Amawulire
Abakozi abagala okuweebwa ku ssente zaabwe baakulinda
Bya Arthure Wadero Abakozi abatereka nekitavvu kya NSSF, ababadde besunga okuweebwa ekitundu ku ssente zaabwe bandikifuuwa nga bakizza munda. Palamenti eyomulundi ogwe 10 bweyali efundikira emirimu, yayaisa ebbago erya NSSF eraykolebwamu ennogosereza, ngomukozi aterese okumala emyaka 10 ngaweza emyaka 45 asobola okuweebwa 20% ku ssente […]
Amaanyi gakyetagisa mu kulwanyisa Kokolo
Bya Benjamin Jumbe ne Moses Ndaye, Akulira Uganda Cancer Institute Dr Jackson Orem, alaze obwetavu obwokwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya kokolo. Mu kwogerako ne bannamawulire wakati mu kwetegekera olukungana olukwata ku kirwadde kya kokolo nóbujanjabi olwomulundi ogow’okusatu, Orem alaze obwenyamivu olw’omuwendo gwa bantu abafuna […]
Meeya wé Nakawa yekubidde enduulu muba Uganda Railway corporation
Bya Prossy Kisakye, Meeeya wégombolola lye Nakawa Paul Mugambe yekubidde enduulu eri ekitongole ekivunanyizibwa ku ggaali yómukka, ekya Uganda Railway corporation (URC) ku bantu bebatekateeka okugoba ku ttaka. Gye buvudeko abékitongole URC balabula abantu bonna abesenza kuttaka lyeggaali yomukka okulyamuka mu bbanga lya myezi 6, […]
Olukiiko lwa KCCA lutesezza ku kubbula enguudo
Bya Prosy Kisakye Ekitongole kya Kampala Capital City Authority baliko enguudo 3, zebagala zibbulwemu amannya okuli eryabadde akulira Obusodoxi mu Uganda Metropolitan Jonah Lwanga nomusubuzi Haji Bulaimu Muwanga Kibirige. Mu lukiiko olutudde, abakiise bagambye nti tekiibe kyabwenkanya okubbula oluguudo mu linnya lyomugenzo Lwanga atenga gweyaddira […]
Museveni simussanyufu eri ekitongole ekiwooza
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga Museveni alaze obwenyamivu olwekitongole ekiwooza ekya URA okulagaya mu kusolooza omusolo mu ggwanga. Bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo, Eekitongole kino bwekibadde kijaguza okuweza emyaka 30 bukya kitandikawo. Museveni agambye nti yadde nga wabadewo okweyongera okuva mu mwaka gwa 1991 […]
Jimmy Akena asanyukidde ensalawo ya Kkooti mu musango ogubadde gumuvunanibwa
Bya Prossy Kisakye, Senkagale wékibiina kye byobufuzi ekya Uganda people’s congress president Jimmy Akena, asanyukidde okusalawo kwa kkooti mu musango oguwakanya obukulembeze bwe. Prof. Edward Kakonge yaddukira mu kkooti omwaka oguwedde nga awakanya ekya Akena okutegeka nokukubiriza tabamiruka wekibiina eyali Kasangati ngennaku zomwezi 1august omwaka […]
Ssegirinya ne Ssewanyana bagudwako gwa Butujju
Bya Malik Fahad, Ababaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NUP ababiri abavunanibwa okutegeka obutemu bwe bijjambiya mu bitundu byóbwagagavu bwe e Masakaomwafiira abantu abakunukiriza mwa 30 bagudwako emisango emirala egyobutujju. Ababaka bano okuli owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya ne munne owa Makindye West Allan […]
Eyajingirira obuyigirize nafuna omulimu waakukwatibwa
Bya Abubaker Kirunda Akulira ebyobusubuzi ku disitulikiti ye Kaliro oba Commercial Officer Christopher Muwanika ali mu kattu omulimu gwandimuyita mu myagaanya gyengalo, olwempapula ze ezobuyigirize ezibusibwa. Kalisoliiso wa gavumenti alagidde poliisi e Kaliro okukwata Muwanika era anonyerezebweko. Kalisoliso wa gavumenti agamba nti onoi yajingirira empapula […]
Kooti egobye omusango gwa Abu Adidwa owa Bukooli South
Bya Abubaker Kirunda Omulamuzi wa kooti enkulu e Iganga, agobye omusango gwebyokulonda ogubadde guwakanya okulondebwa kwomubaka Abu Adidwa owa Bukkoli South mu disitulikiti ye Namayingo. Omulamuzi Godfrey Namundi yagobye omusango ogwaloopebwa Steven Dede abadde awakanya obuyigirize bwe Adidwa eyamuwangula. Omulamuzi agambye nti eyawaaba yalemereddwa okuleeta obujulizi […]
Gavumenti yedizza omulimu gw’okukebera covid-19 okw’obuwaze
Bya Ritah Kemigisa Gavumenti yedizza omulimu gwokukebera abantu okwobuwaze, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Kino gavumenti egenda kukikola ku basabaze bonna abayingira egwanga ku kisaawe Entebbe. Bwabadde ayogera ne bannamawuire ku media centre mu Kampala, minisita wamwulire ebyuma bi kalimagezi nokulungamya egwanga Dr Chris Baryomunsi agambye […]