Amawulire

Metropolitan Lwanga agenda kuzikibwa olwaleero

Metropolitan Lwanga agenda kuzikibwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa Abadde Ssabasumba wenzikiriza ya Orthodox, Metropolitan Jonah Lwanga agenda kuzikibwa olunnaku lwaleero. Metropolitan Lwanga Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi nga 6 Sebutemba 2021 nga yafiira mu kibuga Athens, mu gwanga lya Buyonaani gyeyali ajanjabirwa. Oluvanyuma lwa wiiki 2, omulambo gwasobodde okukomezebwawo […]

Aba UWOPA bakukulumidde palamenti olwamateeka gebagala okusuula mu kasero

Aba UWOPA bakukulumidde palamenti olwamateeka gebagala okusuula mu kasero

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa Entekateeka y’okuzza amateeka agaali gayisibwa palamenti eyomulundi ogwe 10, abamu bagamba nti egenda kuwemmmenta obuwanana bwensimbi era kyabamzeemu amaanyi. Bino byogeddwa omuwandiisi wekibiina ekigatta ababaka ba palamenti abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association, UWOPA Lucy Akello oluvanyuma lwa sipiika Jacob Oulanya okulangirirra […]

DP eyongedde okusaba NUP begatte ku IPOD

DP eyongedde okusaba NUP begatte ku IPOD

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye Ab’ekibiina kya Democratic Party basabye banaabwe bwebavuganya gavumenti, aba National Unity Platform okuddamu okukifumintirizaamu, begatte ku mukago gwa Inter-Party Organisation for Dialogue bwebanaaba baakaulwana okuleeta enkyukakyua eyanamaddala mu byobufuzi. Aba NUP bategezezza nga bwebatajja kwegatta ku mukago gwa IPOD, nga baggambye nti […]

Red Cross erabudde nti amataba gakweyongera

Red Cross erabudde nti amataba gakweyongera

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekiddukirize ekyomusalaba omumyufu, Uganda Red cross bawabudde abantu abali mu bifo ebyobulabe nti babyamuke, banoonye awalala webayinza okubeera. Abantu anddala abamu mu nsozi nemu bifo ebitera okukosebwa amataba, balagiddwa okuvaayo bagende mube nganda okutuusa embeera lwenaterera. Bino webijidde ngabakugu balagudde enkuba […]

Bannabyanjigiriza bazeemu okubanja okuggulawo amasomero

Bannabyanjigiriza bazeemu okubanja okuggulawo amasomero

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye Abakugu mubyenjigiriza basabye gavumenti eddemu okulowooza ku kyokuggulawo amasomero, obutakyesigamya ku kugema. Wiiki eno olukiiko olwa waggulu olulwanyisa ssenyiga omukambwe, lwatudde nebasalawo nti amasomero gagulwewo mu mpalo. Mwulire agomunda agasomoddwa galaga nti basazeewo, University namatendsekero gebyemikono gagulewo mu Novemba womwaka guno ate […]

Olwaleero lunnaku lwabalumiddwa emisota

Olwaleero lunnaku lwabalumiddwa emisota

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe Abantu babulijjo bawabuddwa ku bujanjabi bwabalumiddwa emisota. Olwaleero ensi yegasse awamu okukuza olunnaku lwa International Snakebite Awareness Day olwabangibwawo okumanyisa antu ku kulumimwa emisota nobunjabi, nga lukwatibwa buli nga 19 Sebutemba. Bwabadde ayogerako naffe, Emmanuel Mukasa nga mukugu era akulira ekitongole kya […]

Abasubuzi b’emmotoka e Masaka balajanidde URA

Abasubuzi b’emmotoka e Masaka balajanidde URA

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Abasubuzi b’emmotoka mu Kibuga Masaka nga beegattira mu kibiina kyabwe ki Masaka United Motor dealer’s Association balajanidde omukulembeze w’eggwanga n’ekitongole ekiwooza ky’omusolo baveeyo babayambe batte emmotoka zabwe zebaakwatira e Dar-es-salaam. Ssentebe w’abasuubuzi bano Hajji Hamidu Bukenya ategeezezza nti emmotoka zino baamala okuzisasula […]

Omwana owemyaka 13 afiiridde mu kubumbulukuka kwéttaka

Omwana owemyaka 13 afiiridde mu kubumbulukuka kwéttaka

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Omwana owemyaka 13 afiiridde mu kubumbulukuka kwettaka e Kapchorwa ne banne abalala 2 nebabuuka ne bisago Bino bikakakasiddwa omwogezi wa Uganda red cross, Irene Nakasiita. Ono agambye nti enjege eno egudde ku kyalo Kapchebangang mu disitulikiti ye Kapchorwa oluvanyuma lwenyumba mwebabadde okugwa. […]

Omuyaga gukubye abé Mukono bagala buyambi

Omuyaga gukubye abé Mukono bagala buyambi

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Abatuuze ku kyalo Ggobero ku Nnyanja Nalubaale mu ggombolola ye Mpatta mu disitulikiti ye Mukono ennaku ebolekedde, oluvannyuma lw’okukubibwa embuyaga emanyiddwa ng’Ensoke. Abatuuze bagamba nti omuyaga guno gutera kugwa mu biseera eby’enkuba naye ku mulundi guno gwazze ku musana, era babadde tebagwetegekedde. […]

Gibadde miranga nabiwombe ngómulambo gwa Ssabasumba Lwanga gutuuka Entebbe

Gibadde miranga nabiwombe ngómulambo gwa Ssabasumba Lwanga gutuuka Entebbe

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye, Gibadde miranga na biwombe ngómulambo gwabadde Ssabasumba we kanisa ya basodookisi mu ggwanga metropolitan Yonna Lwanga gutuuka ku kisaawe entebe. Ssabasumba Lwanga yafa kuntandikwa yómwezi guno nga yafiira mu ggwanga lya Buyonaani gyeyali agenze okujanjabibwa ekirwadde kya kokolo. Okufa kwe kulese eddibu […]