Amawulire
Gavt erabudde ku butemu bwe Masaka bwandisasasnira ebitundu ebirala
Bya Malik Fahad, Gavumenti erabudde nti obutali butebenkevu obuli mu bitundu bye Masaka bwandisasaanira mu bitundu ebirara ebye ggwanga nesaba abakulembeze be bitundu okugoberera ensonga eno. Bino byogeddwa minisita avunanyizibwa kunsonga za maka gomukulembeze weggwanga Milly Babalanda wakati mu musomo ogwokubangula ababaka ba gavt e […]
Bannaddiini bavumiridde ettemu eriri mu bitundu byé Masaka
Bya Prossy Kisakye, Omulabirizi wóbusumba bwe ssaza ekkulu Kampala archdiocese Rt Rev Paul Ssemwogerere, asabye omukulembeze weggwanga Museveni okukomekereza obutemu bwe bijjambiya obuli mu bitundu byobwagagavu bwe masaka. Obutemu obwatandika mu masekati gomwezi ogwomusanvu mwakafiiramu abantu 30 era okusinga bakadde bebattibwa. Abakuuma dembe bakakwata abateberezebwa […]
Aba NUP basekeredde Poliisi ku butemu bwé Masaka
Bya Benjamin Jumbe, Ekibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform kisekeredde poliisi bweyayise ababaka bakyo 2 mbu babeeko bye banyonyole ku butemu bwebijjambiya obukolebwa mu bitundu ebyobwagagavu bwe e Masaka. Kino kidiridde olunaku lweggulo poliisi okufulumya ebbaluwa eyita omubaka wa Kawempe North mu palamenti Mohammad […]
Katikiro akuutidde abakulembeze ba Kampala okukola ku biruma bannakibuga
Bya Prossy Kisakye, Minisita avunanyizibwa kunsonga za Kampala ne miriraano, Minsa Kabanda asabye abakulembeze mu bwakabaka bwa Buganda okuyambako ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority okunogera eddagala ebisoomoza ekibuga. Bino abyogedde akyadeko embuga wamu nomumyukawe Kyofatogabye Kabuye, gye basisinkanidde kamala byonna wa […]
Obuyiiya mu kutereka ssente bubuno ‘WhatsApp Banking’
Bya Juliet Nalwooga BannaYuganda basabiddwa okwettanira enkola eya whatsapp bankin, obuyiiya obujja obwaleteddwa mu byokutereka ssente okuyita ku mitimbagano. Sarit Raja, akulira ebyensimbi n’emirimu mu kampuni ya I&M mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa, agambye nti kitundu kyomwaka 2021 eisoose wabaddewo okweyongera mu magoba okutuuka ku […]
Ababaka mu Rwenzori bawabudde ku Myoga
Bya Ivan Ssenabulya Ababaka ba palamenti bawabudde nti ekitongole kya Microfinance Support Centre kibangewo entekateeka endala, enarondoola nokulungaya obulungi Emyooga. Ababaka era baawabudde nti ebibiina byobwegassi ebikola obulungi babyongere ssente, abakozi ba gavumenti okuli ba CDO basasulwe bulungi songa bagamba nti era waliwo obwetaavu okwongeranga […]
Abakadde Bagala obudde bwa Kafyu bujibwewo e Masaka
Bya Prosy Kisakye Abakadde mu gwanga, nga begattira mu kibiina National Council for Older Persons (NCOP) basabvye gavumenti okujjawo obudde bwa kafyu e Masaka, okusobola okuleka abantu okwerwanako ssinga baba barumbiddwa abebijambiya. Okusinziira ku poliisi abantu 28 bebakattibwa, mu disitulikiti ezikola ekitundu ekigazi ekye Masaka. […]
UPDF bakaksizza okukwatibwa kwa Dr Lawrence Muganga
Bya Ritah Kemigisa Amagye gegwanga aga UPDF, bakakasizza ngabebyokwerinda bwebakutte, amyuka ssenekulu wettendekero lya Victory University Dr. Lawrence Muganga. Amawulire gasoose kuyitingana nti Dr Muganga, yawambiddwa abanatu abakyamu, abatanaba kutegerekeka. Wabula omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Flavia Byekwaso agambye nti Dr Muganga yakwatiddwa ku misango […]
E Masaka bazudde omulambo mu nnyumba
Bya Malikh Fahad Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyanamukaka e Masaka, bwebazudde omulambo gwa mutuuze munaabwe mu nnyumba. Poliisi etegezezza nti omugenzi ye Donozio Kakooza owemyaka 47 ngabadde abeera bwomu mu nnyumba. Godfrey Kyabagu nga ye ssentebbe wekyalo, agambye nti omugenzi alabika yafudde walagi gweyanywedde […]
Kidandala alayidde obutajjaayo musango gwa Ssegirinya
Bya Ruth Anderah Eyavuganya ku kifo kyomubaka wa Kawempe North, Sulaiman Kidandala alayidde nti tagenda kujja nta mu musango, gwokulwaniririra obunwaguzi bwe. Ono yawawabira omubaka Muhammed Segirinya, ngawakanya empapula ze ezobuyigirize. Kati agambye nti azze afuna okutisibwatisbwa nti ave musango guno, okuva mu babeyokwerinda nabakulu […]