Amawulire
Mayiga asabye gavt okwongera ensimbi mu byemizannyo
Bya Prossy Kisakye, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government okulwana obwezizingirire okwongera ensimbi mu byemizannyo kuba ddene ery’obusizi obw’ensimbi lye busiza amaaso. Katikkiro bino abyogedde asisinkanyemu ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Basketball ekiise embuga olwaleero okuwoza olutabaalo olw’obuwanguzi bwebatukako mu mpaka za Africa bweyatuuka […]
Ettaka 20% lyeririko ebyapa mu Uganda
Bya Ndhaye Moses Zzi banka banokoddeyo okusomozebwa kwobutabeera na biwnadiiko bimala nettaka okutali byapa nti kyekisinze okugotaanya obusubuzi bwamayumba gyebali. Akulira Housing finance bank nga ye Micheal Mugabi agambye nti ettaka 20% lyokka lyeririko ebyapa mu Uganda erisgadde teririiko biwandiiko bitongole. Ono asabye gavumenti okuwagira […]
Akakiiko akebyenjigiriza ebyawaggulu batandise okulambula abasomesa obusawo
Bya Ivan Ssenabulya Akakiiko akebyenjigiriza ebya waggulu, National Council for Higher Education batandise okutalaaga egwanga nga balambula amasomero namatendekero gabasawo. Omukulembeze wegwanga bweyatagulula ku muggalo ogwokubiri ogwekirwadde kya ssenyiga omukambwe yalagira amatendekero gano negagulawo nga 13 August, wabula ku biragiro ebyabaweebwa akakiiko ne minisitule yebyenjigiriza. […]
Eby’okugula leediyo gavumenti yabijeemu enta
Bya Prosy Kisakye Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo batadde ku bbali entekateeka yokugula radio, obukadde 9 kyebaali batandikako okusomeseza abaana awaka. Kino kibikuddwa minisita owebyenjigiriza ebya waggulu John C Muyingo, bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akalondoola ebosubizo bya gavumenti akadde kakubirizibwa omubaka wa Kalungu West, Joseph […]
UPDF bakakasizza okukwatibwa kw’omubaka Ssewanyana
Bya Ritah Kemigisa Amagye gegwanga aga UPDF basambazze amawulire agabadde gayitingana, nti omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana yawambiddwa. Ssewanya yazeemu nakawatibwa akawungeeze keggulo, wabweru wekkomera lye Kigo bweyabadde yakayimbulwa. Ssewanyana ne munne omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya bagulwako emisango gyobutemu nobutujju, nga kigambibwa […]
Abayizi bakalatiddwa okuteeka munkola bye basoma
Bya Damali Mukhaye, Kyansala wa Kyambogo University Prof John Ssebuwufu, asabye abayizi abamaliriza emisomo gyabwe okufuula obuyigirize bwabwe obwomugaso eri eggwanga na bantu mu bitundu gye babeera. Bwabadde ku lunaku olusembayo olw’amatikira ga bayizi ku ttendekero e Kyambogo, Ssebuwufu akuutidde abayizi obutakozesa masimu gabwe kugenda […]
NSSF eyongedde kunyingiza yaayo ne bitundu 25%
Bya Moses Ndaye, Ekitongole ekitereka ekitavu kya bakozi ekya National Social Security Fund kitegezeza nga enyingiza yabwe mu mwaka gwe byensimbi 2020/21 bweyeyongera ne bitundu 25%,okuva ku kasse kamu nobuwumbi 400newankubadde eggwanga liyita mu kusomozebwa kwe kirwadde kya COVID-19. Bwabadde ayanja enkola yekitongole kino eyomwaka […]
Abakade bakoze ekibiina mu Buganda
Bya Ivan Ssenabulya Abakadde mu kitundu kya Buganda begase mu nkola ya “Aggali awamu, mu ntekateeka mwebagenda okuyita okuyambagana. Bano bagamba basanga okusomozebwa okwamaanyi, wabulanga tewali akwata munne ku mukono. Kati bawandisiza ekibiina kyebatumye “SEMRICK FOUNDATION” nga kigenda kutuula mu disitulikiti zonna ezikola ekitundu kya […]
Eddagala erigema covid-19 emitwalo 6 mu 7000 ligenda kugwako nga terikozeseddwa
Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni alabudde akugoba ba ababaka be abakiika mu disitulikiti ezenjawulo ba RDC, abakulira emirimu ba CAO neba DHO abatwala ebyobulamu, mu bitundu eddagala gyerinagwako nga terikozeseddwa. Okulabula kuno Museveni yakukoledde mu kwogera kwe eri egwanga […]
Omusajja asse omwana w’omukyala
Bya Barbra Nalweyiso Ekikangabwa kigudde ku kyaalo Kigagga mu Munisipaali ye Mubende, omuvubuka Denis Kashiza bwakakkanye ku mwana wa mukyala we namutta. Ono okutta omwana ono mujja na nnyina, akikoze mukyala we agenze ku dduuka okubaako byagula, ngobutemu buno abukoledde munda mu muzigo mwebabadde basula. Okusinziira […]