Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Baminisita bakkiriza bannasayansi bongerwe Omusaala

Bya Rita Kemigisa, Olukiiko lwa baminisita luyisiza ekiteeso ekyokwongeza bannansayansi omusaala mu ggwanga lino. Okusinzira ku minisita omubeezi avunanyizibwa ku kulungamya eggwanga Chris Baryomunsi,baminisita olunaku lweggulo bakkirizza abasomesa bannasayansi, ba pulofeesa, batuta, ne balekichala bongerwe omusaala. Omukulembeze weggwanga aludde nga ayagala bano okubongeza omusaala nga agamba nti ayagala Uganda eyenkya okutambulira ku musingi ogwa sayansi ne technologia. Museveni ayagala…

Read More

Gavt ekwataganye ne Buganda okutumbula enkola ye Emyooga

Bya Prossy Kisakye, Gavumenti ekwataganye nóbwakabaka bwa Buganda okutumbula enteekateeka yaayo eyébyenkulakulana emanyiddwanga nga eye “Emyooga’’ nekigendererwa ekyokugusa ekirubirirwa kyayo obulungi. Bwabadde akiise e Mbuga olwaleero, Minisita avunanyizibwa ku microfinance Haruna Kyeyune Kasolo, ategezeza nti gavt eyagala eokukozesa ettutumu lya bakulembeze mu Buganda okuyita mu SACCO za Buganda okutumbula enkola ye emyoooga ku lwenkulakulana ya bantu. Mu nkolagana…

Read More

Emiwendo gya Covid gisuubirwa okulinnya mu ssabiiti 2 egijja mu maaso

Bya Prossy Kisakye, Bannauganda abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 bakweyongera mu ssabiiti 2 egijja mu maaso Bino bifulumidde mu alipoota eya buli ssabiiti ekolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kutekeratekera eggwanga ki National Planning Authority. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa senkulu wekitongole kino Dr Joseph Muvawala, ssabiiti etandika nga 22nd to 28th August, abantu 169 bebagenda okufuna akawuka buli lunaku ate mu wiiki…

Read More

Aba FDC balumbye Museveni kunsimbi za Parish Model

Bya Damali Mukhaye, Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kilumbye omukulembeze weggwanga YK Museveni olwokusaba palamenti eyise akasse kalamba akensimbi ziyambe mu kuvujirira entekateka ye eyokukulakulanya emiruka emanyiddwa nga parish development model Bweyabadde asisinkanye ababaka ba palamenti abakabondo ka NRM ku kisaawe e Kololo Museveni yasaba ababaka bano okuwagira entekateka eno obulungi. Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye…

Read More

Ababaka bé Kasese bemulugunyiza

Bya Benjamin Jumbe, Ababaka ba NRM abava mu bitundu bye kasese basabye wabeewo okwanguyiriza mu kuwulira emisango gyabo abagambibwa okuba nti benyigira mu butabanguko obwali e Kasese mu 2016 Kasese. Kinajukirwa nti mu mwezi gwa musenene omwaka gwa 2016 amaggye ga gavt galumba olubiri lwomusinga wé Rwenzururu ekyaleetawo obutabanguko obwava abantu abawera okufiirwa obulamu nokukwatibwa kwomusinga Charles…

Read More

Akakiiko kébyókulonda kasabye omusango gwa Nsereko gugobye

Bya Ruth Anderah, Akakiiko ke byokulonda kasabye kkooti enkulu mu kampala egobe omusango gwe byokulonda ogwawawabirwa omubaka wa kampala central Muhammed Nsereko. Munnamateeka wa kakiiko ke byokulonda,Eric Sabiiti, ategezeza omulamuzi Margaret Apinyi nti eyatwala omusango guno mu kkooti  munnakibiina ki NUP Fred Nyanzi alemereddwa okuwa empabaye omuwawabirwa okusobozesa omusango ogugenda mu maaso. Wabula munnamateeka wa Nyanzi, Justine Semuyaba alemedeko…

Read More

Bannakyewa basabiddwa okwegatta

Bya Ivan Ssenabulya, Eyaliko senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya Forum for Democratic Change Dr Kiiza Besigye asabye buli akwatibwako ensonga yokulwanirira eddembe lyobuntu okukikola awatali kutya. Ono okwogera bino abadde ayogera ku kya gavt okuyimiriza emirmu gye bibiina byobwannakyewa 54 ku byekuusa ku butagondera biragiro. Ekitongole kya gavt ekirondoola emirimu egikolebwa bannakyewa mu ggwanga ki NGO bureau kyategeeza…

Read More

Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde

Bya Benjamin Jumbe, Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde. Amawulire gókufakwe gakakasiddwa ssabaddumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola nategeza nti ono afiiridde mu makage enkya ya leero. Maj Gen Lokech yalondebwa omukulembeze wéggwanga Yoweri Kaguta Museveni okudda mu bigere bya Mzee Sabiiti mu mwezi ogwa Ntevu omwaka oguwedde. Mu kwogerako ne Dembe FM avunanyizibwa kunsonga…

Read More

Okusunsula aba S1 ne S5 kutandika mwezi gujja

Bya Damali Mukhaye, Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza né byémizannyo Janet Museveni, ategezeza nga okusunsula abayizi abagenda mu siniya esooka ne yókutaano bwekugenda okutandika wakati wómwezi ogujja nogwe 10. Bwabadde afulumya ebyava mu bigezo bya bayizi abatuula s6 omwaka oguwedde mu maka gomukulembeze weggwanga e Entebbe, Janet akakasiza nti omulimu gwokusunsula abayizi bano gutandika mwezi gujja, wabula nga…

Read More

Abayizi ba s6 baayitidde waggulu

Bya Damali Mukhaye, Abayizi abatuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo ebya S6 ebyomwaka 2020, omwaka oguwedde bakoze bulungi nyo bwogerageranya ku banabwe abatuula omwaka ogwa 2019. Abayizi abóbuwala bakoze bulungi okusinga ku bannabwe abóbulenzi yadde nga abakola ebibuuzo baali batono ku balenzi. Ssabawandiisi w’ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu gwanga ekya UNEB, Daniel Odongo, agambye nti omugatte abayizi emitwalo 9 mu…

Read More