Amawulire
Bannakyewa bagala ssente okuva mu World Bank zikozesebwe okugula eddagala
Bya Ndhaye Moses Ebitongole byobwanakyewa bisabye gavumenti okukozesa ensimbi obukadde bwa $ 346 nga bwebwesedde bwa silingi 1 nobuwmbi 200 okugula eddagala erigema ssenyiga omukambwe. Banka yensi gyebuvuddeko yawa Ugansa ssente zino eri gavumenti ya Uganda okulwanyisa ssenyiga omukambwe nokuzza engulu ebyenfuna. Ebitongole nakyewa okuli […]
Museveni akungubagidde BMK
Bya Ivan Ssenabulya Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akungubagidde wamu ne famile aboluganda nemikwano gyomugenzi Dr Alhaji Bulaim Muwanga Kibirige abadde amanyiddwa nga BMK. Museveni ayise ku tweeter, nalaga okunyolwa olwegwaanga okugiirwa omusubuzi abadde omukozi bwati. Agambye nti yazuula emikisa gyebyenfuna egyifumbekedde mu gwanga, najikozesa […]
UNRA yekokodde ababba ebipande ku nguudo
Bya Ndhaye Moses Ekitongole kyebyenguudo mu gwanga, Uganda National Roads Authority balaze okutya kungeri ebyuma byokunguudo gyebibibwamu. Okusinziira ku akulira ebyenguudo mu UNRA, John Ssejemba abantu babba obupande nebyuma okubitwala okubitunda, nga kirina engeri gyekyongedde ku bubenje ku nguudo. Kati agambye nti baatandise ku ntekateeka […]
Abasubuzi abatonotono bagenda kuweebwa obuwumbi 200
Bya Ndhaye Moses Gavumenti esabye abaddukanya business entonotono, okwetondamu ebibiina nga minisitule yebyensimbi etekateeka okufulumya obuwumbi 200 gyebali. Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni yalagira minisitule okuwagira aba business entonotono nensimbi zino, okweddabulula oluvanyuma lwokukosebwa ennyi ssenyiga omukambwe, nekigendererwa okuzukusa era ebyenfuna. Kati minisita webyensimbi Matia […]
Ssabaminisita alagidde emisango gyabasibwa olwettaka e Mubende giddemu okutunulwamu
Bya Magembe Sabiiti Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabbanja alagidde wofiisi ya Ssabawolereza wa gavumenti okuddamu okunonyereza ku misango gyabantu abasibwa olwenkayana zettaka mu gombolola okuli Madudu ne Kiruuma mu disitulikiti ye Mubende. Abantu abasoba mu 16 baakwatibwa ku misango gyettaka kooti nebasiba emyaka egiri mu 30, atenga abalala […]
Akakiiko ka palamenti kagenda kwanja alipoota ku bijambiya
Bya Benjamin Jumbe Akakiiko ka palamenti akebyokwerinda obutebenkevu nensonga zomunda mu gwanga, kategezezza nga bwebetegse okwanja alipoota yaabwe eri palamenti ku lunnaku Lwokubiri wiiki ejja. Ababaka abatuula ku kakiiko kano batumibwa okugenda okwekennneenya obutemu bwebijambiya e Masaka. Ssentebbe wakakiiko kano omubaka Rosemary Nyakikongoro agambye nti […]
Olwaleero gemattikira g’Omukama Oyo aga 26
Bya Ritah Kemigisa Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV olwaleero awezezza emyaka 26 ngatudde ku Namulondo yabaja Jajja be. Olwaleero gyemikolo gyamattikira, ejimanyiddwa nga Empango. Omukama Oyo ye mukulembeze wennono, akyasinze obuto okutula ku Namulondoa, nga yattikirwa mu mwaka gwa 1995 ngalina emyaka […]
Abebibaluwa bongedde okusattiza abakulembeze e Mukono
Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa gavumenti e Mukono Fatumah Nabitaka Ndisaba addukidde eri olukiiko olukulembera nti basalira amagezi kungeri yokunywezaamu ebyokwerinda. Kino kidiridde ebibaluwa, abantu abatanaba kutegerekeka byebongedde okusuula mu bitundu bya disitulikiti ebyenjawulo, nga biraliika obutemu. Aagidde nabakulembeze ku mitendera egya wansi okutandikira ku […]
Omukago gwa IPOD baanukudde NUP abagaanye okubegattako
Bya Ivan Ssenabulya Egwandisizo lyomukago gwa Inter-Party Organization for Dialogue (IPOD) bongedde okulaga obumalirivu, okuteseganya nebibiina byobufuzi ku nteseganya ezetagisa, kulwobulungi bwabanaUganda. Mu kiwandiiko ekivudde ewa ssabawandiisi wa IPOD Frank Rusa, bewaddeyo okukolagana nebibiina byobufuzi nokuzimba enfuga eya democrasiya mu gwanga. Mu kiwandiiko kino, abadde […]
KACITA bakungubagidde munaabwe BMK
Bya Ivan Ssenabulya Abasubuzi bomu-Kampala wansi wekibiina ekibagatta ekya KACITA, bakungubagidde okufa kwomusubuzi munaabwe omugundiivu, Haji Bulaimu Muwanga Kibirige abadde amanyiddwa nga BMK. Okufa kwe bagambye nti konde lyamaanyi eri abasubuzi. BMK afiridde mu kibuga Nairobi, mu gwanga lya Kenya gyabadde ajanjabirwa, ngabadde alwanagana n’ekirwadde […]