Amawulire
Nabakooba ayagala obukiiko bwettaka bujibwewo
Bya Prosy Kisakye Minisita w’eby’ettaka, amayumba n’okukulakulanya ebibuga Judith Nabakooba ategezezza nga bwagenda okuwandiikira omukulembeze w’eggwanga akkirize bagyewo obukiiko bw’ettaka kuzi disitulikiti. Agamba nti kizuuliddwa obukiiko buno bwebusinze okuvaako emivuyo gy’ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo Nabakooba agambye nti obuzibu okusinga bulabikidde mu kibuga Kampala, ngababutulaako kyebagala […]
Abaalimba nti bamulekwa bajiddwa ku ntekateeka y’okuwererwa gavumenti
Bya Damalie Mukhaye Gavumenti eriko abayizi 47 bejje mu ntekateeka yokuwererwa ku bbanja eya loan schem, bwebazudde nti abayizi bano baalimba nti bazadde baabwe baafa. Bano bebamu ku bayizi 1,113 ababadde mu ntekateeka eyomwaka gwebyensoma 2020/21. Bano baalimba mu buwandiike nti ba mulekwa songa kyazuuse […]
Amasinzizo gaguddwawo, amabaala gasigadde maggale ne kafyu nasigalawo
Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, akalambidde nti amabaala nebifo ebisanyukirwamu byakusigala nga biggale. Ebifo bino bibadde ku muggalo ogusalako, kati emyaka kyenkana 2 okuva mu March womwaka aoguwedde 2020. Mu kwogera kwe eri egwanga ku mbeera yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, Museveni agambye […]
Gavumenti entaangazza kubya ssente zirudde ku akawunta
Bya Juliet Nalwooga Gavumenti evuddeyo okutangaaza ku byogerwa nti gavumenti eyagala kutwala ssente zabantu, ezitudde ku akawunta okumala ebbanga neku Mobile Money ku masimu. Gavumenti egamba nti tebalina kigendererwa kyonna kutwala ssente zabantu mu mbeera eno. Minisita webyensimbi Matia Kasaija ayogedde ne bannamwulire ku nsonga […]
Aba Boda boda 11% bebalina pamiti mu Kampala
Bya Shabibah Nakirijja Abagoba ba boda boda 11% bokka bebalina pamiti ku nguudo mu Kampala. Bino byajidde mu alipoota eyarubiridde okulongoosa mbeera aba boda mwebakolera, nokubaterawo obutebenkevu ku nguuso. Okunonyereza kwakoleddwa abettendekero lye Makerere n poliisi ya Uganda wamu ne minisitule yebyentambula, nga kwakolebwa wakati […]
Abasambi abavudde mu Police FC kyatukosezza
Bya Lukeman Mutesasira Omutendesi wa Police FC Abdallah Mubiru okuwangulwa omupiira gweggulo, akitadde ku bamu ku basambi abenkizo abajiddwa mu club eno mu nnaku eziyise. Ebiralala agambye nti batendekeddwa ennaku 4 zokka, nga zabadde ntono okwetegekera omupiira guno. Ayozayozezza Vipers ababawangudde goolo 2-0, mu Semifinalolo […]
Laddu esse abantu 2 nerumya abalala 4
Bya Juliet Nalwooga Laddu ekubye abasajja 2 nebatta, nerumya nabantu abalala 4 abenyumba emu. Bino bibadde mu disitulikiti ye Kanungu, ngabagenzi kuliko Edidiya Turyayebwa owemyaka 42 ne Diyana Kajowa owa 31. Bano bombi batuuze mu muluka gwe Kyamukende mu gombolola ye Kinaaba e Kanungu. Omwogezi […]
Akakiiko ka Nambooze kakunyizza abakungu kubya paaasipoota ez’ekikungu
Bya Prosy Kisakye Akakiiko ka palamenti akalondoola ebisubizo bya gavumenti kalagidde minisitule yensonga z’omunda mu gwanga okubalaga olukalala lwabannaYuganda bonna abalina passporta ezekikungu oba diplomatic passports. Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti baazudde nga wabaddewo okudibaga ekitiibwa kyazi passporta zino, nga bagamba nti zituuse […]
Onebe agudwako omusango gwókutta mukyalawe
Bya Ruth Anderah, Omubalirizi wébitabo Francis Onebe aguddwako omusango gwokutemula eyali mukyalawe Immaculate Onebe era asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya. Onebe avunanibwa wamu ne Bonny Oriekot;omukuumi okuva mu kampuni Pentagon Security Company, ekulirwa Onebe. Bano tebakkiriziddwa kubaawo kyebogera mu kkooti e Makindye oluvanyuma […]
Aba DP bategese ebikujjuko ebyókujjukira Ben Kiwanuka
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kirangiridde ebikujjuko ebyenjawulo mu kujjukira eyali senkagale wékibiina omugenzi Bendicto Kiwanuka. Olunaku lwenkya lwegiwera emyaka 49 bukya Ben Kiwanuka attemulwa Nga yanafa Kiwanuka yaliko Senkagale wekibiina kya DP owomulundi ogwokusatu, yaliko ssabaminisita ne ssabalamuzi. Ono ajjukirwa nyo […]