Amawulire
Omusango gwébyókulonda ku Meeya Rose Namayanja gugobeddwa
Bya Gertrude Mutyaba Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Ketra Kayunguka agobye omusango gw’ebyokulonda ogwawawabirwa meeya w’e Masaka Florence Namaynja ku bigambibwa nti ebiwandiiko byakozesa si bibye. Kigambibwa nti Namayanja yatwalibwa mu kooti gwebaali bavuganya naye Willis Mbabazi munna NRM. Kati Puliida wa Namayanja Alexander […]
Abasuubuzi mu katale ka Namayingo central Market balabuddwa
Bya Abubaker Kirunda, Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Namayingo, Yahaya Kakooza labudde nti waakuggala akatale ka Central Market, abasubuzi bwebatafeeyo okugoberera amateeka nebiragiro okwetangira ssenyiga omukambwe. Kakooza agambye nti eno tewali kwewa mabanja kimala, nebifo webanabira mungalo eintu ekyobulabe ekigenda okwongera okusasaana kwobulwadde. Abajjukizza […]
Owa Bodaboda e Kaliro attiddwa muntiisa
Bya Abubaker Kirunda, Abatemu basse omugoba wa boda boda mu disitulikiti ye Kaliro nebakuliita ne pikipiki ye. Omugenzi ye Hussein Waiswa ngabadde mutuuze Bukubaituba mu tawuni kanso ye Nawaikoke e Kaliro. Atwala poliisi ye Nawaikoke, Gideon Nibimanya agambye nti omugenzi baamujje ku siteegi nebamutwala abavugeko, […]
Besigye ne Kyagulanyi bogedde ku kulonda kwa Zambia
Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya Eyavuganyako kuntebbe eyobwa pulezidenti era nga yaliko ne senkagale wékibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye, atendereza abadde omukulembeze weggwanga erya Zambia, Edgar Lungu olwokukkiriza okuwangulwa mu kulonda okwabadewo kulwokuna lwa ssabiiti ewedde. Akakiiko ke byókulonda mu Zambia […]
Abatunzi be byalaani balajanidde Gavt okubasuula omukono
Bya Benjamin Jumbe, Ekibiina omwegatira abatunzi békyalaani ki Uganda Tailors association basabye gavumenti okubadukirira kuba tebali bulungi. Okusinzira ku Ssentebe wekibiina kino, Phillip Ssekimpi mu muggalo oguwedde gavumenti teyabateeka ku lukalala lwa balina okuganyulwa mu buyambi songa abatunzi be byalaani bangi bakosebwa nyo embeera eyomuggalo. […]
Abatwala ebyenjigiriza e Mubende batandise okulambula amasomero
Bya Magembe Sabiiti, Abatwala ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Mubende batandiise okulambula amasomero ga government okulaba embeera gyegalimu mu kiseera kino nga amasomero magale olw’ekirwadde kya Covid-19. Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Mubende Kabunga Arshaf agamba nti ku muggalo ogwasooka amasomero mangi gayononeka olwa basomesa obutafaayo […]
Matembe ayambalidde Gavt mu kuwuwutanya ensimbi zókulwanyisa Covid
Bya Prossy Kisakye Eyaliko minister w’empisa n’obuntu bulamu, Miria Matembe, alaze obweralikirivu kungeri Uganda gyekutemu ekirwadde kya Covid-19 wakati mu bubbi obuyitiridde nti abusabusa ng’oba ddala kisobola okuwona mu Uganda olw’obukenuzi obuyitiride. Matembe okutuuka kubino abadde wakiso ne kitongole kya Wakiso district Human Rights Commission, […]
Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero
Bya Rita Kemigisa Omukulembeze weggwanga YK Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero. Okusinzira ku munnamawulire wa Museveni Lindah Nabusayi, wakwogera kunsonga ezebyokwerinda Okwogerako kugidde mu kaseera nga wakayita omwezi gumu gwokka bukya gavt etongoza kawefube owokugyako abakaramoja emmundu ne kigendererwa ekyokutebenkeza emirembe mu kitundu. […]
Omusumba ayagala bukuumi olwa bakayanira ekifo kyékanisa
Bya Ivan Ssenabulya, Abasumba ku kanisa ya Mt. Lebanon mu munisipaali ye Mukono, bekubidde enduulu eri gavumenti babongere obukuumi. Kino kyadiridde ekibaluwa, kiro-kitwala omunaku kyebabasuliidde nga kiralika nga bwebagenda okubamenyera ekkanisa. Ekkanisa eno eriko enkayana, zibadde mu kooti emyaka egisoba mu 20 nga waliwo abawakanya […]
Abasawo bómubyalo bagala gavt ebakolere enteekateeka eyókubagema
Bya Ivan Ssenabulya Abasawo b’okubyalo basabye gavumenti okuyita mu minisitule yebyobulamu okubakolera entekateka ey’enjawulo bagemebwa ssenyiga omukambwe. Bano bagamba nti obulamu bwabwe buli mu matigga, kubanga babeera mu bantu ku byalo, nga babajanjaba nokubalungamya mu nsonga zebyobulamu. Basinzidde ku ddwairo lya gavumenti ekkulu e Mukono, […]