Bya Prossy Kisakye,
Abavuzi ba taxi abaali bakakalabiza emirimu gyabwe mu paaka ya taxi enkadde, beemulugunyiza kukya abadukanya ekibuga kampla aba KCCA okulwawo okubadiza paaka.
Bano nga bakulembedwamu William Katumba, bategezeza bannamawulire mu kampala nti olwa abobuyinza okulwawo okugula paaka eno kiviriddeko nabamu ku banabwe okuziteeka emabbali wa paaka eno ate ekitakirizibwa.
Ono asabye KCCA kyonna kyekola ekikole…
Bya Damalie Mukhaye
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni asabye abaddukanya ettendekero lye Kyambogo, okwongera okutendeka absomesa ba sayansi, okutukiriza ekigendererwa ekyatandisaawo univasite eno emyaka 17 emabega.
Pulezidenti Museveni buno bwebubaka bwawadde, okuyita ku mutimbagano ngasinzidde butereevu mu maka gobwa pulezidnti neyetaba ku mattikira ge Kyambogo agomulundi ogwe 17.
Agambye nti okuva mu mwaka gwa 1969, ettendekero lino lyasomesanga…
Bya Ritah Kemigisa
Minisita owabantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe, Grace Asamo asabye gavumenti eteeke ku mwanjo olulimi olwobubonero eri abantu abatawulire, kubanga nsonga yaddembe lyabuntu.
Buno bwebubaka obugoberedde olunnaku, olwaleero nga Uganda yegasse kunsi yonna okuggulawo wiiki eyabakiggala oba Deaf awareness week.
Okusinziira ku Asamo, ba kiggala bangi abatusiddwako ebikolwa ebyokubakabasanya nobutabanguko mu maka olwobulemu bwebalina.
Agambye nti…
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road ayisizza ebibaruwa ebiyita, omubaka wa Kawempe North Mohammed Ssegirinya okulabikako omusango gwe gwokukuma omuliro mu bantu gugende mu maaso.
Omulamuzi Marion Mangeni yayisizza ebibaluwa ebimuyita, okweyanjula mu maaso ge nga 20 Okitobba 2021.
kino kidiridde nate Ssegiriinya obutalabikako mu kooti olwaleero, atenga abadde assubirwa era omulamuzi kwekumuyisaako ekibaluwa omulundi…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakulembeze bekibiina kya DP e Mukono bavuddemu omwasi bagamba nti omukunzi wekibiina Joseph Mayanja amanyiddwa nga Joze Chameleon asaanye okubonerezebwa olwokutagala mu bibiina byobufuzi.
Chameleon yali mu DP nebamuwa ekifo kino, akungire ekibiina obuwagizi, wbaua teyabandalaayo nagenda mu NUP navuganya neku kaada yekibiina naye nebamuwangula bweyali agenda mu kalulu kobwa Lord Mayor wa Kampala.
Kati…
Bya Benjamin Jumbe
Ekidyeri kya MV Ssese, ekibadde kisabaza abantu nebyabwe, okuva ku kiznga kye Bugala e Kalangala kiyimirizza emirimu gyakyo.kitegezeddwa nti kigenda kudabirizbwa e Mwanza mu gwanga lya Tanzania okumala wiiki 5.
Akulira emirimu ku Kalangala Infrastructure Services, kampuni eddukanya emirimu gyekidyeri kino nga ye John Opondo agambye nti kyabuwaze okudabiriza ekidyeri kino okwewala okukwama.Opondo wabula…
Bya Juliet Nalwooga
Ssabapoliisi wegwanga Martins Okoth Ochola akuzizza absirikale ba poliisi, abaddusi abetaba mu mpaka za 2020 Tokyo athletes.
Kuno kuliko Inspector of Police (IP), Joshua Cheptegei nomutendesi we IP Benjamin Njia abakuzizza okudda ku daala lya Assistant Superintendent of Police (ASP).
Abalala Chemutai Peruth amukuzizzza okudda ku ddaala lya Inspector of Police, Chelangat Mercyline okuva ku…
Bya Musasi Waffe
BannYuganda bagenda kugemebwa neddagala lya Pfizer, erigema ssenyiga omukambwe okutandika ne Bbalaza.
Olunnaku lweggulo Uganda yafunye eddagala erigema ssneyiga omukambwe doozi akakadde 1 nemitwalo 60 nokusoba, enkata eyabakubiddwako gavumenti ya America.
Okusinziira ku akulira entekateeka z’okugema mu minisitule yebyobulamu Dr Alfred Driwale, bagenda kutandika wiiki ejja.
Bebagenda okusosowaza kuliko abasomesa, abasawo, nabakuze mu myaka abaweza 50…
Bya Ivan Ssenabulya,
Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni asabye ekelezia ya basodookisi mu Uganda okutwala mu maaso omulimo gwabadde ssabasumba Jonah Lwanga gwalese emabega.
Bino biri mu bubakabwe obwetikiddwa amumyukawe Jesca Alupo, mu kuziika abadde ssabasumba we ekelezia ya basodookisi mu Uganda Metropolitan Lwanga ku kanisa ya St Nicholas Cathedral e Namungoona.
Museveni ayogedde ku mugenzi ngomusajja abadde omwetowaze…
Bya Benjamin Jumbe,
Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza Janet Museveni, aweze okukyusibwa kwa basomesa ba siniya aba gavt.
Bino byogeddwa omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba era ngekiragiro kino kitandikirawo.
Ono agambye nti kino kitukidwako oluvanyuma lwokufuna okwemulugunya kunkola eno
Mugimba agambye nti ekiragiro kino kyakugibwawo oluvanyuma lwa kakiiko ka education service commission okumaliriza omulimo gwokukakasa abasomesa bonna mu…