulembeze b'abagoba ba Boda Boda mu kibuga Masaka bayisizza ebiragiro ebikakali ebirina okugobererwa banaabwe bwebali mu mulimu guno. Ebiragiro bino nga bigendereddwamu okumalawo ettemu n'obubbi bwa piki ebikudde ejjembe mu kitundu kino. Ebimu ku biragiro ebiyisiddwa kuliko okwewandiisa, obutavuga pikipiki kutali nnamba, abatalina stage okwabulira ekibuga n'ebirala. Okusinziira ku bebyokwerinda, ngebijambiya byakaggwa, waabalukawo entemu empya mu…

Read More

Onebbe taleteddwa mu kooti

Bya Ruth Anderah Omutandisi wa kampuni yobwannayini enkuumi eya Pentagon Security Francis Onebe amakya ga leero taleteddwa mu kooti, nga bwabadde assuburwa. Okusinziira ku kalaani wa kooti ye Makindye Sarah Ann Basemera agambye nti omulamuzi tabaddeewo era nomusango guno tegwatereddwa mu gibadde girina okuwulirwa mu kooti eno olwaleero. Onebe, owemyaka 63 avunanibwa okutta mukyala we Immaculate Onebe ngoludda oluwaabi…

Read More

Abakulembeze be Katuna bagala enteseganya ziddemu okuggulawo ensalo

Bya Musasi Waffe Ab’obuyinza ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Katuna basabye omukulembeze Yoweri K. Museveni okuttukizza okuggulawo ensalo. Gavumenti ya Rwanda yaggalwo enslo yaayo ne Uganda mu March wa 2019 nga baategeeza nga bwebalina entekateeka okudabiriza ensalo yaabwe. Wabula gavumenti ya Uganda nabao balumiriza Rwanda, okusindika kuno abakessi nekigendererwa okutabangula ebyokwerinda byabwe. Mu bbanga lino wabaddewo okugotaana…

Read More

Amasanyalaze gavuddeko ku kisaawe

Bya Eva Muganga Uganda Civil Aviation Authority banyonyodde ku kibululu ekyabadde ku kisaawe Entebbe, akawungeezi keggulo. Okusinziira ku akulira emirimu gyekitongole nabebweru Vianney Luggya amasanyalaze ddala gaavuddeko. Kino agambye nti kyavudde ku waaya eziyita wansi zebakyadabiriza, nga zezitwala amasanyalaze okutuuka ku amtaala agali ku kisaawe. Ekizikiza ekyabadde ku kisaawe, kitegezeddwa nti kyenkana kyabadde kiviriddeko akabenje, ennyonyi ya Uganda Airlines…

Read More

Museveni awabuddwa kubyakakalu ka kooti

Bya Ritah Kemigisa Abatubulizi bensonga ne bannamateeka basabye omukulembeze wegwanga okwongera okuteeka ssente mu byokunonyereza. Bagamba nti okunonyereza kwetaaga okwongeramu amaanyi, mu kifo kyokujjawo bail oba akakalulu ka kooti eri abateberzebwa mu misango eminene. Bweyabadde ku Hot Seat wano ku Kfm, akawungeezi keggulo, Godber Tumushabe nga munnamateeka era akulira ekitongole kya Great Lakes Institute for Strategic Studies agambye…

Read More

Entekateeka z’okudabiriza ekisaawe kyennyonyi ekye Gulu zikyagenda mu maaso

Bya Benjamin Jumbe Gavumenti ekakasizza nti entekateeka zikyagenda mu maaso, okudabiriza ekisaawe kyennyonyi ekye Gulu okukizza ku mutindo gwensi yonna. Kino kyadiridde okwemulugunya ku kasoobo engeri enytekateka zino, bwezikwatiddwa, atenga kwo okudabiriza ekisaawe kye Kabale kwo kuegnda bukwakku. Bweyabadde ayanukula ku kwemulugunya okwaleteddwa ababaka ku nsonga eno, minisita omubeezi owebyentambula Musa Ecweru yagambye nti ekisaawe kye Gulu kyatongozebwa…

Read More

Amasanyalaze gasse abaana 2

Bya Ivan Ssenabulya,  Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Mubono mu gombolola ye Mukhuyu mu disitulikiti ye Namisindwa amasanyalaze bwegakubye abantu 2 negabatta. Kuno kubaddeko Munika Catherine owemyaka 36 ngafudde nomwana we owemyaka 7 Soafia Naume. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika, kigambibwa amasanyalaze agabadde gabbibwa  gegabakubye. Taitika alabudde abantu beno bakomye okubba amasanyalaze.

Read More