Amawulire
Abatuuze bé Nakifuma balajana lwa Mugagga ayagala okubagoba ku Ttaka
Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze ku kyalo Kakinzi mu Nakifuma-Naggalama Town Council mu district y’e Mukono basobeddwa oluvanyuma lwagambibwa okubeera omugagga okugula ettaka kwebabadde emyaka ejiwerako. Famire y’omugezi Swalih Mukiibi bali mu kutya, oluvanyuma lwomugagga Baker Ssebufu okugula ettaka yiika 18 okuva ku bananyini lyo okuli Solome […]
Minisita Nabbanja agamba waliwo abagala okumutta
Bya Prossy Kisakye Ssabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti obulamubwe buli mu matiga oluvanyuma lwokufuna obubaka obumutiisatiisa okwalaga okumugya munsi lwankola gyakolamu emirimu gye. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwensisinkano gayabaddemu nákabondo ka babaka abava mu bitundu bya Bunyoro, Ssabaminisita agambye nti yewunyiza mwanyinna abeera e […]
Empaka za Olympics zigibwako akawuuwo
Bya BBC, Omukolo ogugulawo empaka ze mizannyo gya Olympics ezigenda okuyindira mu kibuga Tokyo ekya Japan gutandise. Kyo ekibuga Tokyo kiri mu kaseera akobwerinde okulaba nti emizannyo gino gigwa mirembe wakati mu mbeera ye kirwadde kya ssenyiga omukambwe. Bbo bannansi mu ggwanga lya Japan bazzenga […]
Gavumenti ewabuddwa ku kusoma kwabayizi ba S1
Bya Prosy Kisakye Akakiiko ka palamenti akebyenjigiriza kasabye gavumenti nti eyimirize abayizi abatudde PLE, owomwaka 2020 babatandise omwaka ogujja. Ssentebbe wakiiko kano, omubaka John Twesigye agambye nti kino kyekiyinza okukolebwa okusooka okuleka abayizi aali mu S1 okujifuluma bagende mu S2 kubanga class 2 tezijja kusoma […]
Akakiiko ka PAC kessunze okunonyereza ku ssente za Nabbanja
Bya Prosy Kisakye Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensasanye yensimbi, aka Public Accounts Committee bategezezza nga bwebagenda okunonyereza ku nkalala zabanatu abawereddwa obuyambi bwensimbi, emitwalo 10 okuva mu gavumenti ezomuggalo gwa ssneyiga omukambwe. Ku lunnaku Lwokusattu Ssabaminisita we’gwanga, Robinah Nabbanja yataddeyo enkalala nebiwnadiko […]
Prof Ogwanga atandise kawefube w’okusimba emiti
Bya Ndhaye Moses Prof Patrick Ogwang, eyavumbula eddagala lya Covidex ouva mu muddo, erikozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe abakanye ne kawefube okusimba emiti, kubanga eddagala lye likolebwa mu miti na muddo. Kino agambye nti kigendereddwamu okumulawo ebbula lyebikoesebwa, mu kutambula eddagala lino. Eddagala lino […]
Ababaka ba NUP baakujibwako akakadde 1 ku ssente z’emmotoka
Bya Arthur Wadero Abekibiina kya National Unity Platform abavuganya gavumnti bategezezza nga buli mubaka bwaabw ebwebagenda okumusalako akakadde 1 ku ssente zokugula emmotoka obukadde 200 ezabawereddwa. Bagambye nti ssente zino zigenda kukozezebwa okuddukanya emirimu gyekibiina, ngebimu ku biri mu ntekateeka kwekuzimba wifiisi zekibiina. Bwabadde awayaamu […]
Abasawo bagala banaabwe abafudde baliyirirwe obukadde 80
Bya Prosy Kisakye Uganda Nurses and Midwives Union, babanja nti buli musawo afiridde ku mulimu, gavumenti eriyirire famile ye, obukadde 80. Bano bategezezza ngabasawo 50 bwebafudde ssenyiga omukambwe, oluvanyuma lwokukwatibwa obiulwadde ku mirimu, songa abalala 100 bali ku bitanda awamu 400 bebalwade. Ssentebbe wekibiina kyabasawo […]
Museveni yewadde wiiki 2 okusalawo ku bbago lyabakozi
Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni yewadde wiiki 2 okusalawo ku nsonga zebbago erye nongosereza eryekitavvu kyabakozi. Kino kidirirdde abantu abenjawulo okumuwabula, ebikontana ku bbago lino, National Social Security (Amendment) bill. Mu bbago lino, abakozi abaweza emyaka 45, nga baterekedde emyaka 10 bakuwebwanga […]
Mpuuga asabye Nabbanja okunonyereza kunsimbi za Basomesa
Bya Malik Fahad, Akulira oludda oluvuganya gavt mu palamenti era nga ye mubaka akikirira Nyendo -Mukungwe Constituency, asabye ssabaminisita okunonyereza kunsimbi ezatekebwawo gavt okuyambako abasomesa mu kiseera ekyomuggalo. Mathias Mpuga Nsamba, agamba nti waliwo ebibuuzo bingi kunsimbi obuwumbi 22 ezaali ezokuyambako abasomesa mu masomero gobwannanyini […]