Amawulire
Abebijambiya balumbye ekkolero lyaba-China e Luweero
Bya Dan Wandera Ebyokwerinda binywezeddwa mu disitulikiti ye Nakaseke oluvanyuma lwakabinja kabasajja ababadde bakakatanye nebijambiya, okulumba ekkolero lyaba-China nebatema abasirikale ba poliisi ababadde bakuuma. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana Issa Semwogerere akaksizza obulumbaganyi buno, agambye nti bubadde ku Jui Zhou Stone Quarry Company […]
Semi-Fayinolo za Uganda Cup zaamwezi gujja
Bya Lukeman Mutesasira Abaddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga aba FUFA, balangiridde ennaku ezokusambirako semi-finals za 2020/21 Stanbic Uganda Cup nentekateeka egenda okugobererwa. Empaka zino zakuberawo nga 21 nenkeera waalwo nga 22 Sebutemba 2021, era empiiira gyonna gyakusambibwa omulundi gumu, tewajja kuberawo mupiira ogwokuddingana, nga bwekibaddenga. […]
Amaje g’America daaki gavudde mu Afghanistan
Bya Musasi Waffe Oluvanyuma lwemyaka 20, nga bakuuma emirembe nokutereeza egwanga lya Afghanistan, amagye ga America daaki gavudde mu gwanga lino. Olwaleero ye ssale ssale eyakanyizbwako era eyalangirirrwa pulezidenti w America Joe Biden, okuva mu Afghanistan. Gen Kenneth McKenzie, yalangiridde gyebuvuddeko nga bwebavuddeyo. Eri aba-Taliban […]
Amasomero gasubirwa okugulwawo mu wiiki 2
Bya Damalie Mukhaye Gavumenti essubirwa okuggulawo amsomero mu bbanga lya wiiki 2 ezijja, nga baakutandika ne P1 okutuuka ku P3, S1 ne S2. Ministule yebyenjigiriza nemizannyo egamba nti bano bebagenda okuteeka ku mwanjo, mu ntekateeka esooka. Kino kyateseddwako olunnaku lweggulo mu lukiiko olwatudde, olwetabiddwamu abakulira […]
Akabondo ba Buganda kagenda kutuula okuteesa ku Butemu bw’eMasaka
Bya Prosy Kisakye Akabondo kababaka ba palamenti abava mu Buganda kagenda kutuula bukubirire olwaleero, okuteesa ku ttemu eryongedde okulanda mu kitundu kye Masaka. Eno abebijambiya, bakatta abantu abagoba mu 30 mu bbanga eryomwezi gumu, ekyongedde okuteeka abantu ku bunkenke. Ssabawandiisi wakabondo ka Buganda, omubaka wa […]
Poliisi ekutte abantu 15 ku byobutemu bwe Masaka
Bya Juliet Nalwooga Poliisi nabebyokwerinda abalala bategezezza nga bwebakutte abantu 15 nga bateberezebwa nti bebali emabega wobutemu, obuli mu bitundu bye Masaka. Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti baazudde nti waliwo obubinja bwabamenyi bamateeka […]
Abantu balabuddwa kuba Money lender abatali bawandiise
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekirungamya emirimu gyebibiina byobwegassi, Uganda Microfinance Regulatory Authority balaze okutya ku bitongole nabantu ssekinoomu ebyeyongedde, abawola ssente abakazibwakoo eryaba money lenders. Abasing ku bano, bagamba nti ssi bawandiise era bakolera wabweru wamateeka. Bwabadde ayogerako naffe, akulira ekitongole kino Peter Emong agambye […]
Uganda ne S Sudan bagenda kulawuna oluguudo lwa Juba-Nimule
Bya Ivan Ssenabulya Gavumenti ya Uganda ne balirwana aba South Sudan bakanyizza, okukolera awamu okulawuna oluguudo lwa Nimule-Juba okusobola okukuuma abasubuzi abalukozesa. Endagaano wakati wa gavumenti zombi yatukiddwako, oluvanyuma lwobulumbaganyi obubadde bweyongedde okukolebwa ku basubuzi, abagoba ba loole naba baasi. Amyuka Ssabaminisita wegwanga Rebecca Kadaga […]
Abasubuzi wansi wa KACITA balaliise okwekalakaasa
Bya Prosy Kisakye Abasubuzi mu kibuga, wansi wekibiina ekibagatta Kampala city Traders Association balabudde nga bwebagenda okwekalakaasa, nga bawkanya ekyokubabanja ssente zobupangisa, ezemyezi egyemabega mu muggalo. Bano banenya ba landiloodi, okubataulugunya nokubakanda ssente,atenga baali ku muggalo nga tebakola. Akolanga ssentebbe wa KACITA, Thaddeus Musoke agambye […]
Abebyenjigiriza nabebyobulamu bagenda kutuula
Bya Damalie Mukhaye Abakugu okuva mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo nabalala abavudde mu minisitule yebyobulamu bagenda kusisinkana olwaleero, okukaanya ku nnaku ezokuggulirako amasomero. Amawulire agomunda getutegeddeko, galaga nti minisitule yebyenjigiriza eyagala amasomero gagulwewo mu mwezi ogujja ogwa Sebutemba. Bwatukiriddwa, minisita omubeezi owebyenjigiriza Dr Joyce Moriku Kaducu […]