Amawulire
Olukiiko olulwanyisa COVID-19 lugenda kutuula
Bya Damalie Mukhaye Olukiiko olulwanyisa ssenyiga omukambwe mu gwanga lugenda kuddamu outuula olwaleero, okuteesa ku nsonga zokuggulawo amasomero. Bano wiiki ewedde baasisinkana omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni wabula nagana entekateeka gyebaali bamwanjulidde okuggulawo amasomero nabalagira baddemu okutuula okubaako byebekenneenya. Pulezidenti Museveni yalaga obwetaavu bwokusooka okugema […]
URA ewezezza emyaka 30
Bya Ritah Kemigisa Ekitongole ekiwooza kyomusolo mu gwanga, Uganda Revenue Authority benyumiriza mu musolo gwebakungaanya ogweyongedde. Bagamba nti wabaddewo okweyongera okuva ku buwumbi 180 nga bwegwali mu 1991 kankano okudda ku bwesedde 19 mu mwaka gwebyensimbi 2020/21. Buno bwebubaka obuvudde mu kitongole kino, nga bajaguza […]
Aba DP bawabudde KCCA kukyókugoba ababodaboda
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kya Democratic Party kiwadde ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority amagezi okuyiiya butya bwebasobola okulwanyisamu omugoteko mu kibuga nga tebagobye bavuzi ba bodaboda. Kino kidiridde entekateeka ye kitongole kino okulaga nga bwebagenda okugoba bodaboda ne taxi mu kibuga […]
Ogwa Kyabazinga tegusaliddwa
Bya Abubaker Kirunda, Omuwandiisi wa Kkooti enkulu, Fred Waninda ayongezaayo ensala yómusango ogwawawabirwa Kyabazinga wa Busoga, William Gabula Nadiope ogwokutwala Nnamulondo mu bukyamu. Waninda olunaku lweggulo yabadde alangiridde nga olunaku lwaleero bwebagenda okuwa ensalawo yómusango guno wabula enjuyi zombie mu musango guno bwezirabiseeko mu kkooti […]
Bannamateeka bawandikidde aba EOC ku byenjigiriza ebiri Buvanjuba námambuka géggwanga
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina omwegatira bannamateeka ki network of Public Interest Lawyers kiddukidde mu bakakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya aka Equal Opportunities commission nga kyagala bakake gavt okulongoosa ebyenjigiriza ebiri obubi mu bitundu ebyobugwanjuba námambuka geggwanga. Bannamateeka bano bagamba nti okusinziira ku kunonyereza kwabwe ebitundu bino […]
Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Muhamadh Nsereko
Bya Ruth Anderah Kooti enkulu ekakasizza okulondebwa kwomubaka Mohammed Nsereko ngomubaka wamasekati ga Kampala. Kooti egobye omusango gwa munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu gweyawaaba ngawakanya okulondebwa kwa Nserko. Omulamuzi Margret Apinyi agambye nti eyawaaba yalemererwa okuwa Nsereko ku mpaaba ye oba teyamusavinga bulungi nga bwekitekeddwa okubeera […]
Abalimba poliisi ku bijambiya bavunaniddwa
Bya Gertrude Mutyaba Omulamuzi wa kooti esooka e Masaka Arthur Ziraba ayongeddeyo okuwuliriza okweyimirirwa kw’abantu 3 abagambibwa nti baawa poliisi amawulire amakyamu. Oludda omuwaabi nga lukulembeddwamu Opia Caroline lutegeezezza kooti nti abavunaanwa, okuli Muwonge Vincent, Francis Kayemba ne Peter Ocheng nga 28 omwezi ogwomunaana, baawa […]
Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana basabye okweyimirirwa
Bya Gertrude Mutyaba Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba ataddewo olunnaku olwanga 20 omwezi guno, okuwuliriza okusaba okwatereddwayo a Puliida b’omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’owa Makindye West Allan Ssewanyana okweyimirirwa. Bano baakwatibwa ku bigambibwa nti beenyigira mu kutta abantu 3 […]
Kooti egenda kulamula omusango gwa Kyabazinga
Bya Abubaker Kirunda Kooti enkulu e Jinja olwaleero egenda kulamula omusango oguwakanya okutuzibwa kwa Kyabazinga wa Busoga William Nadiope Gabula. Omusango guno gwawaabwa omulangira we Bulamogi, Edward Columbus Wambuzi mu mwaka gwa 2014, ngagamba nti Nadiope ssi ye mulangira wengoma omutuufu. Mu mpaaba ye Wambuzi […]
Minisita anyonyodde lwaki baludewo okugula amasomero
Bya Damali Mukhaye, Minisita avunanyizibwa kubyénjigiriza, Janet Museveni, anyonyodde lwaki gavt ekandaliriza abayizi awaka. Mu bbaluwa gyawandiise ono agambye nti kino kikolebwa kulaba nti abaana na bazadde bakuumibwa nga balamu bungi okuva eri ekirwadde ekyazinda eggwanga ekya covid-19 Janet anyonyodde nti singa abayizi basiiga abazadde […]