Amawulire
Abalwanirizi béddembe basanyukidde okulondebwa kwa Wangadya
Bya Rita Kemigisa Abalwanirizi béddembe lyobuntu basanyukidde okulondebwa kwa Mariam Wangadya nga Nnantebe omugya owakakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission. Mu nkyukyuka empya omukulemebeze weggwanga yalonze Wangadya nga Nnantebe wa kakiiko kano okudda mu bigere bya Med Kaggwa eyafa emyaka […]
Bukomansimbi ne Kassanda abayizi ba P7 bayise bulungi
Bya Gertrude Mutyaba ne Magembe Ssabiiti , Akulira eby’enjigiriza mu district ye Bukomansimbi Patrick Zziwa ategeezezza nga Bukomansimbi bwekoze obulungi ku mulundi guno okusinga emyaka gyonna ejizze gibaawo. Zziwa agamba nti newankubadde waaliwo okusomoozebwa, abayizi tekyabalobera kuteeka ssira ku kusoma nga kino kimuwadde essuubi nti […]
Abazadde banenyezebwa ku ky’abaana okukola obubi ebigezo bya PLE-Janet
Bya Damali Mukhaye, Minisita owebyenjigiriza ne byemizannyo Janet Museveni anenyeza abazadde kulwabaana abakoze obubi mu bigezo ebye kibiina ekyomusanvu ebyafulumye olunaku olweggulo. Ebyavudde mu bigezo byalaze nti abayizi mu masomero agobwannanyini bakoze bulungi nyo okusinga abali munkola ya bonna basome Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB, […]
Abalwanirira abantu abaliko obuzibu ku bwongo bavudeyo ku byókubatulugunya
Bya Prossy Kisakye Abalwanirira eddemba lya bantu abaliko obuzibu ku bwongo basabye gavumenti eveeyo mangu enonyereze ku bikolwa ebigambibwa okuba nti abantu bano batulugunyizibwa nyo mu bifo gye bajanjabirwa. Kino kidiridde omu ku balwadde bano ategerekese nga Mark Lesile Mudoola okufiira ku ddwaliro lye Butabika Hospital […]
Abatafunye nsimbi zómuggalo mugira mulindako
Bya Prossy Kisakye Ng’ebula ssaawa bussaawa gavt okufundikira entekateka eyokugaba sente emitwalo 10 eri bannauganda bamufuna mpola abakosebwa omuggalo mu bibuga ne municipaali, minisitule eyekikula kya bantu egamba nti bonna abatekeddwa okufuna ensimbi zino naye nga tebazifunye olwamaanya gaabwe obutakwatagana ne biri ku ndaga muntu […]
Abayizi abalenzi bakoze bulungi okusinga abawala mu PLE
Bya Damali Mukhaye Ebivudde mu bigezo bya bayizi abatuula ekibiina ekyomusanvu omwaka oguwedde bilaze nti abaana abobulenzi bakola bulungi okusinga ku banabwe abawala. Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB, Daniel Odongo, abalenzi batono abagudde. Abalenzi abawera emitwalo 4 mu 4,877 bayitidde mu ddala erisooka songa abawala […]
Abamatendekero g’ebyemikono bazeemu okubanja gavumenti
Bya Ndhaye Moses Amatendekero geby’emikono ag’obwannannyini, basabye gavumenti okubalowozaako, babawe ku mirimu gyokuguza gavumenti ebikozesebwa mu kutangira ssenyiga omukambwe. Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala, bano balajanye nti bayita mu kusomozebwa kungi okuva amatendekero gaabwe lwegagagwa omwaka oguwedde, olwa ssenyiga omukambwe. Bagambye nti balina obusobozi […]
PLE afulumye, ebyabayizi 2,220 bikwatiddwa
Bya Damalie Mukhaye Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda national examination board bategezezza nga bwewabaddewo enjawulo ngabayizi bekyomusanvu abomwaka 2020, bakoze bulungi ko bwogerageranya ku bomwaka ogwayita, waddenga basanga okusomozebwa okwamaanyi olwa ssenyiga omukambwe. Bwabadde afulumya ebyava mu bigezo bya PLE, omukolo ogwategekeddwa mu maka gobwa […]
Ggoobi alayidde okufafagana nabali b’enguzi
Bya Ritah Kemigisa Omuwandiisi owenkalakkalira omugya mu minisitule yebysnimbi eranga ye muwandiisi we’gwanika lyegwanga Ramathan Ggoobi yeyamye nti agenda kuteeka essira ku bwerufu mu nzirukanya y’emirimu nenkwaya ya ssente. Ggoobi yebazizza omukulembeze we’gwanga olw’okumuwa omukisa okuwereza mu kifo ekyo, era agambye nti agenda kukola obutabaliira. […]
Poliisi erabudde amasomero ku bukujjuko
Ebigezo bya bya PLE ebyomwaka 2020, bigenda kufuluma olwaleero. Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni yagenda okufulumya ebigezo bino, ng’omukulo gugenda kubeera mu maka gobwa pulezidenti Entebbe. Wabula apoliisi erabudde abakulu bamasomero ku kutegeka ebikujjuko, nti kinaaba kimenya ebiragiro byomuggalo ku ssenyiga omukambwe. Fred Enanga ye […]