Amawulire
Museveni asisinkanye abakugu kubyókugula amasomero
Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze weggwanga yevubye akafubo nabakakiiko akalwanyisa ekirwadde kya covid kubyokugula amasomero. Mu kwogerako ne KFM, minisita omubeezi owebyenjigiriza ebyawaggulu John Chrysostom Muyingo, agambye nti minisitule evudeyo ne byokuteesako mu kugulawo amasomero bye bagenda okukubaganyako ebirowoozo munsisinkano eno. Muyingo atubuulidde nti oluvanyuma lw’ensisinkano […]
Aba CMI bakutte omutuuze némmundu e Mukono
Bya Ivan Ssenabulya, Ekitongole ekikeesi ekya CMI kikutte omutuuze n’emmundu kika kya AK47, okuva ku kyalo Buliika mu gombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono. Okusinziira ku ssentebbe w’egombolola ye Nama, John Bosco Isabirye, omukwate mutuuze mu kitundu kye. Amyuka omubaka wa gavumenti e Mukono […]
Ssegirinya ne Ssewanyana basindikibwa ku alimanda
Bya Malik Fahad, Kkooti enkulu etuula e Masaka egudde omusango gwobutemu ku ku mubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammed Ssegirinya ne munne owa Makindye West, Allan Ssewanyana ne basindika mu kkomera e Kitalya. Ababiri bano bavunanibwa okubera emabega wóbutemu bwe bijjambiya obubadde mu bitundu […]
Aba DP bawabudde Gavt kungeri yókulwanyisamu obumenyi bwámateeka
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kiwadde ebitongole ebikuuma ddembe amagezi okweyambisa abatuuze mu kulwanyisa obumenyi bwamateeka obukudde ejjembe mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti olwa bakuuma ddembe okutulugunya enyo bannauganda […]
Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Ssegirinya bwegobye omusango
Bya Ruth Anderah Kooti enkulu mu Kampala egobye omusango ogubadde gwawaabwa nga guwakanya okulondebwa kwomubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya. Omulamuzi abadde mu musango guno Hennerieta Wolayo alamudde nti eyawaaba Sulaiman Kidandala yalemererewa ddala okutuusa empaaba ye eri Ssegirinya nga bwekirambikiddwa mu mateeka, mu kkomera […]
Omuntu omulala attiddwa mu nkayana z’ettaka e Kasanda
Bya Barbra Nalweyiso Abakulembeze ba disitulikiti ye Kassanda nga bakulembedwamu Ssentebe wa District Kasirye Zzimula, Omubaka wa Kassanda South Frank Kabuye Frank, DPC Hassan Amanya n’abalala batudde bukubirire okusarira awamu amagezi ku nsonga yokusindsikiriza abantu okuva ku ttaka. Eno musiga nsimbi Abidi Alam aliko abantu […]
Abe Mukono babasuliiidde ebibaluwa okubatemula
Bya Ivan Ssenabulya Abakulembeze mu disitulikiti ye Mukono baguddemu akasattiro, oluvanyuma lwebibaluwa ebyasuliidde mu bintundu ebyanjawulo. Waliwo ebibaluwa ebyasuliiddwa mu gombolola ye Nama ku kyalo Lwanyonyi, Seeta-Namuganga, Bajjo mu Goma nemu central division mu munisipaali ye Mukono. Ssentebe w’egombolola ye Nama John Bosco Isabrye nowa […]
Omubaka Wakayima agenda kuleeta ekiteeso ku Bijambiya
Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa munisipaali ye Nansana Wakayima Musoke Nsereko ategezezza nga bwalina ekiteeso kyagenda okwanja eri palamenti ngayagala gavumenti ekirangirire nti obutemu bwebijambiya, kafuuse akatyabaga eri egwanga lyonna. Obutemu buno bwatandikira Masaka ngeno abantu abasoba mu 30 bebatiddwa mu kabanga akatono akayise, atenga […]
Emikolo Gy’empango egya 26 gituuse
Bya Ritah Kemigisa Obukama bwa Tooro betala okukira abanabaaga, okukuza amattikira G’omukama Oyo Nyimba agomulundi ogwa 26, emikolo ejimanyiddwa nga Empango. Kattikiro wobukama, Bernand Tungwako ategezezza ngentekateeka bwezigenda mu maaso, kulwemikolo gino. Okwawukanako kungeri emikolo bwejategekebwangamu, ku mulundi guno, emikolo gigenda kukwatibwa mungeri yanjawulo, olwekirwadde […]
Uganda ewereddwa eddagala lya Moderna doozi 647,080
Bya Paul Adude Minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng ategezezza ngeddagala erigema ssenyiga omukambwe eryekika kya Moerna, doozi emitwalo 64 mu 7,080 bwerigenda okukozesebwa ku bantu abatanafuna doozi esooka. Eddagala lino lukubibwa doozi 2, ngeyokubiri ekubibwa nga wayise wiiki 4, wabula minisita alabudde nti terisobola […]