Amawulire

Akakiiko ka Nakalema kakutte abakungu 4 mu yaffeesi ya Ssabaminita

Akakiiko ka Nakalema kakutte abakungu 4 mu yaffeesi ya Ssabaminita

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko ka maka gomukulembeze weggwanga akalwanyisa obulyake kaliko abakungu 4 okuva mu yafeesi ya ssabaminisita bebakutte. Bano okukwatibwa kidiridde ssabaminisita Robinah Nabbanja okwemulugunya ku byambi obwaweebwa abatuuze abakosebwa amataba mu bitundu bye kasese omwali emmere ne bulangiti ebitaali ku mutindo mulungi era […]

Kabaka asisinkanye Museveni

Kabaka asisinkanye Museveni

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,  Akawungeezi ka leero Nnamunswa ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye nawubako olubu lwekigere mu maka gómukulembeze weggwanga YK Museveni e Nakasero. Bwabadde ayogerako eri obuganda nga asinzira ku mbuga enkulu e bulange e Mengo, Kamala byonna wa Buganda Charles […]

Amaka agasoba mu 300 e Mubende golekedde okugobwa ku ttaka

Amaka agasoba mu 300 e Mubende golekedde okugobwa ku ttaka

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti, Abatuuze abawangalira maka agasoba mu 300 ku kyalo Kiteredde muluka gwe Busenya mugombolola ye Kalonga mu disitulikiti ye Mubende bali mukusoberwa olw’omugagga Dr Kayihurankuba Rwacumika gwebalumiriza okwagala okwezza ebibanja byabwe. Abatuuze bano basinzidde mu lukiiko oluyitiddwa abakulembeze ba disitulikiti okusobola okugonjola obutakanya obuliwo ku ttaka kwebawangalira nga lutudde ku kyalo Kiteredde nebategeeza nga […]

Abagambibwa okwagala okutta Katumba Badizidwayo ku alimanda

Abagambibwa okwagala okutta Katumba Badizidwayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah Abantu 8 agambibwa okuba nti bebaali emabega wokwagala okumiza Gen Katumba Wamala omusu badizidwayo ku alimanda mu komera ekitalya. Kinnajukirwa nti mu bulumbaganyi buno muwala wa Katumba ne derevawe bakubwa amaasi agabagya mu budde. Omunaana bano bwebalabiseeko mu kkooti ye Nakawa mu […]

Aba DP balabudde ku Muyaga ogw’okusatu ogwékirwadde kya Covid-19

Aba DP balabudde ku Muyaga ogw’okusatu ogwékirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kirabudde ku muyaga ogwokusatu ogwekirwadde ekya Covid-19 singa gavumenti tevaayo bunnambiro ne okuteekawo enkola eziyinza okutangira ekirwadde okweyongera. Mu ssabiiti ewedde minisitule eye byobulamu yategeeza nga emisinde ekirwadde kwekitambulira bwegyasala okuva ku bitundu 22-8%, songa nomuwendo […]

Kabaka asabye Gavt okwongera bannasayansi ensimbi abanonyereza ku ddagala lya Covid

Kabaka asabye Gavt okwongera bannasayansi ensimbi abanonyereza ku ddagala lya Covid

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2021

No comments

Bya prossy Kisakye Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye Gavumenti eya wakati okuteeka ensimbi mu bannasayansi abali mu kunonyereza ku ddagala eriyinza okuvumula ekirwadde kya covid-19. Bino abyogeredde ku mukolo ogwókujaguza amatikirage agomulundi 28 mu lubiri lwe Nkoni mu ssaza lye Buddu […]

Museveni addiriza ku Muggalo, entambula eyólukale agigudde

Museveni addiriza ku Muggalo, entambula eyólukale agigudde

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga YK Museveni yaddiriza mu mbeera eyomuggalo bweyakkiriza entambula eyólukale ne yobwannanyini okudamu bwetyabadde alangirira enkyukakyuka empya oluvanyuma lwomuggalo gwe nnaku 42 nga asinzira mu makage, pulezidenti yagambye nti abataxi ne baasi bakkirizibwa okudamu okukola naye nga bakutwala kitundu ku muwendo […]

Abasomesa nábayizi ba Univesirty bakusosowazibwa mu kugema Covid

Abasomesa nábayizi ba Univesirty bakusosowazibwa mu kugema Covid

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye Minisita omubeezi owebyenjigiriza ebisokerwako Joyce Kaducu ategezeza nga gavumenti bwegenda okusooka okufa ku kyokugemesa abasomesa nábayizi ba University okwetoloola eggwanga lyonna singa eddagala linaaba lifunise. Gavumenti essuubira okufuna doozi ze ddagala erigema ekirwadde kya covid 586,000 mu ssabiiti eno Okusinzira ku Kaducu, […]

5 bakwebaka mu kkomera lwanvuba mbi

5 bakwebaka mu kkomera lwanvuba mbi

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah ne Abubaker Kirunda, Abantu 5 basaliddwa ekibonerezo kyakwebaka mu kabula muliro okumala emyezi 11 oba okusasula emitwalo 90 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusangibwa nga bavuba songa tebalina lisensi Bano nga bakulembedwamu Moses Ouma bwebalabiseeko mu maaso gómulamuzi oweddala erisooka Marion Mangeni ku kkooti […]

Agambibwa okubba mu Kiriiro kyémmere attiddwa

Agambibwa okubba mu Kiriiro kyémmere attiddwa

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

By a Ivan Ssenabulya Poliisi e Mbale etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku muvubuka atanategerekeka bimukwatako nga bamutebereza okuba omubbi. Omugenzi, abadde atemera gyobukulu 20 wabula kigambibwa nti yabadde aliko ekiriiro kyemmere kyeyamenya nanyaga ebintu byabukadde 3 bwansimbi mu Nakaloke T/C mu kibuga kye Mbale. Okusinziira […]