Amawulire
Ssewanyana aguddwako emisango emirala, Ssegiriinya bazeemu okumukwata
Bya Ritah Kemigisa Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana aguddwako emisango emirala, egyobutemu omugatte awezezza emisango 7 ejimuvunanibwa. Kino kibikuddwa munnamateeka we Erias Lukwago. Lukwago yayise ku twitter nategeeza nga bweyasobodde okwogera n’omubaka Ssewanyana ku SIU e Kireka wagaliddwa oluvanyuma lwokuddamu okukwatibwa bweyali yakayimbulwa mu […]
Museveni ayise akabondo k’ekibiina kya NRM olwaleero
Bya Prosy Kisakye Omukulembeze wegwanga, nga ye ssentebbe wekibiina kya NRM ayise akabondo kababaka bekibiina, katuule olwaleero. Ensisinkano eno egenda kutuula ku kisaawe e Kololo, wabulanga ebigenda okutesebwako tebinamanyika. Omuwandiisi wakabondo kababaka ba NRM, omubaka Lilian Aber agambye nti omukulembeze wegwanga agenda kwogera gyebali ku […]
Omulambo gwómwana gubbiddwa muntaano
Bya Abubaker Kirunda, Abatuuze bé Namulanda ekisangibwa mu gombolola ye Ikumbya mu disitulikiti eye Luuka bakeeredde muntiisa bwebagudde kuntaana esimudwamu omulambo. Atwala ebyokwerinda ku kyalo kino Grace Musenero omulambo ogubbiddwa muntaana ategezeza nti gwa mwana Finah Namwase owemyaka 6. Ono agamba nti ensonga bazitegezezako poliisi […]
Poliisi erabudde abategeka okwekalakaasa kulwómubaka Ssewanyana
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi erabudde banakampala abateekateeka okwekalakaasa kubyokukwatibwa kwomubaka wa Makindye West mu palamenti, Allan Sewanyana. Kino kidiridde Ssewanyana okudamu okukwatibwa oluvanyuma lwa kuyimbulwa mu komera e Kigo sabiiti ewedde. Amaggye gavaayo negakkasa okukwatibwa Ssewanyana era nebatangaza nti tebawamba muwambe wabula alina emisango emirala […]
Abóbuyinza bakubiriza bannansi okwetanira okwegemesa ngéddagala terinagwako
Bya musasi waffe, Ekibuga kye Jinja kibuyaana olweddagala erigema ekirwadde kya Covid-19 okubakendeerako ngesigadde ennaku mbale eddagala eriweza doozi 67,000 ligweko. Kino kivudde ku bakulembeze okulemera ku batuuze bagenda bagemebwe. Era amyuka omubaka wa gavt e Jinja Peter Banya ayongedde okwegayirira abatuuze okugenda okubagema asobole […]
Abaddenga akuba obuyinja ku nnyumba yabwewomuwala avunaniddwa
Bya Ruth Anderah Omusazi w’enviiri agambibwa nti abaddeng akanyuga a kayinja ku dirisa ly’omwana omuwala atanetuuka mu budde bwekiro, avunaniddwa nebamusindika ku alimanda mu kkomera e Kitalya. Omuvunaanwa ye Ssenabulya Godfrey ngasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo amusomedde naye […]
Omusirikale bamusse bwabadde ataasa abasamize
Bya Abubaker Kirunda Omusirikale wa poliisi mu disitulikiti ye Kamuli, atiddwa ebbiina lyabatuuze bwabadde agezaako okutaasa abasawo bekinnansi bebabadde bagenda okumiza omusu. Omugenzi ye Francis Kasolo, ngabadde mbega wa poliisi okuva mu kitongole ekinonyereza. Ettemu lino libadde ku kyalo Kadungu mu gombolola ye Namasagali e […]
Abakola enguudo bafunyisa abawala 1000 embuto
Bya Juliet Nalwooga Minisitule yensonga z’omunda mu gwanga, balabudde abakulira kamunizi ezikola enguudo bakome ku bakozi baabwe, abasusse okwegadanga nabaana n’okubatikka embuto. Okulabula kuno kugenda eri abakola enguudo mu disitulikiti ye Pallisa, Soroti ne Busia oluvanyuma lwabakola enguudo okutikka abaana abawerako embuto. Agnes Igoye amyuka […]
Nakadama alabudde abakulembeze
Bya Ivan Ssenabulya Omumyuka wa Ssabaminisita wegwanga, owokusatu Hajjat Lukia Nakaddama ajjukizza bannaYuganda okuddamu okwambala mask ngenkola esokera ddala okwetangira ssenyiga omukambwe. Ono okuwa obubaka buno yasinizdide ku Dduwa ya maama wa munna NRM e Mukono Hajji Haluna Ssemakula ku kyalo Mpatta. Nakaddama asabye abakulira […]
Bannamateeka b’omubaka Ssewanyana bagenda mu Kooti
Bya Ritah Kemigisa Bannamateeka bomubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana bategezezzza nga bwetandise entekateeka okutwala okusaba kwabwe mu kooti eyise ekiragiro ekikaka gavumenti okuleeta omuntu waabwe mu koti nga mulamu obanga mufu. Wiiki ewedde, omubaka Ssewanyanawaliwo abamuvumbagira nebamubuzaawo, mu mmotoka bweyali afuluma ekkomera lye Kigo […]