Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Museveni ayise akabondo k’ekibiina kya NRM olwaleero

Bya Prosy Kisakye Omukulembeze wegwanga, nga ye ssentebbe wekibiina kya NRM ayise akabondo kababaka bekibiina, katuule olwaleero. Ensisinkano eno egenda kutuula ku kisaawe e Kololo, wabulanga ebigenda okutesebwako tebinamanyika. Omuwandiisi wakabondo kababaka ba NRM, omubaka Lilian Aber agambye nti omukulembeze wegwanga agenda kwogera gyebali ku nsonga zezenjawulo. Wabula bwabuziddwa obanga, ekyokujjawo akakalu k akooti ku banatu abavunanibwa emisango eminene…

Read More

Omulambo gwómwana gubbiddwa muntaano

Bya Abubaker Kirunda, Abatuuze bé Namulanda ekisangibwa mu gombolola ye Ikumbya mu disitulikiti eye Luuka bakeeredde muntiisa bwebagudde kuntaana esimudwamu omulambo. Atwala ebyokwerinda ku kyalo kino Grace Musenero omulambo ogubbiddwa muntaana ategezeza nti gwa mwana Finah Namwase owemyaka 6. Ono agamba nti ensonga bazitegezezako poliisi naye nga basuubira nti abasawo abekinnansi bebenyigidde mu kuzikula abafu mu ntaana. Mungeri yemu…

Read More

Poliisi erabudde abategeka okwekalakaasa kulwómubaka Ssewanyana

Bya Juliet Nalwooga, Poliisi erabudde banakampala abateekateeka okwekalakaasa kubyokukwatibwa kwomubaka wa Makindye West mu palamenti, Allan Sewanyana. Kino kidiridde Ssewanyana okudamu okukwatibwa oluvanyuma lwa kuyimbulwa mu komera e Kigo sabiiti ewedde. Amaggye gavaayo negakkasa okukwatibwa Ssewanyana era nebatangaza nti tebawamba muwambe wabula alina emisango emirala obutujju nokukuma omuliro mu bantu egyamukwasisa. Mu wkogerako ne bannamawulire mu Kampala omwogezi wa…

Read More

Abóbuyinza bakubiriza bannansi okwetanira okwegemesa ngéddagala terinagwako

Bya musasi waffe, Ekibuga kye Jinja kibuyaana olweddagala erigema ekirwadde kya Covid-19 okubakendeerako ngesigadde ennaku mbale eddagala eriweza doozi 67,000 ligweko. Kino kivudde ku bakulembeze okulemera ku batuuze bagenda bagemebwe. Era amyuka omubaka wa gavt e Jinja Peter Banya ayongedde okwegayirira abatuuze okugenda okubagema asobole okusigaza akalimuke ono okulajana bwati kidiridde omukulembeze weggwanga Museveni, okulabula nga bwagenda okugoba ba…

Read More

Abaddenga akuba obuyinja ku nnyumba yabwewomuwala avunaniddwa

Bya Ruth Anderah Omusazi w'enviiri agambibwa nti abaddeng akanyuga a kayinja ku dirisa ly'omwana omuwala atanetuuka mu budde bwekiro, avunaniddwa nebamusindika ku alimanda mu kkomera e Kitalya. Omuvunaanwa ye Ssenabulya Godfrey ngasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo amusomedde naye nagwegaana. Maama w'omwana ono, alumiriza nti omusajja ono abaddenga akwenyakwenya muwala we, namufulumya…

Read More

Omusirikale bamusse bwabadde ataasa abasamize

Bya Abubaker Kirunda Omusirikale wa poliisi mu disitulikiti ye Kamuli, atiddwa ebbiina lyabatuuze bwabadde agezaako okutaasa abasawo bekinnansi bebabadde bagenda okumiza omusu. Omugenzi ye Francis Kasolo, ngabadde mbega wa poliisi okuva mu kitongole ekinonyereza. Ettemu lino libadde ku kyalo Kadungu mu gombolola ye Namasagali e Kamuli. Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael Kasadha agambye nti abatuuze baavudde mu…

Read More

Abakola enguudo bafunyisa abawala 1000 embuto

Bya Juliet Nalwooga Minisitule yensonga z’omunda mu gwanga, balabudde abakulira kamunizi ezikola enguudo bakome ku bakozi baabwe, abasusse okwegadanga nabaana n’okubatikka embuto. Okulabula kuno kugenda eri abakola enguudo mu disitulikiti ye Pallisa, Soroti ne Busia oluvanyuma lwabakola enguudo okutikka abaana abawerako embuto. Agnes Igoye amyuka akulira National Prevention of Trafficking of Persons ekitongole ekirwanyisa okukukusa abantu wansi wa…

Read More

Nakadama alabudde abakulembeze

Bya Ivan Ssenabulya Omumyuka wa Ssabaminisita wegwanga, owokusatu Hajjat Lukia Nakaddama ajjukizza bannaYuganda okuddamu okwambala mask ngenkola esokera ddala okwetangira ssenyiga omukambwe. Ono okuwa obubaka buno yasinizdide ku Dduwa ya maama wa munna NRM e Mukono Hajji Haluna Ssemakula ku kyalo Mpatta. Nakaddama asabye abakulira amsinzizo abakulembeze abalala, okuddamu okubunyisa engiri mu bantu eyokwetangira obulwadde. Eddwa eno era yetabidwako…

Read More

Bannamateeka b’omubaka Ssewanyana bagenda mu Kooti

Bya Ritah Kemigisa Bannamateeka bomubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana bategezezzza nga bwetandise entekateeka okutwala okusaba kwabwe mu kooti eyise ekiragiro ekikaka gavumenti okuleeta omuntu waabwe mu koti nga mulamu obanga mufu. Wiiki ewedde, omubaka Ssewanyanawaliwo abamuvumbagira nebamubuzaawo, mu mmotoka bweyali afuluma ekkomera lye Kigo kooti bweyali emuwadde okweyimirirwa. Wabula amgye gavaayo oluvanyuma nebakakasa okukwatibwa kwa Ssewanyana. Omwogezi wamagye…

Read More

Amakanisa gaaguddewo, abantu nebabakutira bongere okwekuuma COVID-19

Bya Ivan Ssenabulya ne Gertrude Mutyaba Omusumba wessaza lye Masaka Serverus Jjumba akunze abakulisitu okwongera okwambala mask zaabwe. Buno bwebwabadde obubaka bwe ku Ssaza Parish e Masaka, bweyabadde akulembeddemu okusaba olunnaku lweggulo. Kati mu kusaba okwasoose, nga bakaggulawo amasinzizo, baajaguzza omujulizi Bruno Sserunkuuma nga kino kikolebwa buli Sunday esembayo mu mezi gwomwenda. Bishop Jumba alabudde ku kabi akali mu…

Read More