Amawulire
Museveni alinyisiza Omugenzi Maj Gen Loketch eddaala
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze wéggwanga YK Museveni era nga ye ssabaddumizi owókuntiko oweggye lye ggwanga erya UPDF alinyisiza eddaala lyómugenzi abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Lokech okudda ku Lt Gen. Bino byogeddwa minisita owensonga ezomunda mu ggwanga Gen Kahinda Otafiire mu kuziika omugenzi Lokech […]
Omuwendo gwábakattibwa abébijjambiya gulinye kati bali 20
Bya Gertrude Mutyaba, Obutemu bwe Masaka bwongedde okusasaana nemu disitulikiti endala, eziri mu kitundu kino. Waliwo omuntu omulala atiddwa ku kyalo Kisaka mu disitulikiti ye Bukomansimbi, atenga mu bulumbaganyi bwebumu omu yeyalumiziddwa. Omugenzi ye Muhamad Mwanje, atenga munne Jimmy ssemanda yalumiziddwa. Bano bombi batuuze ku […]
Mulago etubidde n’omujjuzo gwábagala okugemebwa
Bya Benjamin Jumbe, Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, batubidde nomujjuzo gwabantu abazze okubagema ssenyiga omukambwe. Bano babadde bazze mu bungim wabula bamaze nebakabatema nti olwaleero okugema tekugenda kuberawo. Kati amyuka akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Rosemary Byanyima agambye nti babadde tebanafuna ddagala okuva mu […]
Gavt enenyezeddwa obutafa ku bantu abattibwa
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti enenyezeddwa olwokutwala embeera ya bantu abafa mu ggwanga lino ngéyolubalaato naddala eggwanga bweryali lyolekera okulonda kwabonna, newekwagwa. Okusinzira ku kibiina omwegatira bannamateeka ki Network of Public Interest Lawyers (NETPIL) embeera bweti erese abamenyyi ba mateeka tebwatibwako ekibavirako okusigala nga batyoboola eddembe […]
Omusomesa agombedwamu obwala lwa kubba Nte
Bya Abubaker Kirunda, Omusomesa wa secondary e Kamuli agombedwamu obwala ku bigambibwa nti yabbye ente. Omukwate mutuuze ku kyalo Kinu mugombolola ye Namwendwa e Kamuli. Okusinzira ku sentebe wa LC1, Denis Ndaula omukwate yabbye ente mu kiro ekikeseza olwaleero nagikukusa okugitwala mu disitulikiti eye Luuka […]
Bannauganda 17 Gavt bemanyi abali mu Afghanstan
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti esabiddwa okwetanira okutambuliza empereza zaayo kun kola eya digital bweba yakulwanyisa obukenuzi. Bino byogeddwa omukwanaganya wemirimu mu kibiina kyobwannakyewa ekya Afrobarometer Francis Kibirige mu kufulumya alipoota eyolese nti bannauganda bangi tebakyalina bwesige mu gavt nti esobola okulwanyisa enguzi. Alipoota eno erambise […]
Bannabyabufuzi beebuuza obuvumu Gavt gyebujja okusenza bannansi ba Afghanstan
Bannabyabufuzi batandise okusoya gavt ya NRM ebibuuzo ebyekuusa kukukuuma eddembe lyobuntu eryooke ebudamye bannansi ba afghanstan abadduse obukambwe bwa Bataliban. Okusinzira ku senkagale we kibiina kye byobufuzi ekya Alliance for National Transformation (ANT) Rtd Maj. Gen Mugisha Muntu, bannansi ba Afghan bali mukudduka ebikolwa ebyokutyoboola […]
Abaana abasoba mu bukadde 8.7 bakugemwa ekirwadde kya Mulalama
Bya Moses Ndaye, Gavumenti esabiddwa okwetanira okutambuliza empereza zaayo kun kola eya digital bweba yakulwanyisa obukenuzi. Bino byogeddwa omukwanaganya wemirimu mu kibiina kyobwannakyewa ekya Afrobarometer Francis Kibirige mu kufulumya alipoota eyolese nti bannauganda bangi tebakyalina bwesige mu gavt nti esobola okulwanyisa enguzi. Alipoota eno erambise […]
Muntu ayagala Gavt eyongere aba CID ensimbi balwanyise abamenyi b’amateeka
Bya Prossy Kisakye ne Rita Kemigisa, Oluvanyuma lwóbutemu bwebijjambiya okubalukawo mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Masaka poliisi eyongedde okuyungula abawanvu na bampi okunyweza ebyokwerinda. Okusinzira ku mwogezi wekitongole kya poliisi ekinonyereza kubuzzi bwemisango ekya CID, Charlse Twine, agambye nti basindise abakugu mu kunonyereza okuva ku […]
Bamuwasa buto 2 bakwatibbwa e Jinja
Bya Kirunda Abubaker, Poliisi mu kibuga kye Jinja eriko abalenzi 2 bekutte, mu myaka emito ku byokuwasa muto munaabwe, owemyaka 13. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira nga ye James Mubi agambye nti abalenzi bano bombi bali mu myaka 14. Mubi agambye nti bano […]