Amawulire
Wabaddewo okudirira mu bigezo bya UBTEB
Bya Damalie Mukhaye Ekitongole kyebigezo byemikono, Uganda Business and Technical Examinations Board bategezezza nga bwewabaddewo okudiririra mungeri abayizi bwebakoze ebigezo byomwaka 2020. Bwabadde afulumya ebigezo bino ku wofiisi zekitongole e Ntinda, Ssabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye agambye nti abayizi omutwalo 1 mu 6,144 bebewandiisa naye […]
Palamenti etadde Gavt kunninga ku byókugula amasomero
Bya Ivan Ssenabulya, Palamenti ewadde minisitule eye byenjigiriza ne byemizannyo ennaku 7 eveeyo ntekateeka kukyokugula amasomero mu ggwanga. Amyuka sipiika Anitah Among atadde minisita we byenjigiriza ebyawaggulu John Chryzstom Muyingo aveeyo mangu kunsonga eno. Kino kidiridde omubaka wa Kiira municipality mu Palamenti Ibrahim Ssemuju Nganda […]
Kkooti ekakasiza omubaka Aloysius Mukasa mu Rubaga South
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu kampala ekakasiza Aloysius Mukasa ngomubaka omutuufu eyalondebwa abatuuze be Lubaga South. Kino kyadirira munna DP Eugenia Nassolo bwebavuganya ku kifo kino okugyayo omusango gweyali yatwala mu kkooti. Kkooti etegezeza nti kulwobulungi bannamateeka bejuyi zonna bakkiriziganyiza omusango guvve mu kkooti […]
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje e Bugiri
Bya Abubaker Kirunda, Abantu 2 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ke motoka e Bugiri. Akabenje kano kagudde mu katawuni ke Naluwerere mu kibuga kye Bugiri kuluguudo oluva e Bugiri-Tororo. Abdu Kasira eyerabiddeko nga akabenje kano kagwawo agambye nti akabenje kavudde ku bafudde ababiri ababadde […]
Minisitule esambaze ebyókugula amasomero mu Ssabiiti 2
Bya Prossy Kisakye, Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo okusambajja amawulire agayitingana, agakwata ku kuggulawo amasomero. Amawulire mu mpapula galaze nti, amasomero gagenda kuggulawo, mu wiiki 2. Bano babadde balina abakungu bebesigamyeko okuva mu minisitule yebyenjigiriza, nga bagambye nti bagenda kutandika ne P1 okutuuka ku P3 nabayizi […]
Ekimotoka kyamfutakutte omuliro e Kumi
Bya Juliet Nalwooga Ekimotoka kyamafuta, kibwatukidde mu disitulikiti ye Kumi. Kino kibadde kiva Eldoret mu gwanga lya Kenya, nga kyolekera gwanga lya Democratic of Congo. Omwogezi wa poliisi Gregory Ageca, agambye nti lukululana eno esoose kwetaba mu kabenje, mu gombolola ye Atutur e Kumi. Tekinategekeka […]
Abayizi bangi banywa omwenge
Bya Prosy Kisakye Okunonyereza kulaze nti abayizi bangi kuzi University, betaba mu bikolwa ebybulagajavu okunywa omwenge. Akulira ettabi lya Psychology ku ttendekero e Makerere, Dr. Leon Matagi agambye nti ouze guno baazudde nga guva waggulu negukirirra nemu bayizi abamu mu bibiina ebya wansi. Agambye 15% abayizi […]
Minisitule esambazze ebyokuggulawo amasomero
Bya Prosy Kisakye Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo okusambajja amawulire agayitingana, agakwata ku kuggulawo amasomero. Amawulire mu mpapula galaze nti, amasomero gagenda kuggulawo, mu wiiki 2. Bano babadde balina abakungu bebesigamyeko okuva mu minisitule yebyenjigiriza, nga bagambye nti bagendakutandika ne P1 okutuuka ku P3 nabayizi aba […]
Omuuumi asse ateberzebwa okubeera omubbi e Fort-Portal
Bya Juliet Nalwooga Polisi e Fort Portal etandise okunonyereza kungeri omukuumi mu kampuni yobwannnyini, abadde akuuma ku woteeri ya Fort View gyakubyemu, omuntu namutta. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwenzori West, Vincent Twesigye agambye nti omugenzi ye Innocent Mujuni, owemyaka 27. Ono […]
Omukadde asimattuse abebijambiya e Kyotera
Bya Gertrude Mutyaba Abatuuze ku kyalo Kiwaala mu muluka gwe Bulayi mu division ya Nnyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka baguddemu ekyekango bwebagudde ku mulambo gw’omuntu mu kibira kye Kasonko. Poliisi eggyayo omulambo guno, wabula gubadde guvunze, nga namaaso tegakyalimu. Okusinziira ku bakulembeze be kitundu, omugenzi tebamumanyi […]