Amawulire
Bannadiini bavudeyo kumuggalo ku masinzizo
Bya Moses Ndaye, Abakulembeze beddiini badukidde mu kkkooti ya East Africa etuula mu kibuga Arushua, nga Bagala gavt eggule amasinzizo Bano nga bakulembedwamu ekanisa ya Reigning in Life Ministries, ekulemberwa munnamateeka Abubaker Hassan Matanda bagamba nti ekyomukulembeze weggwanga okuteeka amakanisa ku muggalo kirinyirira eddembe lyóbuntu. […]
Ekitongole ekiramuzi kitadewo 1.2bn okukola ku misango gyébyókulonda
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekiramuzi kitegezeza nga bwekimaze okufuna ensimbi ezigenda okweyambisibwa mu kuwuliriza emisango egyekuusa ku byókulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya. Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, omwogezi wekitongole kino Jameson Karemani agambye nti bafunye akawumbi 1.2 okukola ku misango […]
Abantu 113 kubaalina okufuna eza Covid basuulibwa
Bya Prossy Kisakye Minisitule eyékikula kyábantu, abakozi ne nkulakulana, etegezeza nga abantu 113 kwabo 501,107 abalina okufuna kunsimbi zómuggalo bwetayingiziddwa mu bibalo byabwe. Entekateeka eyókugabira abanaku ensimbi mu bibuga abakosebwa némbeera eyómuggalo yatongozebwa ssabaminisita Robinah Nabbanja nga buli maka gaalina okufuna emitwalo 10 Entekateeka eyókuyingiza […]
NIRA ekuutidde abazadde okuwandiisa obuzaale bwábaana babwe
Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa banauganda ekya National Identification Registration Authority kisabye abazadde okufaayo okuwandiisa obuzaale bwabaana babwe. Omulanga guno gugidde mu kaseera akokukuza olunaku lwa Africa olwokuwandiisa abantu olumanyiddwa nga African Civil Registration and Vital Statistics Day olukuzibwa buli nga 10th August. […]
Poliisi egamba Lumbuye wakugulwako emisango 15
Bya Juliet Nalwooga Poliisi etegezezza nga Fred Kajubi Lumbuye amanyiddwa nga Chemical Ali bwatali mu mikono gyabwe, wabula bagamba nti bamuguddeko emisango 15 gyagenda okuwerennemba nagyo. Lumbuye kigambibwa nti yakwatibwa mu gwanga lya Turkey gyabadde abeera, wiiki ewedde, wabulanga negyebuli kati amayitire ge gatankanibwa. Bwabadde […]
Abalwanirizi béddembe Lyóbuntu basabye Gavt ku byókugema Covid
Bya Prossy Kisakye Akakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye govumenti okwanguyirizako munteekateeka yaayo eyókugula eddagala erigema ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe okusobozesa bannauganda okugemebwa mu budde bafune obukuumi okuva eri akawuka ka corona akakambwe. Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe […]
Abasoma Obusawo badamu ssabiiti ejja
Bya Damali Mukhaye Akakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education kalagidde amatendekero agasomesa ebyóbusawo okugulawo mu ssabiiti ejja. Akulira akakiiko kano Prof Mary Okwakol agambye nti kino kyatukidwako mu nsisinkano gye babaddemu nakakiiko ka baminisita ne bakkiriziganya bukuyege amatendekero gano […]
Abatuuze bé Kasangombe bavudde mumbeera lwa kwagala kubagoba ku ttaka
Bya Prossy Kisakye, Abatuuze kukyaalo Kasangombe ekisangibwa mu town council ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya kuky’omuggaga agambibwa okwagala okubagoba kuttaka lya kabaka lyebasasulirako busuulu. Abatuuze balumiriza Steven Wabwiine ne Kironde Ashiraf okwagala okubagoba kuttaka nga berimbika mukwagala okwelula empeeda zettaka. Abatuuze abasoba […]
Gavt esabbiddwa okuva kyókukola ennongosereza mu tteeka lye Ttaka
Bya Magembe Ssabiiti, Bakansala ku lukiiko lwa district ey’e Mubende basabye gavumenti yesonyiwe eby’okutigatiga etteeka ly’ettaka mweyagalira okukola ennongoosereza mu ttaka lya Mmayiro, nti esoosowaze ebyo ebizze bivaako abantu okugobaganyizibwa ku ttaka. Mu kadde kano gavumenti eri mu ntekateeka ezokuleeta nnongoosereza mu tteeka lino, nga […]
Joshua Cheptegei awangulidde Uganda Omudaali ogwa Zaabu mu za Olympics
Bya musasi waffe Munnabyamizannyo Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omuddaali ogwa zaabu mu mpaka za Olympics eziyindira mu kibuga Tokyo mu Japan. Ono yawangudde emisinde gya basajja egya egya mita 500. Adiriddwqa munnansi wa Canada Mohammed Ahmed afunye omudaali ogwa silver ate Paul Chelimo owa America […]