Amawulire
Nabbanja asubizza okugema obukadde 4
Bya Benjamin Jumbe Gavumenti ekakasizza nti omwezi gwekkumi wegunagwerako nga bagemye abantu obukadde 4 n’emitwalo 8 ekirwadde kya ssenyiga omukambwe. Obweyamu buno bukoleddwa Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabanja, wabula waliwo okutya obanga kino kinasoboka, kubanga ebbanga ttono atenga abakagemebwa nabo bakyali batono. Ssabaminisita agambye nti Alaina […]
Aba NUP bagaanye okwegatta ku mukago gwa IPOD
Bya Ivan Ssenabulya, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Unity Platform kisazeewo obutegatta ku mukago omwegatira ebibiina byobufuzi mu ggwanga lino ogwa Inter-Party Organization for Dialogue (IPOD). Omukago guno ogwatandikawo mu 2010 gwegattiramu ebibiina byobufuzi byonna ebirina ababaka mu palamenti. Mu nsisinkano eyaliwo nga 26th April 2021, […]
Abakyala bémbutto bakubirizidwa okugenda okunywa eddagala nga bukyali
Bya Prossy Kisakye, Ngá Uganda yetegeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lwebyobulamu ebirungi olumanyiddwa nga International Health Safety Day, minisitule eyébyobulamu ekubiriza bamaama abali embutto okwetanira okugenda okunywa eddagala ngobudde bukyali kisobozese okukendeza ku muwendo gwa baana abazaalibwa nga tebanetuuka. Mu kwogerako ne bannamawulire mu […]
Ssabalamuzi asabye obuwagizi eri ekitongole ekiramuzi
Bya Benjamin Jumbe, Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo asabye wabeewo enkyukakyuka mu ngabanya yensimbi ezisindikibwa mu kitongole ekiramuzi. Bino abyogeredde mu mulukungana olukwata ku mbalirira ye ggwanga ku kisaawe e Kololo, Dollo agambye nti omulimu gwe kitongole ekiramuzi ku leetawo nkyukakyuka mu byembeera za bantu ne […]
Minisitule eyébyénjigiriza efulumiza ebinagobererwa ngámasomero gagguddwa
Bya Prossy Kisakye, Minisitule eye byenjigiriza nébyemizannyo evudeyo nenteekateeka enegobererwa singa amasomero ganagulawo. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba agambye nti bavudeyo nentekateeka eno nga bwebalinda omukulembeze weggwanga okuvaayo nennaku entuufu abayizi kwebanadira mu masomero. Mugimba, anyonyodde nti […]
Abavubi be Katosi-Mukono babayimirizza
Bya Ivan Ssenabulya Abavubi okuva ku mwalo gwe Katosi baakedde kugumba ku kitebbe kya disitulikiti ye Mukono okulaga obutali bumativu bwabwe ku balwanyisa envuba embi ku nyanja ababayimirizza okukola. Abavubi bagamba nti akulira abalwanyisa envuba embi ategerekeseeko erya Isreal yabayimirizza awatabadde kubanyonyola kimala, lwkai kino […]
Omukazi asse kitaawe lwakubba mwanyi ze
Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu disitulikiti ye Sironko ebakanye nomuyiggo ku mukazi nakamapaate, ow’emyaka 40 agambibwa okutemateema kitaawe namutta. Nabukwasi Betty kigambibwa nti yasse kitaawe oluvanyuma lwokumusanga mu musiri gwe ogwemwanyi, nganoga. Bino byabadde ku kyalo Bukaalu mu gombolola ye Buwansi, e Sironko. Omwogezi wa […]
Obwavu bweyongedde mu bantu n’ebitundu 75%
Bya Juliet Nalwooga Alipoota ya banka yensi yonna eraze nti wabaddewo okweyongera mu bwavu kwa 75% mu myaka 25 ejiyise. Kino bagambye nti okusinga kibadde mu mawanga agakyakula nagalai waddewaddeko mu byenfuna oba middle-income countries. Alipoota eno bajituumye, “Poverty and shared prosperity 2020”: nga kitereddwa […]
Naluyima aleese ekiteeso ku musolo oguva mu bitundu
Bya Prosy Kisakye ne Moses Ndhaye Ababaka ba palamenti awatabadde kwesalamu bawagidde ekiteeso ekireteddwa, ekigenda okukubaganyizbwako ebirowoozo, gavumenti okujulula entekateeka, yazi gavumenti ezebitundu okukunganya omusolo nebaguwereza mu gwanika lyegwanga nga tebanagukozesa. Ekiteeos kino kyanjuddwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Wakiso Betty Ethel Naluyima nga kiwagiddwa […]
Museveni alemezzaawo kafyu
Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni tanalaga bwetaavu bwokujjawo kafyu, owessaawa 1 akwungeezi ne 11 nekitundu ngobudde bukya. Abamu ku bantu be Msaka, babadde basaba nti kafyu ajibwewo okusoboka okwerwanako mu budde bwekiro ssinga bakolebwako obulumbaganyi. Wabula pulezidenti Museveni agambye nti kafyu yatekebwawo […]