Bya Prossy Kisakye
Ssabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti obulamubwe buli mu matiga oluvanyuma lwokufuna obubaka obumutiisatiisa okwalaga okumugya munsi lwankola gyakolamu emirimu gye.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwensisinkano gayabaddemu nákabondo ka babaka abava mu bitundu bya Bunyoro, Ssabaminisita agambye nti yewunyiza mwanyinna abeera e Kakumiro okumutegeeza nti waliwo omuntu eyavuze okuva e Kampala paka Kakumiro namutegeeza…
Bya BBC,
Omukolo ogugulawo empaka ze mizannyo gya Olympics ezigenda okuyindira mu kibuga Tokyo ekya Japan gutandise.
Kyo ekibuga Tokyo kiri mu kaseera akobwerinde okulaba nti emizannyo gino gigwa mirembe wakati mu mbeera ye kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Bbo bannansi mu ggwanga lya Japan bazzenga bapeeka gavt okuyimiriza empka zino okutuusa ngekirwadde kya covid-19 kikendedde
Kino gavt teyakiwuliriza oluvanyuma…
Bya Prosy Kisakye
Akakiiko ka palamenti akebyenjigiriza kasabye gavumenti nti eyimirize abayizi abatudde PLE, owomwaka 2020 babatandise omwaka ogujja.
Ssentebbe wakiiko kano, omubaka John Twesigye agambye nti kino kyekiyinza okukolebwa okusooka okuleka abayizi aali mu S1 okujifuluma bagende mu S2 kubanga class 2 tezijja kusoma kibiina kimu.
Twesigye nga ye mubaka wa Bunyaruguru ekisangibwa mu disitulikiti ye Rubirizi…
Bya Prosy Kisakye
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensasanye yensimbi, aka Public Accounts Committee bategezezza nga bwebagenda okunonyereza ku nkalala zabanatu abawereddwa obuyambi bwensimbi, emitwalo 10 okuva mu gavumenti ezomuggalo gwa ssneyiga omukambwe.
Ku lunnaku Lwokusattu Ssabaminisita we’gwanga, Robinah Nabbanja yataddeyo enkalala nebiwnadiko ebirala ebkwata ku ntekateeka nga bweyatambudde.
Kati ssentebbe wakakiiko omubaka Medard Ssegona, agambye…
Bya Ndhaye Moses
Prof Patrick Ogwang, eyavumbula eddagala lya Covidex ouva mu muddo, erikozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe abakanye ne kawefube okusimba emiti, kubanga eddagala lye likolebwa mu miti na muddo.
Kino agambye nti kigendereddwamu okumulawo ebbula lyebikoesebwa, mu kutambula eddagala lino.
Eddagala lino likolebwa okuva mu muti gwa Warburgia oba Omukuzannume, ngokutandika ku ntekateeka eno kyadiridde…
Bya Arthur Wadero
Abekibiina kya National Unity Platform abavuganya gavumnti bategezezza nga buli mubaka bwaabw ebwebagenda okumusalako akakadde 1 ku ssente zokugula emmotoka obukadde 200 ezabawereddwa.
Bagambye nti ssente zino zigenda kukozezebwa okuddukanya emirimu gyekibiina, ngebimu ku biri mu ntekateeka kwekuzimba wifiisi zekibiina.
Bwabadde awayaamu ne banaffe aba Daily Monitor, nampala woludda oluvuganya gavumenti John Baptist Nambeshe agambye…
Bya Prosy Kisakye
Uganda Nurses and Midwives Union, babanja nti buli musawo afiridde ku mulimu, gavumenti eriyirire famile ye, obukadde 80.
Bano bategezezza ngabasawo 50 bwebafudde ssenyiga omukambwe, oluvanyuma lwokukwatibwa obiulwadde ku mirimu, songa abalala 100 bali ku bitanda awamu 400 bebalwade.
Ssentebbe wekibiina kyabasawo Justus Cherop agambye nti ebibalo bino bigatiddwa okusinziira neku mirambo gyebazze bafuna okuva…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni yewadde wiiki 2 okusalawo ku nsonga zebbago erye nongosereza eryekitavvu kyabakozi.
Kino kidirirdde abantu abenjawulo okumuwabula, ebikontana ku bbago lino, National Social Security (Amendment) bill.
Mu bbago lino, abakozi abaweza emyaka 45, nga baterekedde emyaka 10 bakuwebwanga ekitundu ku ssente zaabwe.
Bweyabadde asisinkanye ababaka babakozi, ssenkulu wa NSSF ne minisita webyensimbi,…
Bya Malik Fahad,
Akulira oludda oluvuganya gavt mu palamenti era nga ye mubaka akikirira Nyendo -Mukungwe Constituency, asabye ssabaminisita okunonyereza kunsimbi ezatekebwawo gavt okuyambako abasomesa mu kiseera ekyomuggalo.
Mathias Mpuga Nsamba, agamba nti waliwo ebibuuzo bingi kunsimbi obuwumbi 22 ezaali ezokuyambako abasomesa mu masomero gobwannanyini oluvanyuma lwa pulezidenti okuggala amasomero.
Mpuuga agamba nti ssabaminita Nabbanja alina okuvaayo abuulire…
Bya Moses Ndaye
Kampuni ya Nile breweries ewaddeyo emikebe omutekebwa omukka gwa oxygen 300 ziyambeko okutaasa ku balwadde ba COVID-19 abeetaaga okuwanirirwa nomukka guno baleme okufa.
Nga Uganda eyita mu muyaga ogwokubiri ogwe kirwadde kino esanze okusomozebwa okwobutaba na mikebe mwetereka omukka gwa oxygen olwobungi bwabalwadde abagwetaaga.
Omukwanaganya wemirimu gya kampuni ya Nile breweries Onapito Ekomoloit agambye nti…