Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti eriko abayizi 47 bejje mu ntekateeka yokuwererwa ku bbanja eya loan schem, bwebazudde nti abayizi bano baalimba nti bazadde baabwe baafa.
Bano bebamu ku bayizi 1,113 ababadde mu ntekateeka eyomwaka gwebyensoma 2020/21.
Bano baalimba mu buwandiike nti ba mulekwa songa kyazuuse nti bazadde babwe gyebali balamu.
Abalala balaga nga bwebaliko obulemu nabamu nebajingirira empapula zobuyigirize.
Entekateeka…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, akalambidde nti amabaala nebifo ebisanyukirwamu byakusigala nga biggale.
Ebifo bino bibadde ku muggalo ogusalako, kati emyaka kyenkana 2 okuva mu March womwaka aoguwedde 2020.
Mu kwogera kwe eri egwanga ku mbeera yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, Museveni agambye nti amabaala, ebikeesa nebivvulu ebirala bikungaanya abantu bangi atenga kibeera kizbu okugoberera amateeka…
Bya Juliet Nalwooga
Gavumenti evuddeyo okutangaaza ku byogerwa nti gavumenti eyagala kutwala ssente zabantu, ezitudde ku akawunta okumala ebbanga neku Mobile Money ku masimu.
Gavumenti egamba nti tebalina kigendererwa kyonna kutwala ssente zabantu mu mbeera eno.
Minisita webyensimbi Matia Kasaija ayogedde ne bannamwulire ku nsonga yazi akwunta eziriko ssente nayenga zitutte ebbanga nga tezikozesebwa, nagamba nti Banka enkulu…
Bya Shabibah Nakirijja
Abagoba ba boda boda 11% bokka bebalina pamiti ku nguudo mu Kampala.
Bino byajidde mu alipoota eyarubiridde okulongoosa mbeera aba boda mwebakolera, nokubaterawo obutebenkevu ku nguuso.
Okunonyereza kwakoleddwa abettendekero lye Makerere n poliisi ya Uganda wamu ne minisitule yebyentambula, nga kwakolebwa wakati wa February ne June omwaka guno.
Kati okuvuga nga ssi bakugu abakaksiddwa kibateeka mu…
Bya Lukeman Mutesasira
Omutendesi wa Police FC Abdallah Mubiru okuwangulwa omupiira gweggulo, akitadde ku bamu ku basambi abenkizo abajiddwa mu club eno mu nnaku eziyise.
Ebiralala agambye nti batendekeddwa ennaku 4 zokka, nga zabadde ntono okwetegekera omupiira guno.
Ayozayozezza Vipers ababawangudde goolo 2-0, mu Semifinalolo za Stanbic Uganda Cup ku FUFA technical centre e Njeru, ngagambye nti amaanyi…
Bya Juliet Nalwooga
Laddu ekubye abasajja 2 nebatta, nerumya nabantu abalala 4 abenyumba emu.
Bino bibadde mu disitulikiti ye Kanungu, ngabagenzi kuliko Edidiya Turyayebwa owemyaka 42 ne Diyana Kajowa owa 31.
Bano bombi batuuze mu muluka gwe Kyamukende mu gombolola ye Kinaaba e Kanungu.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi, Elly Maate agambye nti abalumiziddwa kuliko Flora Nyinakiiza…
Bya Prosy Kisakye
Akakiiko ka palamenti akalondoola ebisubizo bya gavumenti kalagidde minisitule yensonga z’omunda mu gwanga okubalaga olukalala lwabannaYuganda bonna abalina passporta ezekikungu oba diplomatic passports.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti baazudde nga wabaddewo okudibaga ekitiibwa kyazi passporta zino, nga bagamba nti zituuse nokuweebwa ba kansala.
Ssentebbe wakakiiko kano omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze,…
Bya Ruth Anderah,
Omubalirizi wébitabo Francis Onebe aguddwako omusango gwokutemula eyali mukyalawe
Immaculate Onebe era asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya.
Onebe avunanibwa wamu ne Bonny Oriekot;omukuumi okuva mu kampuni Pentagon Security Company, ekulirwa Onebe.
Bano tebakkiriziddwa kubaawo kyebogera mu kkooti e Makindye oluvanyuma lwomulamuzi aguli mitambo Sarah Ann Basemera okutegeeza nti omusango gwe bazza gwa nnagomola guwulirwa…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kirangiridde ebikujjuko ebyenjawulo mu kujjukira eyali senkagale wékibiina omugenzi Bendicto Kiwanuka.
Olunaku lwenkya lwegiwera emyaka 49 bukya Ben Kiwanuka attemulwa
Nga yanafa Kiwanuka yaliko Senkagale wekibiina kya DP owomulundi ogwokusatu, yaliko ssabaminisita ne ssabalamuzi.
Ono ajjukirwa nyo mu kwagala abaana beggwanga okusoma nga yagaba sikaala 300 eri abayizi abatesobola, nakola nyo…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa Hannington Musoke Wakayima Nsereko ngomubaka omulonde owa Nansana Municipality.
Kino kidiridde omulamuzi Henrietta Wolayo okuzuula nti Wakayima yasoma era nga alina ebiwandiiko byobuyigirize okuli ebya s.4 ne s.5
Obuwanguzi bwa Wakayima bwawakanyizibwa munne bwebavuganya ku kifo kino Hamis Musoke Walusimbi nga agamba nti talina mpapula za buyigirize ezimusobozesa okubeera…